LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 24
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Dawudi abala abantu n’ayonoona (1-14)

      • Endwadde etta abantu 70,000 (15-17)

      • Dawudi azimba ekyoto (18-25)

        • Teri ssaddaaka eteebamu kwefiiriza (24)

2 Samwiri 24:1

Footnotes

  • *

    Oba, “Dawudi bwe yasendebwasendebwa.”

Marginal References

  • +2Sa 21:1
  • +1By 27:23, 24
  • +1By 21:1-3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2005, lup. 11

2 Samwiri 24:2

Marginal References

  • +2Sa 8:16; 20:23
  • +Bal 20:1

2 Samwiri 24:4

Marginal References

  • +Kbl 1:2; 1By 21:4

2 Samwiri 24:5

Footnotes

  • *

    Oba, “ebukiikaddyo w’ekibuga.”

Marginal References

  • +Ma 2:36; Yos 13:8, 9
  • +Kbl 32:34, 35

2 Samwiri 24:6

Marginal References

  • +Kbl 32:40
  • +Lub 10:15; 49:13; Yos 11:8

2 Samwiri 24:7

Marginal References

  • +Yos 19:24, 29
  • +Yos 11:19
  • +Lub 21:31; Yos 15:21, 28
  • +Yos 15:1

2 Samwiri 24:9

Marginal References

  • +Kbl 2:32; 26:51; 1By 21:5, 6; 27:23

2 Samwiri 24:10

Footnotes

  • *

    Oba, “omuntu ow’omunda owa.”

Marginal References

  • +1Sa 24:5; Bar 2:15
  • +2Sa 12:13
  • +Zb 130:3; Kos 14:2; 1Yo 1:9
  • +1By 21:8-13

2 Samwiri 24:11

Marginal References

  • +1Sa 22:5; 1By 29:29

2 Samwiri 24:12

Marginal References

  • +Nge 3:12

2 Samwiri 24:13

Marginal References

  • +Lev 26:18, 20; 2Sa 21:1
  • +Lev 26:14, 17
  • +Lev 26:16

2 Samwiri 24:14

Marginal References

  • +Beb 12:6
  • +Zb 103:8; 119:156
  • +2By 28:1, 5

2 Samwiri 24:15

Marginal References

  • +Kbl 16:46; 1By 27:24
  • +1By 21:14, 15
  • +2Sa 24:2

2 Samwiri 24:16

Marginal References

  • +Zb 78:38; Yer 26:19; Yow. 2:13
  • +2By 3:1
  • +Lub 10:15, 16; Yos 15:8

2 Samwiri 24:17

Marginal References

  • +Zb 95:7
  • +1By 21:16, 17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2005, lup. 11

2 Samwiri 24:18

Marginal References

  • +1By 21:18-23; 2By 3:1

2 Samwiri 24:21

Marginal References

  • +Kbl 16:46, 47; 25:8; 2Sa 24:15

2 Samwiri 24:22

Footnotes

  • *

    Obut., “ekirungi mu maaso ge.”

