Zabbuli ya Dawudi.
23 Yakuwa ye musumba wange.+
Siijulenga kintu kyonna.+
 2 Angalamiza awali omuddo omungi;
Antwala mu bifo eby’okuwummuliramu omuli amazzi amangi.+
 3 Anzizaamu amaanyi.+
Ankulembera mu makubo ag’obutuukirivu olw’erinnya lye.+
 4 Ne bwe ntambulira mu kiwonvu ekikutte enzikiza,+
Sirina kabi ke ntya,+
Kubanga oli nange;+
Omuggo gwo guŋŋumya.
 5 Ontegekera emmeeza mu maaso g’abalabe bange.+
Onsiiga amafuta ku mutwe;+
Ekikopo kyange kijjudde bulungi.+
 6 Mazima ddala obulungi bwo n’okwagala okutajjulukuka bijja kungoberera ennaku zonna ez’obulamu bwange,+
Era nnaabeeranga mu nnyumba ya Yakuwa ennaku zange zonna.+