LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 29
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yakobo asisinkana Laakeeri (1-14)

      • Yakobo ayagala Laakeeri (15-20)

      • Yakobo awasa Leeya ne Laakeeri (21-29)

      • Batabani ba Yakobo abana be yazaala mu Leeya: Lewubeeni, Simiyoni, Leevi, ne Yuda (30-35)

Olubereberye 29:4

Marginal References

  • +Lub 27:42, 43; Bik 7:2

Olubereberye 29:5

Marginal References

  • +Lub 24:29
  • +Lub 24:24; 31:53

Olubereberye 29:6

Marginal References

  • +Lub 46:19; Lus 4:11

Olubereberye 29:12

Footnotes

  • *

    Obut., “muganda wa.”

Olubereberye 29:13

Marginal References

  • +Lub 24:29

Olubereberye 29:14

Footnotes

  • *

    Oba, “wa luganda olw’omusaayi.”

Olubereberye 29:15

Footnotes

  • *

    Obut., “oli muganda wange.”

Marginal References

  • +Lub 28:5
  • +Lub 30:27, 28; 31:7

Olubereberye 29:16

Marginal References

  • +Lus 4:11

Olubereberye 29:18

Marginal References

  • +Lub 31:41

Olubereberye 29:20

Marginal References

  • +Lub 30:26; Kos 12:12

Olubereberye 29:24

Marginal References

  • +Lub 16:1, 2; 30:9; 46:18

Olubereberye 29:25

Marginal References

  • +Lub 31:7, 42

Olubereberye 29:27

Marginal References

  • +Lub 31:41

Olubereberye 29:29

Marginal References

  • +Lub 35:22
  • +Lub 30:1, 3

Olubereberye 29:30

Marginal References

  • +Kos 12:12

Olubereberye 29:31

Footnotes

  • *

    Obut., “yakyayibwa.”

  • *

    Obut., “n’asumulula enda ye.”

Marginal References

  • +Lub 46:15; Lus 4:11
  • +Lub 30:22

Olubereberye 29:32

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Laba, Omwana ow’Obulenzi.”

Marginal References

  • +Lub 35:22; 37:22; 49:3, 4; Kuv 6:14; 1By 5:1
  • +Lub 30:20; 1Sa 1:5, 6; Luk 1:24, 25

Olubereberye 29:33

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Okuwulira.”

Marginal References

  • +Lub 34:25; 49:5; 1By 4:24

Olubereberye 29:34

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Okunywerera ku; Okwegatta ku.”

Marginal References

  • +Lub 34:25; 49:5; Kuv 6:16; Kbl 3:12; 1By 6:1

Olubereberye 29:35

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Okutenderezebwa; eky’Okutendereza.”

Marginal References

  • +Lub 35:23; 37:26; 44:18; 49:8; 1By 2:3; Kub 5:5

General

Lub. 29:4Lub 27:42, 43; Bik 7:2
Lub. 29:5Lub 24:29
Lub. 29:5Lub 24:24; 31:53
Lub. 29:6Lub 46:19; Lus 4:11
Lub. 29:13Lub 24:29
Lub. 29:15Lub 28:5
Lub. 29:15Lub 30:27, 28; 31:7
Lub. 29:16Lus 4:11
Lub. 29:18Lub 31:41
Lub. 29:20Lub 30:26; Kos 12:12
Lub. 29:24Lub 16:1, 2; 30:9; 46:18
Lub. 29:25Lub 31:7, 42
Lub. 29:27Lub 31:41
Lub. 29:29Lub 35:22
Lub. 29:29Lub 30:1, 3
Lub. 29:30Kos 12:12
Lub. 29:31Lub 46:15; Lus 4:11
Lub. 29:31Lub 30:22
Lub. 29:32Lub 35:22; 37:22; 49:3, 4; Kuv 6:14; 1By 5:1
Lub. 29:32Lub 30:20; 1Sa 1:5, 6; Luk 1:24, 25
Lub. 29:33Lub 34:25; 49:5; 1By 4:24
Lub. 29:34Lub 34:25; 49:5; Kuv 6:16; Kbl 3:12; 1By 6:1
Lub. 29:35Lub 35:23; 37:26; 44:18; 49:8; 1By 2:3; Kub 5:5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 29:1-35

Olubereberye

29 Ebyo bwe byaggwa, Yakobo ne yeeyongera okutambula n’atuuka mu nsi y’abantu ab’Ebuvanjuba. 2 Awo n’alaba oluzzi ku ttale n’ebisibo by’endiga bisatu nga zigalamidde okumpi nalwo, kubanga ku luzzi olwo kwe baaweeranga ebisibo amazzi; era ku mumwa gw’oluzzi kwaliko ejjinja eddene. 3 Ebisibo byonna bwe byamalanga okukuŋŋaanyizibwa, ng’abasumba bayiringisa ejjinja okuliggya ku mumwa gw’oluzzi nga bawa endiga amazzi ate oluvannyuma nga balizzaawo mu kifo kyalyo.