2 Samwiri 24:24

Footnotes

  • *

    Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +1By 21:24-28

2 Samwiri 24:25

Marginal References

  • +Kuv 20:25; 1By 22:1
  • +2Sa 21:14; 2By 33:13

General

2 Sam. 24:12Sa 21:1
2 Sam. 24:11By 27:23, 24
2 Sam. 24:11By 21:1-3
2 Sam. 24:22Sa 8:16; 20:23
2 Sam. 24:2Bal 20:1
2 Sam. 24:4Kbl 1:2; 1By 21:4
2 Sam. 24:5Ma 2:36; Yos 13:8, 9
2 Sam. 24:5Kbl 32:34, 35
2 Sam. 24:6Kbl 32:40
2 Sam. 24:6Lub 10:15; 49:13; Yos 11:8
2 Sam. 24:7Yos 19:24, 29
2 Sam. 24:7Yos 11:19
2 Sam. 24:7Lub 21:31; Yos 15:21, 28
2 Sam. 24:7Yos 15:1
2 Sam. 24:9Kbl 2:32; 26:51; 1By 21:5, 6; 27:23
2 Sam. 24:101Sa 24:5; Bar 2:15
2 Sam. 24:102Sa 12:13
2 Sam. 24:10Zb 130:3; Kos 14:2; 1Yo 1:9
2 Sam. 24:101By 21:8-13
2 Sam. 24:111Sa 22:5; 1By 29:29
2 Sam. 24:12Nge 3:12
2 Sam. 24:13Lev 26:18, 20; 2Sa 21:1
2 Sam. 24:13Lev 26:14, 17
2 Sam. 24:13Lev 26:16
2 Sam. 24:14Beb 12:6
2 Sam. 24:14Zb 103:8; 119:156
2 Sam. 24:142By 28:1, 5
2 Sam. 24:15Kbl 16:46; 1By 27:24
2 Sam. 24:151By 21:14, 15
2 Sam. 24:152Sa 24:2
2 Sam. 24:16Zb 78:38; Yer 26:19; Yow. 2:13
2 Sam. 24:162By 3:1
2 Sam. 24:16Lub 10:15, 16; Yos 15:8
2 Sam. 24:17Zb 95:7
2 Sam. 24:171By 21:16, 17
2 Sam. 24:181By 21:18-23; 2By 3:1
2 Sam. 24:21Kbl 16:46, 47; 25:8; 2Sa 24:15
2 Sam. 24:241By 21:24-28
2 Sam. 24:25Kuv 20:25; 1By 22:1
2 Sam. 24:252Sa 21:14; 2By 33:13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 24:1-25

2 Samwiri

24 Awo obusungu bwa Yakuwa ne buddamu okubuubuukira Isirayiri,+ bwe waaliwo eyasendasenda Dawudi ng’amugamba* nti: “Genda obale abantu+ b’omu Isirayiri n’ab’omu Yuda.”+ 2 Awo kabaka n’agamba Yowaabu+ omukulu w’eggye eyali naye nti: “Genda oyiteeyite mu bika byonna ebya Isirayiri, okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba,+ mubale abantu, mmanye omuwendo gwabwe.” 3 Naye Yowaabu n’agamba kabaka nti: “Yakuwa Katonda wo k’ayongere ku bungi bw’abantu emirundi 100, era naawe mukama wange kabaka okyerabireko n’amaaso go. Naye lwaki mukama wange kabaka ayagala okukola ekintu ng’ekyo?”

4 Kyokka ekigambo kya kabaka ne kisinza ekya Yowaabu n’eky’abakulu b’eggye amaanyi. Bw’atyo Yowaabu n’abakulu b’eggye ne bava mu maaso ga kabaka ne bagenda okubala abantu ba Isirayiri.+ 5 Baasomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri,+ ku luuyi olwa ddyo olw’ekibuga* ekiri mu makkati g’ekiwonvu, ne boolekera ekitundu ky’Abagaadi, ne beeyongerayo e Yazeri.+ 6 Oluvannyuma baagenda e Gireyaadi+ ne mu kitundu ky’e Tatimu-kodusi, ne beeyongerayo ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola ne bagenda e Sidoni.+ 7 Awo ne bagenda ku kigo ky’e Ttuulo+ ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi+ n’eby’Abakanani, ne bakoma e Beeru-seba+ ekiri mu Negebu+ ekya Yuda. 8 Bwe batyo ne bayitaayita mu kitundu ekyo kyonna ne batuuka e Yerusaalemi oluvannyuma lw’emyezi mwenda n’ennaku 20. 9 Yowaabu n’awa kabaka omuwendo gw’abantu abaali babaliddwa; Abayisirayiri baali abasajja abazira 800,000 abaali bakwata ekitala, ate abasajja ba Yuda baali 500,000.+

