Okuva
39 Baakola ebyambalo eby’okuweererezaamu mu kifo ekitukuvu nga birukiddwa bulungi mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, ne wuzi emmyufu.+ Baakola ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
2 Yakola efodi+ mu wuzi eza zzaabu, wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa. 3 Baakubaakuba obubaati obwa zzaabu ne bufuuka bwa luwewere n’abusalamu obuntu obulinga wuzi obw’okutobeka mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani, era n’etungibwako amasiira. 4 Baagikolera eby’okubibegaabega ebyali bigattiddwa ku yo, era byali bigatta enjuyi zaayo zombi. 5 Omusipi omuluke* ogw’oku efodi ogwali ogw’okugisibisa+ baagukola mu bintu bino bye bimu: wuzi eza zzaabu, wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
6 Baateeka amayinja ga sokamu mu bufuleemu obwa zzaabu, ne bagoolako amannya g’abaana ba Isirayiri, nga bwe bayola akabonero ku kintu.*+ 7 Yagateeka ku by’oku bibegaabega bya efodi okuba amayinja ag’ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 8 Era yakola eky’omu kifuba+ nga kitungiddwako amasiira. Yakikola mu ngeri y’emu nga efodi, mu wuzi eza zzaabu, wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa.+ 9 Kyali kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya nga kizingiddwamu. Baakikola nga bwe kiba kizingiddwamu, obuwanvu buba oluta lw’engalo lumu,* n’obugazi oluta lw’engalo lumu. 10 Baakiteekako amayinja nga gali mu nnyiriri nnya. Olunyiriri olusooka lwaliko yodemu, topazi, ne zumaliidi. 11 Olunyiriri olw’okubiri lwaliko nofeki, safiro, ne yasepi. 12 Olunyiriri olw’okusatu lwaliko lesemi, sevo, ne amesusito. 13 Olunyiriri olw’okuna lwaliko kirisoliti, sokamu, ne yasipero. Amayinja ago gaateekebwa mu bufuleemu obwa zzaabu. 14 Amayinja gaali 12 ng’amannya g’abaana ba Isirayiri bwe gali. Amannya gaayolebwa nga bwe bayola akabonero ku kintu,* nga buli limu likiikirira ekimu ku bika 12.
15 Baateeka ku ky’omu kifuba obujegere obwa zzaabu omulongoofu+ obwali bulangiddwa ng’omuyondo. 16 Baakola bufuleemu bubiri obwa zzaabu n’empeta bbiri eza zzaabu, empeta ebbiri ne baziteeka ku nsonda ebbiri ez’eky’omu kifuba. 17 Oluvannyuma baayisa obuyondo obubiri obwa zzaabu mu mpeta ebbiri eziri ku nsonda z’eky’omu kifuba. 18 Baayisa obusongezo bw’obuyondo obubiri mu bufuleemu obubiri obwali ku by’oku bibegaabega bya efodi ku luuyi lwayo olw’omu maaso. 19 Bwe baamala, ne bakola empeta bbiri eza zzaabu ne baziteeka ku nsonda ebbiri ku ludda olw’omunda olw’eky’omu kifuba olutunuuliganye ne efodi.+ 20 Awo ne bakola empeta endala bbiri eza zzaabu ne baziteeka mu maaso ga efodi, wansi w’eby’oku bibegaabega ebibiri, okumpi ne we yeegattira, waggulu w’omusipi gwa efodi omuluke.* 21 Oluvannyuma baayisa akaguwa aka bbulu mu mpeta z’eky’omu kifuba ne mu mpeta za efodi, ne basiba eky’omu kifuba kisobole okubeera mu kifo kyakyo ku efodi, waggulu w’omusipi omuluke,* nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
