LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omusango gw’okuyiwa omusaayi n’ebibuga eby’okuddukiramu (1-13)

      • Obubonero obulamba ensalo tebulina kukyusibwa (14)

      • Okuwa obujulizi mu kkooti (15-21)

        • Abajulizi balina kuba babiri oba basatu (15)

Ekyamateeka 19:1

Marginal References

  • +Ma 7:1; 9:1

Ekyamateeka 19:2

Marginal References

  • +Kbl 35:14; Yos 20:7, 9

Ekyamateeka 19:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2017, lup. 14

Ekyamateeka 19:4

Marginal References

  • +Kbl 35:15; Ma 4:42

Ekyamateeka 19:5

Marginal References

  • +Kbl 35:25

Ekyamateeka 19:6

Footnotes

  • *

    Obut., “olw’okuba omutima gwe gwokya.”

Marginal References

  • +Kbl 35:12, 19
  • +Yos 20:4, 5

Ekyamateeka 19:8

Marginal References

  • +Lub 15:18; Kuv 23:31; Ma 11:24
  • +Lub 28:14

Ekyamateeka 19:9

Marginal References

  • +Ma 11:22, 23
  • +Yos 20:7, 8

Ekyamateeka 19:10

Marginal References

  • +Nge 6:16, 17
  • +Ma 21:6-9

Ekyamateeka 19:11

Marginal References

  • +1Yo 3:15

Ekyamateeka 19:12

Marginal References

  • +Lub 9:6; Kuv 21:12; Kbl 35:16; Ma 27:24

Ekyamateeka 19:13

Footnotes

  • *

    Obut., “Eriiso lyo terimusaasiranga.”

Marginal References

  • +Lev 24:17, 21; Kbl 35:33; 2Sa 21:1

Ekyamateeka 19:14

Marginal References

  • +Ma 27:17

Ekyamateeka 19:15

Footnotes

  • *

    Obut., “akamwa ka.”

Marginal References

  • +Kbl 35:30; Ma 17:6
  • +Mat 18:16; Yok 8:17; 2Ko 13:1; 1Ti 5:19

Ekyamateeka 19:16

Marginal References

  • +Kuv 23:1; 1Sk 21:13; Mak 14:56

Ekyamateeka 19:17

Marginal References

  • +Ma 17:8, 9

Ekyamateeka 19:18

Marginal References

  • +Ma 13:14; 17:4; 2By 19:6

Ekyamateeka 19:19

Marginal References

  • +Nge 19:5
  • +Ma 21:20, 21; 24:7; 1Ko 5:13

Ekyamateeka 19:20

Marginal References

  • +Ma 13:11; 17:13; 1Ti 5:20

Ekyamateeka 19:21

Footnotes

  • *

    Obut., “eriiso lyo terimusaasiranga.”

Marginal References

  • +Ma 19:13
  • +Kuv 21:23-25; Lev 24:20; Mat 5:38

Indexes

  • Research Guide

    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu, ekitundu 149

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 131-133

General

Ma. 19:1Ma 7:1; 9:1
Ma. 19:2Kbl 35:14; Yos 20:7, 9
Ma. 19:4Kbl 35:15; Ma 4:42
Ma. 19:5Kbl 35:25
Ma. 19:6Kbl 35:12, 19
Ma. 19:6Yos 20:4, 5
Ma. 19:8Lub 15:18; Kuv 23:31; Ma 11:24
Ma. 19:8Lub 28:14
Ma. 19:9Ma 11:22, 23
Ma. 19:9Yos 20:7, 8
Ma. 19:10Nge 6:16, 17
Ma. 19:10Ma 21:6-9
Ma. 19:111Yo 3:15
Ma. 19:12Lub 9:6; Kuv 21:12; Kbl 35:16; Ma 27:24
Ma. 19:13Lev 24:17, 21; Kbl 35:33; 2Sa 21:1
Ma. 19:14Ma 27:17
Ma. 19:15Kbl 35:30; Ma 17:6
Ma. 19:15Mat 18:16; Yok 8:17; 2Ko 13:1; 1Ti 5:19
Ma. 19:16Kuv 23:1; 1Sk 21:13; Mak 14:56
Ma. 19:17Ma 17:8, 9
Ma. 19:18Ma 13:14; 17:4; 2By 19:6
Ma. 19:19Nge 19:5
Ma. 19:19Ma 21:20, 21; 24:7; 1Ko 5:13
Ma. 19:20Ma 13:11; 17:13; 1Ti 5:20
Ma. 19:21Ma 19:13
Ma. 19:21Kuv 21:23-25; Lev 24:20; Mat 5:38
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 19:1-21