10 Naye omutima gwa* Dawudi gwamulumiriza+ oluvannyuma lw’okubala abantu, n’agamba Yakuwa nti: “Nnyonoonye+ nnyo olw’okukola ekintu kino. Kaakano, Ai Yakuwa, nkwegayiridde sonyiwa omuweereza wo ensobi gy’akoze,+ kubanga nkoze kya busirusiru nnyo.”+ 11 Dawudi bwe yagolokoka ku makya, Yakuwa n’ayogera ne nnabbi Gaadi+ eyategeezanga Dawudi okwolesebwa okwavanga eri Katonda, n’amugamba nti: 12 “Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Nkuteereddewo ebibonerezo bisatu. Londako kimu kye mba nkuwa.”’”+ 13 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Kibonerezo ki ku bino ebisatu ky’olondako: Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu,+ oba ggwe okumala emyezi esatu ng’odduka abalabe bo nga bakuwondera,+ oba endwadde ey’amaanyi okuba mu nsi yo okumala ennaku ssatu?+ Kaakano salawo n’obwegendereza kye mba nziramu Oyo antumye.” 14 Dawudi n’agamba Gaadi nti: “Kino kinzitooweredde nnyo. Ka tugwe mu mukono gwa Yakuwa,+ kubanga musaasizi nnyo;+ naye tondeka kugwa mu mukono gwa muntu.”+

15 Awo Yakuwa n’aleeta endwadde ey’amaanyi+ mu Isirayiri, okuva ku makya okutuuka ku kiseera ekyali kigerekeddwa, abantu 70,000 ne bafa,+ okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba.+ 16 Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Yakuwa n’akwatirwa abantu be ekisa olw’endwadde gye yali aleese,+ n’agamba malayika eyali azikiriza abantu nti: “Ekyo kimala! Omukono gwo gusse.” Malayika wa Yakuwa yali kumpi n’egguuliro lya Alawuna+ Omuyebusi.+

17 Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta abantu, n’agamba Yakuwa nti: “Nze nnayonoona era ne nkola ekibi; naye endiga zino+ zikoze ki? Nkwegayiridde, omukono gwo ka gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange.”+

18 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi ku lunaku olwo n’amugamba nti: “Genda ozimbire Yakuwa ekyoto ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.”+ 19 Dawudi n’agenda nga Gaadi bwe yamugamba, nga Yakuwa bwe yali alagidde. 20 Alawuna bwe yalaba kabaka n’abaweereza be nga bajja gy’ali, amangu ago n’afuluma n’avunnamira kabaka. 21 Alawuna n’abuuza nti: “Lwaki mukama wange kabaka azze eri omuweereza we?” Dawudi n’amuddamu nti: “Nzize okukugulako egguuliro nzimbire Yakuwa ekyoto, ekirwadde kisobole okuggibwa ku bantu.”+ 22 Naye Alawuna n’agamba Dawudi nti: “Mukama wange kabaka k’alitwale aweeyo ekirabika nga kirungi gy’ali.* Ente ez’ekiweebwayo ekyokebwa ziizino, era n’ebibaawo ebiwuula n’ekikoligo ky’ente biibino bibe enku. 23 Byonna Alawuna abikuwadde, Ai kabaka.” Awo Alawuna n’agamba kabaka nti: “Yakuwa Katonda wo akukwatirwe ekisa.”

24 Kyokka kabaka n’agamba Alawuna nti: “Nedda, nja kulikugulako buguzi. Sijja kuwaayo eri Yakuwa Katonda wange ssaddaaka ezookebwa nga sirina kye nsasudde.” Awo Dawudi n’agula egguuliro n’ente sekeri* 50 eza ffeeza.+ 25 Dawudi n’azimbira Yakuwa ekyoto+ mu kifo ekyo era n’awaayo ssaddaaka ezookebwa ne ssaddaaka ez’emirembe. Yakuwa n’awulira okwegayirira kwabwe,+ ekirwadde ne kiggibwa ku Isirayiri.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share