Okuva
31 Yakuwa n’ayongera okwogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Laba, nnonze Bezaleeri+ mutabani wa Wuli, mutabani wa Kuli ow’omu kika kya Yuda.+ 3 Nja kumujjuza omwoyo gwa Katonda, mmuwe amagezi, okutegeera, n’okumanya okukwata ku mirimu egy’emikono egya buli ngeri, 4 okuyiiya ebintu, okukola ebintu mu zzaabu ne ffeeza n’ekikomo, 5 okusala amayinja n’okugawanga,+ n’okukola ebintu ebya buli ngeri mu mbaawo.+ 6 Era nnonze Okoliyaabu+ mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani okumuyamba, era ntadde amagezi mu mutima gw’abakugu bonna,* basobole okukola byonna bye nkulagidde:+ 7 weema ey’okusisinkaniramu,+ essanduuko ey’Obujulirwa+ n’eky’okubikkako+ ekigiriko, ebintu bya weema byonna, 8 emmeeza+ n’ebintu byayo, ekikondo ky’ettaala ekya zzaabu omulongoofu n’ebintu byakyo byonna,+ ekyoto eky’obubaani,+ 9 ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa+ n’ebintu byakyo byonna, ebbenseni n’ekintu kw’etuula,+ 10 ebyambalo ebirukiddwa obulungi, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, ebyambalo bya batabani be basobole okuweereza nga bakabona,+ 11 amafuta amatukuvu, n’obubaani obw’akaloosa obw’omu kifo ekitukuvu.+ Bajja kukola ebintu byonna bye nkulagidde.”
12 Era Yakuwa n’agamba Musa nti: 13 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Okusingira ddala mulina okukwata ssabbiiti zange+ kubanga kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nti nze Yakuwa nze abatukuza. 14 Mukwatenga Ssabbiiti, kubanga ntukuvu gye muli.+ Oyo yenna anaamenyanga etteeka lya ssabbiiti anattibwanga. Omuntu yenna anaakolanga omulimu ku Ssabbiiti, anattibwanga.+ 15 Emirimu gijja kukolebwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga ssabbiiti ey’okuwummulira ddala.+ Lutukuvu eri Yakuwa. Omuntu yenna anaakolanga emirimu ku Ssabbiiti anattibwanga. 16 Abayisirayiri balina okukwatanga Ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna. Eyo ndagaano ya lubeerera. 17 Kabonero ka lubeerera wakati wange n’abantu ba Isirayiri,+ kubanga Yakuwa yakola eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, ku lunaku olw’omusanvu n’awummula.’”+
18 Bwe yamala okwogera ne Musa ku Lusozi Sinaayi, n’amuwa ebipande bibiri eby’Obujulirwa,+ ebipande eby’amayinja ebyawandiikibwako n’engalo ya Katonda.+