LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ebikolwa 25
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Pawulo awozesebwa mu maaso ga Fesuto (1-12)

        • “Njulira Kayisaali!” (11)

      • Fesuto yeebuuza ku Kabaka Agulipa (13-22)

      • Pawulo ng’ali mu maaso ga Agulipa (23-27)

Ebikolwa 25:1

Marginal References

  • +Bik 24:27

Ebikolwa 25:2

Marginal References

  • +Bik 24:1

Ebikolwa 25:3

Marginal References

  • +Bik 23:20, 21

Ebikolwa 25:5

Marginal References

  • +Bik 25:16

Ebikolwa 25:7

Marginal References

  • +Mat 5:11; Luk 23:1, 2; Bik 24:5

Ebikolwa 25:8

Marginal References

  • +Bik 24:11, 12

Ebikolwa 25:9

Marginal References

  • +Bik 24:27

Ebikolwa 25:11

Marginal References

  • +Bik 23:26, 29
  • +Bik 28:17-19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2016, lup. 15-16

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2008, lup. 32

    11/1/1991, lup. 3-4

    7/1/1991, lup. 15

Ebikolwa 25:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2015, lup. 12

Ebikolwa 25:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1991, lup. 15

Ebikolwa 25:15

Marginal References

  • +Bik 25:2, 3

Ebikolwa 25:16

Marginal References

  • +Bik 25:5

Ebikolwa 25:18

Marginal References

  • +Bik 25:7

Ebikolwa 25:19

Footnotes

  • *

    Oba, “ku ddiini yaabwe.”

Marginal References

  • +Bik 18:14, 15; 23:26, 29
  • +Bik 22:6-8

Ebikolwa 25:20

Marginal References

  • +Bik 25:9

Ebikolwa 25:21

Footnotes

  • *

    Kyali kitiibwa kya Kayisaali Omuruumi.

Marginal References

  • +Bik 25:11, 12

Ebikolwa 25:22

Marginal References

  • +Bik 9:15

Ebikolwa 25:24

Marginal References

  • +Bik 22:22

Ebikolwa 25:25

Marginal References

  • +Bik 23:26, 29

General

Bik. 25:1Bik 24:27
Bik. 25:2Bik 24:1
Bik. 25:3Bik 23:20, 21
Bik. 25:5Bik 25:16
Bik. 25:7Mat 5:11; Luk 23:1, 2; Bik 24:5
Bik. 25:8Bik 24:11, 12
Bik. 25:9Bik 24:27
Bik. 25:11Bik 23:26, 29
Bik. 25:11Bik 28:17-19
Bik. 25:15Bik 25:2, 3
Bik. 25:16Bik 25:5
Bik. 25:18Bik 25:7
Bik. 25:19Bik 18:14, 15; 23:26, 29
Bik. 25:19Bik 22:6-8
Bik. 25:20Bik 25:9
Bik. 25:21Bik 25:11, 12
Bik. 25:22Bik 9:15
Bik. 25:24Bik 22:22
Bik. 25:25Bik 23:26, 29
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ebikolwa 25:1-27

Ebikolwa

25 Fesuto+ bwe yamala okutuuka mu kitundu atandike okufuga, waayitawo ennaku ssatu n’ava mu Kayisaliya n’agenda e Yerusaalemi. 2 Bakabona abakulu n’abakulu b’Abayudaaya ne bamubuulira ebintu bye baali bavunaana Pawulo.+ Ne bamwegayirira, 3 nga basaba abawulirize atumye Pawulo aleetebwe e Yerusaalemi. Baali bategese okumuteega bamuttire mu kkubo.+ 4 Naye Fesuto n’abagamba nti Pawulo yali alina kukuumirwa Kayisaliya era nti ye kennyini yali anaatera okuddayo e Kayisaliya. 5 N’abagamba nti: “Ab’obuyinza mu mmwe bajje ŋŋende nabo bamulumirize bwe waba nga waliwo ekibi kye yakola.”+

6 Bwe yamala nabo ennaku ezitasukka munaana oba kkumi, n’avaayo n’agenda e Kayisaliya, era olunaku olwaddako n’atuula ku ntebe okusalirwa emisango, n’alagira Pawulo aleetebwe. 7 Bwe yatuuka, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bayimirira nga bamwetoolodde, ne bamuvunaana emisango mingi egy’amaanyi naye nga tebalina bukakafu bwonna.+

