LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Kaggayi 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okunenyezebwa olw’obutazimba yeekaalu (1-11)

        • ‘Kye kiseera okubeera mu nnyumba ezaayooyootebwa n’embaawo?’ (4)

        • “Mufumiitirize ku makubo gammwe” (5)

        • Musiga ensingo nnyingi naye mukungula bitono (6)

      • Abantu bawuliriza eddoboozi lya Yakuwa (12-15)

Kaggayi 1:1

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Eyazaalibwa ku Mbaga.”

Marginal References

  • +Ezr 3:2; 5:2
  • +Ezr 5:1

Kaggayi 1:2

Footnotes

  • *

    Oba, “eky’okuddamu okuzimba.”

  • *

    Oba, “yeekaalu.”

Marginal References

  • +Ezr 4:4, 23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2011, lup. 3

    5/1/2006, lup. 9-10

    1/1/1997, lup. 18

Kaggayi 1:3

Marginal References

  • +Ezr 6:14

Kaggayi 1:4

Marginal References

  • +Yer 52:12, 13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2006, lup. 9-10

Kaggayi 1:5

Footnotes

  • *

    Obut., “Musse emitima gyammwe.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2006, lup. 10, 14-15

Kaggayi 1:6

Footnotes

  • *

    Obut., “temutamiira.”

Marginal References

  • +Ma 28:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 17

    5/1/2006, lup. 10-11

Kaggayi 1:7

Footnotes

  • *

    Obut., “Musse emitima gyammwe.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2001, lup. 8

Kaggayi 1:8

Marginal References

  • +Ezr 3:7
  • +Ezr 5:2; 6:15; Zek 1:16
  • +Is 60:13

Kaggayi 1:9

Marginal References

  • +Mal 2:2
  • +Kag 1:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2006, lup. 15-16

Kaggayi 1:12

Marginal References

  • +Mat 1:12
  • +1By 3:17-19; Luk 3:23, 27
  • +1By 6:15

Kaggayi 1:13

Marginal References

  • +2By 15:2; Is 8:10; Bar 8:31

Kaggayi 1:14

Marginal References

  • +Ezr 1:8; 5:14
  • +Zek 3:1; 6:11-13
  • +Ezr 1:1, 5
  • +Ezr 5:2; Zek 6:15

Kaggayi 1:15

Marginal References

  • +Ezr 4:24; Kag 1:1; Zek 1:1

General

Kag. 1:1Ezr 3:2; 5:2
Kag. 1:1Ezr 5:1
Kag. 1:2Ezr 4:4, 23
Kag. 1:3Ezr 6:14
Kag. 1:4Yer 52:12, 13
Kag. 1:6Ma 28:22
Kag. 1:8Ezr 3:7
Kag. 1:8Ezr 5:2; 6:15; Zek 1:16
Kag. 1:8Is 60:13
Kag. 1:9Kag 1:4
Kag. 1:9Mal 2:2
Kag. 1:12Mat 1:12
Kag. 1:121By 3:17-19; Luk 3:23, 27
Kag. 1:121By 6:15
Kag. 1:132By 15:2; Is 8:10; Bar 8:31
Kag. 1:14Ezr 1:8; 5:14
Kag. 1:14Zek 3:1; 6:11-13
Kag. 1:14Ezr 1:1, 5
Kag. 1:14Ezr 5:2; Zek 6:15
Kag. 1:15Ezr 4:24; Kag 1:1; Zek 1:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Kaggayi 1:1-15

Kaggayi

1 Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Daliyo, mu mwezi ogw’omukaaga, ku lunaku olusooka, ekigambo kya Yakuwa kyajja eri Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri, gavana wa Yuda, ne Yoswa kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki, okuyitira mu nnabbi Kaggayi,*+ nga kigamba nti:

2 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Abantu bano bagamba nti, “Ekiseera eky’okuzimba* ennyumba* ya Yakuwa tekinnatuuka.”’”+

3 Ekigambo kya Yakuwa ne kijjira nnabbi Kaggayi+ nate nga kigamba nti: 4 “Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba ezaayooyootebwa n’embaawo ennungi ng’ennyumba yange erekeddwa awo etyo ng’ekifulukwa?+ 5 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Mufumiitirize* ku makubo gammwe. 6 Musiga ensigo nnyingi naye mukungula bitono.+ Mulya naye temukkuta. Munywa naye temumatira.* Mwambala engoye naye tewali abuguma. Oyo apakasa, ssente z’afuna aziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.’”

7 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Mufumiitirize* ku makubo gammwe.’

8 “‘Mugende ku lusozi muleete emiti+ muzimbe ennyumba,+ ngisanyukire era ngulumizibwe,’+ Yakuwa bw’agamba.”

9 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: ‘Mwali musuubira bingi naye mwafuna bitono; era bwe mwabireeta eka nnabifuuwa ne bisaasaana.+ Lwa nsonga ki? Olw’okuba ennyumba yange erekeddwa awo etyo ng’ekifulukwa, kyokka nga buli omu ku mmwe yeetala afa ku nnyumba ye.+ 10 Eggulu kyerivudde litagwisa musulo, n’ettaka ne litabaza mmere. 11 Nnaleetanga ekyeya ku nsi, ne ku nsozi, ne ku mmere, ne ku mwenge omusu, ne ku mafuta, ne ku ebyo ebimera ku ttaka, ne ku bantu, ne ku nsolo ezirundibwa, ne ku mirimu gyonna egy’emikono gyammwe.’”

12 Awo Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri,+ ne Yoswa kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki,+ n’abantu abalala bonna ne bawuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda waabwe, n’ebigambo bya nnabbi Kaggayi, kubanga Yakuwa Katonda waabwe ye yali amutumye; abantu ne batandika okutya olwa Yakuwa.

13 Kaggayi omubaka wa Yakuwa n’awa abantu obubaka nga Yakuwa bwe yali amutumye, n’agamba nti: “‘Ndi wamu nammwe,’+ Yakuwa bw’agamba.”

14 Awo Yakuwa n’ateeka mu Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, gavana wa Yuda,+ ne mu Yoswa+ kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki, ne mu bantu abalala bonna, omwoyo ogwagala okukola;+ ne bajja ne batandika okukola ku nnyumba ya Yakuwa ow’eggye, Katonda waabwe.+ 15 Lwali lunaku olw’abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Daliyo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share