2 Samwiri
23 Bino bye bigambo bya Dawudi ebyasembayo:+
“Ebigambo bya Dawudi mutabani wa Yese,+
Era ebigambo by’omusajja ow’amaanyi eyagulumizibwa,+
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,+
3 Katonda wa Isirayiri yayogera;
Olwazi lwa Isirayiri+ lwaŋŋamba nti,
‘Oyo afuga abantu bw’aba omutuukirivu,+
Era bw’afuga ng’atya Katonda,+
4 Obufuzi bwe buba ng’ekitangaala eky’oku makya ng’omusana gwaka,+
Ku makya nga teri bire.
Buba ng’ekitangaala oluvannyuma lw’enkuba okutonnya,
Ekireetera omuddo okumera.’+
5 Ennyumba yange si bw’etyo bw’eri mu maaso ga Katonda?
Kubanga akoze nange endagaano ey’olubeerera,+
Esengekeddwa bulungi era nnywevu.
Kubanga endagaano eyo bwe bulokozi bwange obwa nnamaddala era lye ssanyu lyange,
Eyo si ye nsonga lwaki ajja kugituukiriza?+
6 Naye abantu abatalina mugaso bonna bakasukibwa eri+ ng’obuti obw’amaggwa,
Kubanga tebusobola kukwatibwa na ngalo.
7 Omuntu abukwatako
Alina okuba ng’alina ekyuma n’olunyago lw’effumu,
Era bulina okwokebwa omuliro ne busaanawo mu kifo we buba buli.”
8 Gano ge mannya g’abalwanyi ba Dawudi abazira:+ Yosebu-basusebesi Omutakemoni ye yali omukulu w’abasatu.+ Lumu yatta abasajja 800 ng’akozesa effumu lye. 9 Eyali amuddirira yali Eriyazaali+ mutabani wa Dodo,+ mutabani wa Akoki, omu ku balwanyi abasatu abazira abaali ne Dawudi nga basoomooza Abafirisuuti. Abafirisuuti baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana n’Abayisirayiri, naye Abayisirayiri bwe badduka, 10 Eriyazaali yalemerawo n’atta Abafirisuuti okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era n’engalo ze ne zisannyalala olw’okukwata ekitala.+ Bw’atyo Yakuwa n’awa abantu be obuwanguzi* obw’amaanyi ku lunaku olwo,+ era abantu ne bamugoberera ne banyaga ebintu by’abo abaali battiddwa.
11 Eyali amuddirira yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Lumu Abafirisuuti baakuŋŋaanira e Leki awaali omusiri gw’empindi, abantu ne badduka Abafirisuuti. 12 Kyokka ye Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agutaakiriza, n’atta Abafirisuuti, bw’atyo Yakuwa n’awa abantu be obuwanguzi* obw’amaanyi.+
13 Abasatu ku bakulu 30 baaserengeta eri Dawudi mu mpuku y’e Adulamu+ mu kiseera eky’amakungula, ng’ekibinja ky’Abafirisuuti* kisiisidde mu Kiwonvu ky’Abaleefa.+ 14 Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kifo ekizibu okutuukamu,+ ng’enkambi y’Abafirisuuti eri mu Besirekemu. 15 Awo Dawudi n’agamba nti: “Mpulira njoya okunywa ku mazzi ag’omu luzzi oluli ku mulyango gwa Besirekemu!” 16 Awo abasajja abasatu abazira ne bawaguza ne bayingira mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olwali ku mulyango gwa Besirekemu ne bagatwalira Dawudi; naye Dawudi n’agaana okuganywa, wabula n’agafuka eri Yakuwa.+ 17 Yagamba nti: “Kikafuuwe, Ai Yakuwa, nze okukola kino! Ddala nnywe omusaayi+ gw’abasajja bano abatadde obulamu bwabwe mu kabi nga bagenda okugakima?” Bw’atyo n’agaana okuganywa. Ebyo bye bintu abasajja be abalwanyi abasatu abazira bye baakola.
18 Abisaayi+ muganda wa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya+ ye yali omukulu w’abasatu abalala; yatta abasajja 300 ng’akozesa effumu lye, era naye yali mwatiikirivu ng’abasatu.+ 19 Wadde nga yali wa kitiibwa okusinga bali abasatu, era nga ye yali omukulu waabwe, teyatuuka ku ssa ly’abasatu abasooka.
20 Benaya+ mutabani wa Yekoyaada yali musajja muzira,* eyakola ebintu eby’obuzira bingi mu Kabuzeeri.+ Yatta batabani ba Aliyeri ow’e Mowaabu ababiri, era lumu yakka mu kinnya mu kiseera eky’omuzira, n’atta empologoma.+ 21 Ate era yatta omusajja Omumisiri eyali omuwagguufu ennyo. Wadde ng’Omumisiri oyo yali akutte effumu, Benaya yagenda gy’ali ng’alina muggo n’asika effumu mu mukono gwe n’alimuttisa. 22 Ebyo bye bintu Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era yali mwatiikirivu ng’abalwanyi abasatu abazira. 23 Wadde nga yali wa kitiibwa n’okusinga amakumi asatu, teyatuuka ku ssa ly’abasatu bali. Kyokka Dawudi yamulonda okuba omukulu w’abakuumi be.
24 Asakeri+ muganda wa Yowaabu yali omu ku makumi asatu: Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,+ 25 Samma Omukalodi, Erika Omukalodi, 26 Kerezi+ Omupereti, Ira+ mutabani wa Ikkesi Omutekowa, 27 Abi-yezeri+ Omwanasosi,+ Mebunnayi Omukusa, 28 Zalumoni Omwakoki, Makalayi+ Omunetofa, 29 Kerebu mutabani wa Bbaana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibeya eky’Ababenyamini, 30 Benaya+ Omupirasoni, Kiddayi ow’omu biwonvu* by’e Gaasi,+ 31 Abi-aluboni Omwalaba, Azumavesi Omubakulimu, 32 Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani, 33 Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omukalali, 34 Erifereti mutabani wa Akasubayi omwana w’Omumaakasi, Eriyaamu mutabani wa Akisoferi+ Omugiiro, 35 Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalabi, 36 Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba, Bani Omugaadi, 37 Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi eyasitulanga eby’okulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, 38 Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli,+ 39 ne Uliya+ Omukiiti; bonna awamu baali 37.