8 Naye Pawulo ne yeewozaako ng’agamba nti: “Sikolanga kintu kyonna kimenya Mateeka g’Abayudaaya, wadde okutyoboola yeekaalu oba okujeemera Kayisaali.”+ 9 Olw’okuba Fesuto yali ayagala okuganja eri Abayudaaya,+ yagamba Pawulo nti: “Wandyagadde kugenda Yerusaalemi owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?” 10 Pawulo n’agamba nti, “Nnyimiridde mu maaso g’entebe ya Kayisaali ey’okusalirako emisango we nteekeddwa okuwozesebwa. Sirina kibi kye nkoze Bayudaaya nga naawe bw’okizudde. 11 Bwe mba nga nnina ekibi kye nnakola ekinsaanyiza okuttibwa,+ sigaana kuttibwa; naye bwe kiba nti ebintu ebyo abantu abo bye bannumiriza si bituufu, tewali alina buyinza kumpaayo gye bali olw’okwagala okubasanyusa obusanyusa. Njulira Kayisaali!”+ 12 Fesuto bwe yamala okwogera n’abawi b’amagezi n’agamba nti: “Ojulidde Kayisaali, era ewa Kayisaali gy’ojja okugenda.”

13 Bwe waayitawo ennaku, Kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya nga bakyadde mu butongole okuyozaayoza Fesuto. 14 Okuva bwe baali ab’okumalayo ennaku eziwera, Fesuto yabuulira kabaka ensonga ezikwata ku Pawulo, ng’agamba nti:

“Waliwo omusajja Ferikisi gwe yaleka nga musibe, 15 era bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n’abakadde b’Abayudaaya bambuulira bye baali bamuvunaana+ nga bansaba mmusalire ekibonerezo. 16 Naye nnabaddamu nti si nkola ya Baruumi okuwaayo omuntu yenna eri abo abamuvunaana olw’okwagala okubasanyusa obusanyusa ng’avunaanibwa tannafuna mukisa kusisinkana abo abamuvunaana yeewozeeko.+ 17 Bwe baatuuka wano, saalwa, era olunaku olwaddako nnatuula ku ntebe okusalirwa emisango ne ndagira omusajja aleetebwe. 18 Abamuwawaabira bwe baasituka okwogera, tebaamuvunaana bintu bibi nga bwe nnali nsuubira.+ 19 Wabula baali bawakana naye ku bintu ebikwata ku kusinza katonda waabwe*+ ne ku muntu ayitibwa Yesu eyafa, naye Pawulo gwe yayogerangako nti mulamu.+ 20 Olw’okuba nnali seekakasa ngeri ya kukwatamu nsonga zino, nnamubuuza obanga yandyagadde okugenda e Yerusaalemi awozesebwe eyo.+ 21 Naye Pawulo bwe yajulira akuumirwe mu kkomera ng’alindirira ekyo Agusito* kye yandisazeewo,+ nange ne ndagira akuumibwe okutuusa lwe ndimusindika ewa Kayisaali.”

22 Awo Agulipa n’agamba Fesuto nti: “Nange nnandyagadde okuwuliriza omusajja oyo.”+ Fesuto n’amugamba nti: “Enkya ojja kumuwuliriza.” 23 Olunaku olwaddako, Agulipa ne Berenike ne bajjira mu kitiibwa kingi ne bayingira mu kisenge awawulirwa emisango nga bali wamu n’abaduumizi b’amagye n’abasajja ab’ebitiibwa mu kibuga. Awo Fesuto n’alagira Pawulo aleetebwe. 24 Fesuto n’agamba nti: “Kabaka Agulipa nammwe mmwenna abali naffe wano, mulaba omusajja ono Abayudaaya bonna mu Yerusaalemi ne wano gwe bansaba nga baleekaana nti tasaanidde kuba mulamu.+ 25 Naye nnakizuula nti talina kibi kye yakola kimugwanyiza kufa.+ N’olwekyo omusajja ono bwe yajulira Agusito, ne nsalawo mmuweerezeeyo. 26 Naye sirina kintu kikakafu kya kuwandiikira Mukama wange kikwata ku musajja ono. N’olwekyo, mmuleese gye muli mmwenna, n’okusingira ddala eri ggwe Kabaka Agulipa, bw’anaamala okubuuzibwa ebibuuzo ndyoke nfune kye mpandiika. 27 Kubanga ndaba nga si kya magezi okuweereza omusibe nga siraze misango gimuvunaanibwa.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share