Okuva
18 Awo Yesero kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa muka Musa,+ n’awulira ebintu byonna Katonda bye yali akoledde Musa n’Abayisirayiri, abantu be, engeri Yakuwa gye yabaggya mu nsi ya Misiri.+ 2 Yesero kitaawe wa muka Musa yali asembezza Zipola mukazi wa Musa ewuwe, Musa gwe yali agambye addeyo ewa kitaawe, 3 awamu ne batabani be ababiri.+ Omu ku baana abo yali atuumiddwa Gerusomu,*+ olw’okuba Musa yagamba nti, “Nfuuse mugwira mu nsi engwira,” 4 ate omulala yali atuumiddwa Eriyeza,* olw’okuba Musa yagamba nti, “Katonda wa kitange ye muyambi wange, eyamponya ekitala kya Falaawo.”+
5 Yesero kitaawe wa muka Musa, ne batabani ba Musa, ne muka Musa, ne bagenda mu ddungu Musa gye yali asiisidde ku lusozi lwa Katonda ow’amazima.+ 6 Yesero n’atumira Musa ng’agamba nti: “Nze Yesero,+ kitaawe wa mukazi wo, nzija gy’oli ne mukazi wo ne batabani be ababiri.” 7 Amangu ago Musa n’agenda okusisinkana kitaawe wa mukazi we, n’avunnama n’amunywegera. Buli omu n’abuuza munne bw’ali, oluvannyuma ne bayingira mu weema.
8 Musa n’abuulira kitaawe wa mukazi we byonna Yakuwa bye yali akoze Falaawo ne Misiri ku lwa Isirayiri,+ n’ebizibu byonna ebyali bibatuuseeko nga bali ku lugendo,+ era n’engeri Yakuwa gye yali abanunuddemu. 9 Yesero n’asanyuka olw’ebirungi byonna Yakuwa bye yali akoledde Isirayiri bwe yabanunula okuva e Misiri.* 10 Awo Yesero n’agamba nti: “Yakuwa atenderezebwe eyabanunula okuva e Misiri, eyabawonya Falaawo, era eyanunula abantu mu bufuge bwa Misiri. 11 Kaakano ntegedde nti Yakuwa y’asinga bakatonda abalala bonna+ olw’ekyo kye yakola abo abeekulumbaliza ku bantu be.” 12 Awo Yesero kitaawe wa muka Musa n’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eby’okuwaayo eri Katonda, Alooni n’abakadde bonna aba Isirayiri ne bajja okulya ekijjulo awamu ne kitaawe wa muka Musa mu maaso ga Katonda ow’amazima.
13 Ku lunaku olwaddirira, Musa yatuula okulamula abantu nga bwe yakolanga bulijjo. Abantu ne bayimirira mu maaso ga Musa okuva ku makya okutuusa akawungeezi. 14 Kitaawe wa muka Musa bwe yalaba ebyo byonna Musa bye yali akolera abantu, n’amubuuza nti: “Kiki kino ky’okolera abantu? Lwaki otuula wano n’okola bino byonna obw’omu, abantu bonna ne bayimirira mu maaso go okuva ku makya okutuusa akawungeezi?” 15 Musa n’agamba kitaawe wa mukazi we nti: “Kubanga abantu bajja gye ndi okwebuuza ku Katonda. 16 Bwe baba n’ensonga, ereetebwa gye ndi ne mbalamula, era ne mbategeeza ebyo Katonda ow’amazima by’aba asazeewo era n’amateeka ge.”+
17 Kitaawe wa muka Musa n’amugamba nti: “Ekyo ky’okola si kirungi. 18 Ojja kukoowa nnyo ggwe n’abantu bano abali naawe, kubanga omulimu guno gukusukkiriddeko obunene era toyinza kugukola wekka. 19 Kaakano mpuliriza. Nja kukuwa amagezi era Katonda ajja kuba naawe.+ Ggwe kiikirira abantu mu maaso ga Katonda ow’amazima,+ era otwale ensonga zaabwe eri Katonda ow’amazima.+ 20 Bayigirize ebiragiro n’amateeka,+ era obategeeze engeri gye basaanidde okutambulamu era ne bye basaanidde okukola. 21 Era mu bantu, londamu abasajja abalina obusobozi,+ abatya Katonda, abeesigika, era abataagala kwefunira bintu mu makubo makyamu,+ obateekewo okukulira abantu. Wabeewo abakulira enkumi, n’abakulira ebikumi, n’abakulira amakumi ataano ataano, n’abakulira ekkumi ekkumi.+ 22 Bajja kulamulanga abantu buli lwe wanaabangawo ensonga,* era buli nsonga enzibu banaagireetanga gy’oli,+ naye ensonga entono banaazimalanga bo bennyini. Bw’otyo weewewuleko omugugu obawe bakwetikkireko obuvunaanyizibwa.+ 23 Bw’onookola bw’otyo, era singa Katonda anaaba akulagidde, tojja kumenyeka nnyo era buli omu ajja kuddayo ewuwe nga mumativu.”
24 Awo Musa n’awuliriza kitaawe wa mukazi we, n’akola byonna bye yamugamba. 25 Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abaalina obusobozi, n’abateekawo okukulira enkumi, okukulira ebikumi, okukulira ataano ataano n’okukulira ekkumi ekkumi. 26 Ne balamulanga abantu nga wazzeewo ensonga. Ensonga enzibu ne bazireeteranga Musa,+ naye ensonga entono ne bazimalanga bo bennyini. 27 Oluvannyuma Musa n’asiibula Yesero kitaawe wa mukazi we,+ Yesero n’addayo mu nsi y’ewaabwe.