LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 2 Abassessalonika 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okulamusa (1, 2)

      • Okukkiriza kw’Abassessalonika kweyongera (3-5)

      • Okuwoolera eggwanga ku bajeemu (6-10)

      • Okusabira ekibiina (11, 12)

2 Abassessalonika 1:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Era ayitibwa Siira.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ko 1:19

2 Abassessalonika 1:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Se 3:12; 4:9, 10

2 Abassessalonika 1:4

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “kubonaabona.”

  • *

    Oba, “mugumiikiriza.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Se 2:19
  • +1Se 1:6; 2:14; 1Pe 2:21

2 Abassessalonika 1:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 14:22; Bar 8:17; 2Ti 2:12

2 Abassessalonika 1:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 12:19; Kub 6:9, 10

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 33

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2004, lup. 15

2 Abassessalonika 1:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Luk 17:29, 30; 1Pe 1:7
  • +Mak 8:38

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2004, lup. 15

    1/1/1994, lup. 12-13

2 Abassessalonika 1:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 2:8

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 33

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2019, lup. 12-13

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2004, lup. 15

    1/1/1994, lup. 12-13

    6/1/1989, lup. 11

2 Abassessalonika 1:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Pe 3:7

2 Abassessalonika 1:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 8:30

Ebirala

2 Bas. 1:12Ko 1:19
2 Bas. 1:31Se 3:12; 4:9, 10
2 Bas. 1:41Se 2:19
2 Bas. 1:41Se 1:6; 2:14; 1Pe 2:21
2 Bas. 1:5Bik 14:22; Bar 8:17; 2Ti 2:12
2 Bas. 1:6Bar 12:19; Kub 6:9, 10
2 Bas. 1:7Luk 17:29, 30; 1Pe 1:7
2 Bas. 1:7Mak 8:38
2 Bas. 1:8Bar 2:8
2 Bas. 1:92Pe 3:7
2 Bas. 1:11Bar 8:30
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Abassessalonika 1:1-12

2 Abassessalonika

1 Nze Pawulo nga ndi wamu ne Siruvano* ne Timoseewo,+ mpandiikira ab’omu kibiina ky’e Ssessalonika abali obumu ne Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo:

2 Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe.

3 Ab’oluganda, bulijjo tusaanidde okwebazanga Katonda ku lwammwe era kino kisaana kubanga okukkiriza kwammwe kweyongera nnyo, era n’okwagala buli omu kw’alina eri munne kweyongera.+ 4 N’ekivuddemu, tubeenyumiririzaamu+ mu bibiina bya Katonda olw’okugumiikiriza n’okukkiriza kwammwe mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna ne mu bizibu* bye muyitamu.*+ 5 Buno bukakafu obulaga nti Katonda asala omusango mu butuukirivu, era ekyo kijja kubaviirako okutwalibwa nti mugwanidde Obwakabaka bwa Katonda bwe mubonaabonera.+

6 Mazima ddala kya butuukirivu Katonda okubonereza abo abababonyaabonya.+ 7 Naye mmwe ababonaabona mujja kufuna obuweerero awamu naffe mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu+ okuva mu ggulu ng’ali wamu ne bamalayika be ab’amaanyi,+ 8 mu muliro ogwaka, ng’awoolera eggwanga ku abo abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera mawulire malungi agakwata ku Mukama waffe Yesu.+ 9 Abo balisalirwa omusango gw’okuzikirizibwa emirembe n’emirembe+ era baliggibwa mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky’amaanyi ge, 10 mu kiseera lw’aligulumizibwa awamu n’abatukuvu, era ku lunaku olwo abo bonna abalina okukkiriza balimwewuunya, kubanga mwakkiriza obujulirwa bwe twabawa.

11 Bulijjo kyetuva tubasabira, nti Katonda waffe abatwale nti mugwanira ekyo kye yabayitira+ era akolere ddala n’amaanyi ge ebirungi byonna ebimusanyusa era amalirize bye mubadde mukola olw’okukkiriza kwammwe; 12 erinnya lya Mukama waffe Yesu lisobole okugulumizibwa mu mmwe era nammwe mubeere bumu naye. Kino kijja kuba bwe kityo olw’ekisa eky’ensusso ekya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza