Kaggayi
2 Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’abiri mu olumu, ekigambo kya Yakuwa kyajjira nnabbi Kaggayi+ nga kigamba nti, 2 “Yogera ne Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri, gavana wa Yuda,+ ne Yoswa+ kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki,+ n’abantu abalala obagambe nti: 3 ‘Ani ku mmwe abasigaddewo eyalaba ennyumba* eno mu kitiibwa kyayo eky’edda?+ Kaakano ebalabikira etya? Temulaba nga terina bw’eri bwe mugigeraageranya ne bwe yali?’+
4 “‘Naye kaakano ggwe Zerubbaberi, naawe Yoswa kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki, mube bavumu,’ Yakuwa bw’agamba.
“‘Nammwe mmwenna abantu b’omu nsi mube bavumu+ era mukole,’ Yakuwa bw’agamba.
“‘Kubanga ndi wamu nammwe,’+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba. 5 ‘Mujjukire kye nnabasuubiza bwe mwava e Misiri,+ era omwoyo gwange guli mu mmwe.*+ Temutya.’”+
6 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Omulundi omulala gumu—mu kiseera kitono—nja kukankanya eggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu.’+
7 “‘Era nja kukankanya amawanga gonna, ebintu eby’omuwendo eby’amawanga gonna bijje mu nnyumba eno;+ era nja kujjuza ennyumba eno ekitiibwa,’+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
8 “‘Ffeeza wange ne zzaabu wange,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
9 “‘Ekitiibwa ennyumba eno ky’enaaba nakyo kijja kusinga eky’eri eyasooka,’+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
“‘Era nja kuteeka emirembe mu kifo kino,’+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.”
10 Ku lunaku olw’abiri mu ennya mu mwezi ogw’omwenda mu mwaka ogw’okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Yakuwa kyajjira nnabbi Kaggayi+ nga kigamba nti: 11 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Buuza bakabona amateeka kye gagamba:+ 12 “Omuntu bw’asitulira ennyama entukuvu mu kikondoolo ky’ekyambalo kye, ekyambalo kye ne kikoona ku mugaati oba ku nva oba ku mwenge oba ku mafuta oba ku mmere ey’ekika kyonna, ebintu ebyo bifuuka bitukuvu?”’”
Bakabona ne baddamu nti: “Nedda!”
13 Kaggayi era n’abuuza nti: “Omuntu atali mulongoofu olw’okukwata ku mulambo bw’akwata ku bintu ebyo, ebintu ebyo bifuuka ebitali birongoofu?”+
Bakabona ne baddamu nti: “Bifuuka ebitali birongoofu.”
14 Awo Kaggayi n’agamba nti: “‘Abantu bano bwe batyo bwe bali, era eggwanga lino bwe lityo bwe liri mu maaso gange, era n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe bwe gityo bwe giri; byonna bye bawaayo si birongoofu,’ Yakuwa bw’agamba.
15 “‘Naye kaakano okuva leero n’okweyongerayo, mufumiitirize* bwe kyali nga tewannabaawo jjinja liteekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Yakuwa;+ 16 omuntu bwe yagendanga ku ntuumu y’emmere ey’empeke ng’asuubira okuggyamu ebigera 20, yaggyangamu 10 byokka; era omuntu bwe yagendanga ku ssogolero okusena ebigera by’omwenge 50, yafunangamu 20 byokka.+ 17 Nnayonoona emirimu gy’emikono gyammwe. Nnaleetera ebirime byammwe okubabuka n’okugengewala,+ era ne bikubwa omuzira, naye tewali n’omu ku mmwe yadda gye ndi,’ Yakuwa bw’agamba.
18 “‘Mufumiitirize* ku kino okuva leero n’okweyongerayo, okuva ku lunaku olw’abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omwenda, okuva ku lunaku omusingi gwa yeekaalu ya Yakuwa lwe gwazimbibwa;+ mufumiitirize ku kino: 19 Mu tterekero ly’emmere* mulimu ensigo?+ Omuzabbibu n’omutiini n’omukomamawanga n’omuzeyituuni gibaze? Okuva leero nja kubawa omukisa.’”+
20 Awo ekigambo kya Yakuwa ne kijjira Kaggayi omulundi ogw’okubiri ku lunaku olw’abiri mu ennya mu mwezi ogwo,+ nga kigamba nti: 21 “Gamba Zerubbaberi gavana wa Yuda nti, ‘Ŋŋenda kukankanya eggulu n’ensi.+ 22 Nja kuggyawo entebe za bakabaka era obwakabaka bw’amawanga mbuggyeko obuyinza;+ nja kuzikiriza amagaali n’abagavuga, era embalaasi n’abazeebagala bajja kugwa, buli omu ajja kuttibwa ekitala kya muganda we.’”+
23 “‘Ku lunaku olwo,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Nja kukukozesa ggwe Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri,+ omuweereza wange,’ Yakuwa bw’agamba; ‘era nja kukufuula ng’empeta eramba, kubanga ggwe gwe nnonze,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.”