Ekyamateeka

19 “Yakuwa Katonda bw’anaazikiriza amawanga gannannyini nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, n’ogyeddiza era n’otandika okubeera mu bibuga byabwe ne mu mayumba gaabwe,+ 2 ojja kulonda ebibuga bisatu mu nsi yo Yakuwa Katonda wo gy’akuwa.+ 3 Ensi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa ojja kugyawulamu ebitundu bisatu, era okole amakubo agagenda mu bibuga ebyo, oyo yenna anaabanga asse omuntu anaayitanga omwo n’addukira eyo.

4 “Bwe kiti bwe kinaabanga ku muntu asse omuntu n’addukira omwo asobole okusigala nga mulamu: Bw’anattanga munne mu butanwa ng’abadde teyamukyawa,+ 5 okugeza, bw’agendanga ne munne mu kibira okutema emiti, n’agalula embazzi okutema omuti, embazzi n’ewanguka mu muyini n’ekuba munne n’afa, oyo anaabanga asse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo asobole okusigala nga mulamu.+ 6 Naye singa wabaawo olugendo luwanvu okutuuka mu kibuga, oyo awoolera eggwanga+ ayinza okumugoba olw’obusungu,* n’amutuukako era n’amutta, so ng’abadde tagwanira kufa, kubanga abadde teyakyawa munne.+ 7 Eno ye nsonga lwaki nkulagira nti: ‘Ojja kulonda ebibuga bisatu.’

8 “Yakuwa Katonda wo bw’aligaziya ekitundu kyo nga bwe yalayirira bajjajjaabo,+ n’akuwa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajjaabo,+ 9 —bw’oliba okutte ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero, okwagalanga Yakuwa Katonda wo n’okutambuliranga mu makubo ge bulijjo+—awo ku bibuga bino ebisatu olyongerako ebirala bisatu.+ 10 Olwo tewaliba musaayi gutaliiko musango guliyiibwa+ mu nsi yo Yakuwa Katonda wo gy’akuwa okuba obusika, era tolibaako musango gwa kuyiwa musaayi.+

11 “Naye singa omuntu anaabanga yakyawa munne,+ n’amuteega n’amukolako akabi n’amutta era n’addukira mu kimu ku bibuga ebyo, 12 abakadde b’omu kibuga kye banaamutumyanga ne bamuggyayo ne bamuwaayo mu mukono gw’oyo awoolera eggwanga, n’attibwa.+ 13 Tomusaasiranga,* era oggyanga mu Isirayiri omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango,+ olyoke obeerenga bulungi.

14 “Bw’onoofuna obusika mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’agenda okukuwa, tojjululanga bubonero obulamba ensalo ya muliraanwa wo+ bajjajjaabo bwe baliba bataddewo.

15 “Omujulizi omu taalumirizenga muntu olw’ensobi yonna oba olw’ekibi kyonna omuntu ky’anaabanga akoze.+ Ensonga eneekakasibwanga nga waliwo obujulizi bwa* bantu babiri oba basatu.+ 16 Omujulizi ow’ettima bw’anaalumirizanga omuntu nti aliko ekibi kye yakoze,+ 17 abantu abo bombi abanaabanga n’enkaayana banaayimiringa mu maaso ga Yakuwa, mu maaso ga bakabona n’abalamuzi abaliba baweereza mu kiseera ekyo.+ 18 Abalamuzi banaanoonyerezanga n’obwegendereza,+ era omujulizi bw’anaabanga ow’obulimba nga by’alumiriza muganda we bya bulimba, 19 munaamukoleranga ddala ekyo ky’abadde ayagala okukola muganda we,+ era oggyangawo ekibi mu mmwe.+ 20 Awo abanaabanga basigaddewo banaakiwuliranga ne batya, era tebaliddamu kukola kibi ng’ekyo mu mmwe.+ 21 Tomusaasiranga:*+ Obulamu bunaaweebwangayo olw’obulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono, ekigere olw’ekigere.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share