Olubereberye
35 Oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agamba Yakobo nti: “Situka oyambuke e Beseri+ obeere eyo, era ozimbire eyo Katonda ow’amazima ekyoto, eyakulabikira bwe wali ng’odduka muganda wo Esawu.”+
2 Awo Yakobo n’agamba ab’ennyumba ye ne bonna abaali naye nti: “Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe,+ mwetukuze era mukyuse ebyambalo byammwe, 3 tusituke twambuke e Beseri. Era nja kuzimbira eyo Katonda ow’amazima ekyoto, eyawuliriza okwegayirira kwange ku lunaku olw’obuyinike bwange, era abadde nange buli yonna* gye mbadde ŋŋenda.”+ 4 Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina n’eby’oku matu ebyali ku matu gaabwe, Yakobo n’abiziika* wansi w’omuti omunene ogwali okumpi ne Sekemu.
5 Bwe baagenda, entiisa okuva eri Katonda n’ejjira ab’omu bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batawondera batabani ba Yakobo. 6 Oluvannyuma Yakobo n’abantu bonna abaali naye ne batuuka e Luuzi,+ kwe kugamba, e Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani. 7 N’azimba eyo ekyoto era ekifo ekyo n’akituuma Eru-beseri,* kubanga eyo Katonda ow’amazima gye yeeyolekera gy’ali bwe yadduka muganda we.+ 8 Oluvannyuma Debola+ omulezi wa Lebbeeka n’afa era n’aziikibwa okumpi ne Beseri wansi w’omuyovu. Omuti ogwo kyeyava agutuuma Alonibakusi.*
9 Katonda n’addamu okulabikira Yakobo ng’avudde e Padanalaamu era n’amuwa omukisa. 10 Katonda n’amugamba nti: “Erinnya lyo gwe Yakobo.+ Naye okuva leero tokyayitibwa Yakobo; Isirayiri lye linaabanga erinnya lyo.” Awo n’atandika okumuyita Isirayiri.+ 11 Katonda era n’amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.+ Yala era weeyongere obungi. Amawanga n’ekibiina ky’abantu biriva mu ggwe,+ era bakabaka baliva mu ggwe.*+ 12 Ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka nja kugikuwa ggwe era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.”+ 13 Awo Katonda n’ava awaali Yakobo, mu kifo we yali ayogeredde naye.
14 Yakobo n’asimba empagi ey’amayinja mu kifo we yayogerera naye, n’agifukako ekiweebwayo eky’eby’okunywa era n’amafuta.+ 15 Yakobo ne yeeyongera okuyita ekifo Katonda we yayogerera naye erinnya Beseri.+
16 Ne bava e Beseri. Bwe baali bakyabuzaayo olugendo luwanvuko okutuuka mu Efulaasi, ekiseera kya Laakeeri eky’okuzaala ne kituuka, era n’akaluubirirwa nnyo mu kuzaala. 17 Bwe yali ng’atawaana nnyo okusindika omwana, omuzaalisa n’amugamba nti: “Totya kubanga ogenda kufuna omwana ow’obulenzi omulala.”+ 18 Awo obulamu bwe bwali bumuggwaamu (kubanga yali afa), omwana n’amutuuma Benoni,* naye kitaawe n’amutuuma Benyamini.*+ 19 Bw’atyo Laakeeri n’afa era n’aziikibwa ku kkubo erigenda mu Efulaasi, kwe kugamba, e Besirekemu.+ 20 Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge; eno ye mpagi eramba amalaalo ga Laakeeri n’okutuusa leero.
21 Oluvannyuma Isirayiri n’avaayo n’asimba weema ze ng’oyisizza omunaala gw’e Ederi. 22 Lwali olwo, Isirayiri bwe yali abeera mu nsi eyo, Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biruka omuzaana wa kitaawe era Isirayiri n’akiwulirako.+
Batabani ba Yakobo baali 12. 23 Batabani be abaazaalibwa Leeya be bano: Lewubeeni+ omwana wa Yakobo omubereberye, Simiyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, ne Zebbulooni. 24 Batabani be abaazaalibwa Laakeeri be bano: Yusufu ne Benyamini. 25 Batabani be abaazaalibwa Biruka omuweereza wa Laakeeri be bano: Ddaani ne Nafutaali. 26 Ate batabani be abaazaalibwa Zirupa omuweereza wa Leeya be bano: Gaadi ne Aseri. Abo be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa ng’ali e Padanalaamu.
27 Kyaddaaki Yakobo yatuuka e Mamule,+ mu kitundu ky’e Kiriyasu-aluba, kwe kugamba, e Kebbulooni, Isaaka kitaawe gye yali, era Ibulayimu ne Isaaka gye baabeeranga ng’abagwira.+ 28 Isaaka yawangaala emyaka 180.+ 29 Isaaka n’assa ogw’enkomerero n’afa n’agoberera abantu be,* ng’awangadde era nga n’obulamu bwe bubadde bulungi;* Esawu ne Yakobo batabani be ne bamuziika.+