22 Era yakola ekizibaawo ekitaliiko mikono ekyambalirwa munda mu efodi. Kyonna kyali kya wuzi za bbulu,+ nga kirukiddwa omulusi w’engoye. 23 Kyaliko awayita omutwe awafaananako aw’ekyambalo eky’olutalo. Awayita omutwe waaliko olukugiro waleme okuyulika. 24 Wansi ku ddinda ly’ekizibaawo baateekako enkomamawanga ezaakolebwa mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, ne wuzi emmyufu, nga wuzi ezo zirangiddwa wamu. 25 Ate era baakola obude obwa zzaabu omulongoofu ne babuteeka wakati w’enkomamawanga ku ddinda ly’ekizibaawo lyonna; 26 baateekako akade n’enkomamawanga, akade n’enkomamawanga, nga bagenda babiddiriŋŋanya bwe batyo ku ddinda lyonna ery’ekizibaawo ekitaliiko mikono ekyakozesebwanga mu kuweereza, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
27 Awo ne bakolera Alooni ne batabani be+ amakanzu mu wuzi ennungi eza kitaani, nga galukiddwa omulusi w’engoye; 28 era baakola ekiremba+ mu kitaani omulungi, n’eby’oku mutwe+ ebirabika obulungi mu kitaani omulungi, n’empale ennyimpi*+ mu wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, 29 n’eky’okwesiba mu kiwato ekya wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, ne wuzi eza bbulu, ne wuzi eza kakobe, ne wuzi emmyufu, nga zonna zirukiddwa wamu, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
30 Awo ne bakola mu zzaabu omulongoofu akabaati akamasamasa, akabonero akatukuvu ak’okwewaayo eri Katonda,* nga kooleddwako ebigambo bino: “Obutukuvu bwa Yakuwa.”+ Kaayolwako nga bwe bayola akabonero ku kintu.* 31 Baakasibako akaguwa akaakolebwa mu wuzi eza bbulu basobole okukasiba ku kiremba, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
32 Bwe gutyo omulimu gwonna ogwa weema entukuvu, weema ey’okusisinkaniramu, ne guggwa; Abayisirayiri baakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa.+ Bwe batyo bwe baakolera ddala.
33 Awo ne baleetera Musa weema entukuvu+ n’ebintu byayo byonna: amalobo gaayo,+ fuleemu zaayo,+ emiti gyayo,+ empagi zaayo n’obutoffaali bwayo obulimu ebituli;+ 34 eky’okubikkako kyayo eky’amaliba g’endiga ennume amannyike mu langi emmyufu+ n’eky’amaliba amagonvu,* olutimbe olwawulamu;+ 35 essanduuko ey’Obujulirwa n’emisituliro gyayo,+ n’eky’okubikkako;+ 36 emmeeza, ebintu byayo byonna,+ n’emigaati egy’okulaga; 37 ekikondo ky’ettaala ekya zzaabu omulongoofu, ettaala zaakyo+ eziri mu lunyiriri, ebintu byakyo byonna,+ n’amafuta g’ettaala;+ 38 ekyoto+ ekya zzaabu, amafuta amatukuvu,+ obubaani obw’akaloosa,+ n’olutimbe+ olw’omu mulyango oguyingira mu weema; 39 ekyoto eky’ekikomo+ n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo,+ ebintu byakyo byonna,+ ebbenseni n’ekintu kw’etuula;+ 40 entimbe z’oluggya, empagi zaalwo, obutoffaali bwalwo obulimu ebituli,+ olutimbe+ lw’omu mulyango gw’oluggya, emiguwa gya weema, enninga za weema,+ n’ebintu byonna eby’okukozesa mu buweereza bwa weema entukuvu, kwe kugamba, weema ey’okusisinkaniramu; 41 ebyambalo ebyali birukiddwa obulungi eby’okuweererezaamu mu kifo ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona,+ n’ebyambalo bya batabani be eby’okuweererezaamu nga bakabona.
42 Abayisirayiri baakolera ddala omulimu gwonna+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 43 Musa bwe yakebera omulimu gwonna gwe baali bakoze, yalaba nga baali bagukoledde ddala nga Yakuwa bwe yalagira. Awo Musa n’abawa omukisa.