4 Awo Yakobo n’ababuuza nti: “Baganda bange muli ba wa?” Ne bamuddamu nti: “Tuli b’e Kalani.”+ 5 N’ababuuza nti: “Mumanyi Labbaani+ muzzukulu wa Nakoli?”+ Ne bamuddamu nti: “Tumumanyi.” 6 N’ababuuza nti: “Gyali mulungi?” Ne bamuddamu nti: “Gyali mulungi. Era ne Laakeeri+ muwala we wuuyo ajja n’endiga!” 7 N’abagamba nti: “Obudde bukyali misana era ekiseera eky’okukuŋŋaanya ebisibo tekinnatuuka. Muwe endiga amazzi oluvannyuma mugende muziriise.” 8 Ne bamugamba nti: “Tetukkirizibwa. Ebisibo byonna bimala kukuŋŋaanyizibwa ne balyoka bayiringisa ejjinja okuliggya ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tuwa endiga amazzi.”

9 Yali akyayogera nabo, Laakeeri n’ajja n’endiga za kitaawe, kubanga ye yazirundanga. 10 Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani kojja we, n’endiga za Labbaani, amangu ago n’asembera n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi, n’awa endiga za Labbaani kojja we amazzi. 11 Yakobo n’anywegera Laakeeri n’atulika n’akaaba. 12 Yakobo n’abuulira Laakeeri nti alina oluganda ku* Labbaani kitaawe era nti mutabani wa Lebbeeka. Awo Laakeeri n’adduka n’abuulira kitaawe.

13 Labbaani+ olwawulira ebikwata ku Yakobo omwana wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana. N’amugwa mu kifuba n’amunywegera era n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’abuulira Labbaani byonna ebyamutuukako. 14 Labbaani n’amugamba nti: “Mazima ddala oli ggumba lyange era oli mubiri gwange.”* Bw’atyo n’abeera naye omwezi mulamba.

15 Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti: “Onompeerereza bwereere olw’okuba onninako oluganda?*+ Mbuulira, oyagala mpeera ki?”+ 16 Labbaani yalina abawala babiri. Omukulu yali ayitibwa Leeya ate omuto ng’ayitibwa Laakeeri.+ 17 Amaaso ga Leeya gaali tegasikiriza, naye ye Laakeeri yali yakula bulungi era ng’alabika bulungi. 18 Yakobo yali ayagala Laakeeri, kyeyava agamba nti: “Ndi mwetegefu okukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Laakeeri muwala wo omuto.”+ 19 Awo Labbaani n’amuddamu nti: “Okumuwa ggwe kisinga okumuwa omusajja omulala. Weeyongere okubeera nange.” 20 Yakobo n’aweereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri,+ naye mu maaso ge gyali ng’ennaku entono kubanga yali amwagala nnyo.

21 Oluvannyuma Yakobo n’agamba Labbaani nti: “Mpa mukazi wange nneebake naye kubanga ennaku zange ziweddeyo.” 22 Awo Labbaani n’akuŋŋaanya abantu bonna ab’omu kitundu n’afumba ekijjulo. 23 Naye bwe bwawungeera n’addira muwala we Leeya n’amutwala eri Yakobo yeebake naye. 24 Ate era Labbaani n’addira omuweereza we Zirupa n’amuwa Leeya muwala we okuba omuweereza we.+ 25 Bwe bwakya ku makya, Yakobo n’akiraba nti yali ne Leeya! N’agamba Labbaani nti: “Kiki kino ky’onkoze? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onnimbye?”+ 26 Labbaani n’addamu nti: “Si mpisa yaffe wano okuwaayo omuwala omuto n’asooka omukulu okufumbirwa. 27 Sooka omale ennaku musanvu n’omukazi ono, oluvannyuma n’omulala ajja kukuweebwa, singa onompeereza okumala emyaka emirala musanvu.”+ 28 Yakobo n’akola bw’atyo, n’amala ennaku musanvu n’omukazi oyo, oluvannyuma Labbaani n’amuwa muwala we Laakeeri okuba mukazi we. 29 Ate era Labbaani n’addira omuweereza we Biruka+ n’amuwa Laakeeri okuba omuweereza we.+

30 Yakobo ne yeegatta ne Laakeeri, n’amwagala okusinga Leeya. N’aweereza Labbaani okumala emyaka emirala musanvu.+ 31 Yakuwa bwe yalaba nga Leeya tayagalibwa,* n’amusobozesa okufuna olubuto,*+ naye Laakeeri ye n’aba mugumba.+ 32 Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Lewubeeni,*+ kubanga yagamba nti: “Yakuwa alabye ennaku yange,+ kaakano baze ajja kutandika okunjagala.” 33 N’aba olubuto nate, n’azaala omwana ow’obulenzi n’agamba nti: “Yakuwa awulirizza, olw’okuba saagalibwa kyavudde ampa n’ono.” Bw’atyo n’amutuuma Simiyoni.*+ 34 Era n’aba olubuto nate, n’azaala omwana ow’obulenzi n’agamba nti: “Ku mulundi guno baze ajja kunjagala okusingawo, kubanga mmuzaalidde abaana ab’obulenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumibwa Leevi.*+ 35 Era n’aba olubuto nate, n’azaala omwana ow’obulenzi n’agamba nti: “Ku mulundi guno nja kutendereza Yakuwa.” Kyeyava amutuuma Yuda.*+ Awo n’alekera awo okuzaala.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share