Okuva
40 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 2 “Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogusooka, ojja kusimba weema entukuvu, weema ey’okusisinkaniramu.+ 3 Ojja kugiteekamu essanduuko ey’Obujulirwa+ era osseemu olutimbe+ lusiikirize Essanduuko. 4 Ojja kuyingiza emmeeza+ ogiteekeko ebintu ebirina okugibeerako, era ojja kuyingiza ekikondo ky’ettaala+ okoleeze ettaala zaakyo.+ 5 Ojja kuteeka ekyoto ekya zzaabu eky’okwotererezangako obubaani+ mu maaso g’essanduuko ey’Obujulirwa, era oteeke olutimbe mu mulyango oguyingira mu weema entukuvu.+
6 “Ojja kuteeka ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa+ mu maaso g’omulyango oguyingira mu weema entukuvu, weema ey’okusisinkaniramu, 7 era oteeke ebbenseni wakati wa weema ey’okusisinkaniramu n’ekyoto, era ogiteekemu amazzi.+ 8 Oluvannyuma ojja kukola oluggya+ okwetooloola weema entukuvu, era oteeke olutimbe+ mu mulyango gw’oluggya. 9 Ojja kuddira amafuta amatukuvu+ ogafuke ku weema entukuvu ne ku bintu byonna ebigirimu,+ era ojja kugitukuza n’ebintu byayo byonna efuuke ntukuvu. 10 Ojja kufuka amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ne ku bintu byakyo byonna okitukuze kifuuke ekyoto ekitukuvu ennyo.+ 11 Ojja kufuka amafuta ku bbenseni ne ku kintu kw’etuula ogitukuze.
12 “Ojja kuleeta Alooni ne batabani be ku mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu obagambe banaabe amazzi.+ 13 Era ojja kwambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu,+ omufukeko amafuta+ omutukuze ampeereze nga kabona. 14 Oluvannyuma ojja kuleeta batabani be obambaze amakanzu.+ 15 Ojja kubafukako amafuta nga bwe wafuse amafuta ku kitaabwe,+ bampeereze nga bakabona, era okufukibwako amafuta kujja kubafuula bakabona olubeerera mu mirembe gyabwe gyonna.”+
16 Musa yakola byonna nga Yakuwa bwe yamulagira.+ Bw’atyo bwe yakolera ddala.
17 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogusooka, mu mwaka ogw’okubiri, weema entukuvu yasimbibwa.+ 18 Musa bwe yali asimba weema entukuvu, yassa wansi obutoffaali bwayo obulimu ebituli,+ n’asimba fuleemu zaayo,+ n’ateekamu emiti gyayo,+ era n’ayimiriza empagi zaayo. 19 Yassa ku weema+ eky’okubikkako era n’ayongerako eky’okubikkako+ ekirala kungulu nga Yakuwa bwe yamulagira.
20 Oluvannyuma yaddira ebipande by’amayinja ebiriko Obujulirwa+ n’abiteeka mu Ssanduuko,+ n’ayingiza emisituliro+ mu Ssanduuko, era n’agissaako eky’okubikkako.+ 21 Awo n’ayingiza Essanduuko mu weema entukuvu n’assaawo olutimbe+ olwawulamu lusiikirize essanduuko ey’Obujulirwa,+ nga Yakuwa bwe yamulagira.
22 Bwe yamala, n’ateeka emmeeza+ mu weema ey’okusisinkaniramu ku luuyi lwa weema entukuvu olw’ebukiikakkono ebweru w’olutimbe, 23 n’agiteekako emigaati+ mu maaso ga Yakuwa, nga Yakuwa bwe yamulagira.
24 Awo n’ateeka ekikondo ky’ettaala+ mu weema ey’okusisinkaniramu mu maaso g’emmeeza ku luuyi lwa weema entukuvu olw’ebukiikaddyo. 25 N’akoleeza ettaala+ mu maaso ga Yakuwa, nga Yakuwa bwe yamulagira.
26 Awo n’ateeka ekyoto ekya zzaabu+ mu weema ey’okusisinkaniramu mu maaso g’olutimbe, 27 okusobola okukyotererezaako+ obubaani obw’akaloosa,+ nga Yakuwa bwe yamulagira.
28 Oluvannyuma yateeka olutimbe+ mu mulyango oguyingira mu weema.
29 Yateeka ekyoto ky’ebiweebwayo ebyokebwa+ ku mulyango oguyingira mu weema entukuvu, weema ey’okusisinkaniramu, asobole okukiweerangako ebiweebwayo ebyokebwa+ n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, nga Yakuwa bwe yamulagira.
30 Oluvannyuma yateeka ebbenseni wakati wa weema ey’okusisinkaniramu n’ekyoto era n’agiteekamu amazzi ag’okunaaba.+ 31 Musa ne Alooni ne batabani be baanaabiranga awo engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 32 Buli lwe baabanga bagenda okuyingira mu weema ey’okusisinkaniramu oba buli lwe baabanga basemberera ekyoto, baanaabanga+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
33 Ku nkomerero yakola oluggya+ okwetooloola weema entukuvu n’ekyoto era n’ateeka olutimbe mu mulyango gw’oluggya.+
Bw’atyo Musa n’amaliriza omulimu. 34 Awo ekire ne kibikka weema ey’okusisinkaniramu era ekitiibwa kya Yakuwa ne kijjula weema entukuvu.+ 35 Musa teyasobola kuyingira mu weema ey’okusisinkaniramu kubanga ekire kyagisigalako era ekitiibwa kya Yakuwa kyali kijjudde mu weema entukuvu.+
36 Ekire bwe kyasitukanga okuva ku weema entukuvu nga n’Abayisirayiri basitula okuva we baabanga basiisidde. Bwe kityo bwe kyabanga ku lugendo lwabwe lwonna.+ 37 Naye ekire bwe kitaasitukanga, nabo tebaasitulanga kuva we baabanga basiisidde okutuusa ku lunaku lwe kyasitukanga.+ 38 Ekire kya Yakuwa kyabeeranga ku weema entukuvu emisana, ate ekiro omuliro gwe gwagibeerangako, era byalabibwanga ab’ennyumba ya Isirayiri yonna ku lugendo lwabwe lwonna.+