2 Bassekabaka
3 Yekolaamu+ mutabani wa Akabu yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era yafugira emyaka 12. 2 Yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, naye teyatuuka ku kigero kya kitaawe oba nnyina, kubanga yaggyawo empagi za Bbaali ezisinzibwa kitaawe ze yali akoze.+ 3 Kyokka yeeyongerera ddala okukola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Isirayiri okukola.+ Teyabireka.
4 Mesa kabaka wa Mowaabu yali mulunzi wa ndiga, era yawanga kabaka wa Isirayiri omusolo gwa ndiga 100,000 ento n’endiga ennume ezitasaliddwako byoya 100,000. 5 Akabu olwamala okufa,+ kabaka wa Mowaabu n’ajeemera kabaka wa Isirayiri.+ 6 Mu kiseera ekyo Kabaka Yekolaamu yava e Samaliya n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna. 7 Ate era yatumira Kabaka Yekosafaati owa Yuda n’amugamba nti: “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Onoogenda nange okulwanyisa Mowaabu?” N’amuddamu nti: “Nja kugenda+ naawe. Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n’abantu bo, era embalaasi zange ze zizo.”+ 8 N’alyoka amubuuza nti: “Tunaakwata kkubo ki?” N’amuddamu nti: “Ekkubo ery’omu ddungu lya Edomu.”
9 Awo kabaka wa Isirayiri n’agenda ng’ali ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu.+ Oluvannyuma lw’okutambula ennaku musanvu, tewaali mazzi ga kuwa ggye wadde ag’okuwa ebisolo ebyali bibavaako emabega. 10 Kabaka wa Isirayiri n’agamba nti: “Zitusanze! Yakuwa atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu atuweeyo mu mukono gwa Mowaabu.” 11 Yekosafaati n’abuuza nti: “Wano tewali nnabbi wa Yakuwa gwe tuyinza kuyitiramu okwebuuza ku Yakuwa?”+ Awo omu ku baweereza ba kabaka wa Isirayiri n’agamba nti: “Eriyo Erisa+ mutabani wa Safati, eyafukiriranga Eriya amazzi ng’anaaba mu ngalo.”*+ 12 Yekosafaati n’agamba nti: “Yakuwa ayogera ng’ayitira mu oyo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne bagenda gye yali.
13 Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti: “Lwaki ozze gye ndi?*+ Genda weebuuze ku bannabbi ba kitaawo ne bannabbi ba nnyoko.”+ Naye kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti: “Toyogera bw’otyo, kubanga Yakuwa y’atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu atuweeyo mu mukono gwa Mowaabu.” 14 Erisa n’agamba nti: “Nga Yakuwa ow’eggye gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa tabadde Kabaka Yekosafaati+ owa Yuda, sandikutunuddeko wadde okukufaako.+ 15 Naye kaakano mundeetere omukubi w’entongooli.”+ Omukubi w’entongooli olwatandika okugikuba, amaanyi ga Yakuwa ne gajja ku Erisa.+ 16 Erisa n’agamba nti, “Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Musime ebinnya mu kiwonvu* kino; 17 kubanga Yakuwa agambye nti: “Temujja kulaba mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu* kino kijja kujjula amazzi,+ munywe mmwe n’ensolo zammwe.”’ 18 Ekyo kintu kitono nnyo mu maaso ga Yakuwa,+ era ajja kuwaayo ne Mowaabu mu mukono gwammwe.+ 19 Mujja kuzikiriza buli kibuga ekiriko bbugwe,+ na buli kibuga ekirabika obulungi, muteme buli muti omulungi, muzibe ensulo zonna ez’amazzi, era mwonoone ebibanja ebirungi nga mubisuulamu amayinja.”+
20 Awo ku makya, mu kiseera eky’okuwaayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ amazzi gaatandika okuva ku ludda lwa Edomu, ekiwonvu kyonna ne kijjula amazzi.
21 Abamowaabu bonna bwe baawulira nti bakabaka bazze okubalwanyisa, ne bakunga abasajja bonna abaali basobola okukwata eby’okulwanyisa,* ne bayimirira ku nsalo. 22 Bwe baagolokoka ku makya, enjuba yali eyaka ku mazzi, era Abamowaabu abaali emitala amazzi gaabalabikira ng’omusaayi. 23 Ne bagamba nti: “Ogwo musaayi! Mazima bakabaka battiŋŋanye n’ekitala. Mugende ku munyago+ mmwe Abamowaabu!” 24 Bwe baagenda mu lusiisira lw’Abayisirayiri, Abayisirayiri ne basituka ne batandika okubatta, Abamowaabu ne babadduka.+ Abayisirayiri ne babawondera okutuukira ddala e Mowaabu nga bagenda babatta. 25 Baazikiriza ebibuga, era buli muntu yakasuka ejjinja mu buli kibanja ekirungi, ne kijjula amayinja; baaziba buli nsulo ya mazzi,+ era ne batema buli muti omulungi.+ Bbugwe ow’amayinja ow’ekibuga Kiri-kalesesi+ ye yekka eyasigalawo, era ab’envuumuulo baakyetooloola ne bakizikiriza.
26 Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumulemeredde, n’atwala abasajja 700 abalwanyisa ebitala bawaguze batuuke eri kabaka wa Edomu,+ naye ne balemererwa. 27 Awo n’addira mutabani we omubereberye eyali ow’okumusikira ku bwakabaka n’amuwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa+ ku bbugwe. Abamowaabu ne basunguwalira nnyo Abayisirayiri, Abayisirayiri ne balekera awo okumulwanyisa ne baddayo mu nsi yaabwe.