LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 45
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yusufu yeeyoleka eri baganda be (1-15)

      • Baganda ba Yusufu bakomawo okunona Yakobo (16-28)

Olubereberye 45:1

Marginal References

  • +Lub 43:30
  • +Bik 7:13

Olubereberye 45:4

Marginal References

  • +Lub 37:28; Bik 7:9

Olubereberye 45:5

Marginal References

  • +Lub 47:23, 25; 50:20; Zb 105:17

Olubereberye 45:6

Marginal References

  • +Lub 41:30; 47:18

Olubereberye 45:7

Footnotes

  • *

    Oba, “asobole okubalekerawo abasigalawo mu nsi.”

Marginal References

  • +Lub 46:26

Olubereberye 45:8

Footnotes

  • *

    Obut., “kitaawe.”

Marginal References

  • +Zb 105:21; Bik 7:9, 10

Olubereberye 45:9

Marginal References

  • +Lub 45:26
  • +Bik 7:14

Olubereberye 45:10

Marginal References

  • +Lub 46:33, 34; 47:1; Kuv 8:22; 9:26

Olubereberye 45:11

Marginal References

  • +Lub 47:12

Olubereberye 45:12

Marginal References

  • +Lub 42:23

Olubereberye 45:14

Footnotes

  • *

    Obut., “n’agwa mu nsingo ya.”

Marginal References

  • +Lub 46:29

Olubereberye 45:18

Footnotes

  • *

    Oba, “ekisava.”

Marginal References

  • +Lub 47:6

Olubereberye 45:19

Marginal References

  • +Lub 41:39, 40
  • +Lub 45:27; 46:5
  • +Lub 47:9

Olubereberye 45:20

Marginal References

  • +Lub 46:6

Olubereberye 45:22

Marginal References

  • +Lub 43:34

Olubereberye 45:23

Footnotes

  • *

    Oba, “ssayiri.”

Olubereberye 45:24

Marginal References

  • +Lub 42:21, 22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2017, lup. 17

Olubereberye 45:26

Marginal References

  • +Zb 105:21
  • +Lub 42:38; 44:27, 28

Olubereberye 45:28

Marginal References

  • +Lub 46:30

General

Lub. 45:1Lub 43:30
Lub. 45:1Bik 7:13
Lub. 45:4Lub 37:28; Bik 7:9
Lub. 45:5Lub 47:23, 25; 50:20; Zb 105:17
Lub. 45:6Lub 41:30; 47:18
Lub. 45:7Lub 46:26
Lub. 45:8Zb 105:21; Bik 7:9, 10
Lub. 45:9Lub 45:26
Lub. 45:9Bik 7:14
Lub. 45:10Lub 46:33, 34; 47:1; Kuv 8:22; 9:26
Lub. 45:11Lub 47:12
Lub. 45:12Lub 42:23
Lub. 45:14Lub 46:29
Lub. 45:18Lub 47:6
Lub. 45:19Lub 41:39, 40
Lub. 45:19Lub 45:27; 46:5
Lub. 45:19Lub 47:9
Lub. 45:20Lub 46:6
Lub. 45:22Lub 43:34
Lub. 45:24Lub 42:21, 22
Lub. 45:26Zb 105:21
Lub. 45:26Lub 42:38; 44:27, 28
Lub. 45:28Lub 46:30
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 45:1-28

Olubereberye

45 Awo Yusufu yali takyayinza kwezibiikiriza mu maaso g’abaweereza be bonna.+ N’ayogerera waggulu nti: “Mufulumye abantu bonna bave we ndi!” Ne watasigala muntu n’omu nga Yusufu yeeyoleka eri baganda be.+

2 N’akaaba mu ddoboozi erya waggulu, Abamisiri ne bawulira era n’ab’ennyumba ya Falaawo ne bawulira. 3 Oluvannyuma Yusufu n’agamba baganda be nti: “Nze Yusufu. Kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batamuddamu kintu kyonna kubanga baali bawuniikiridde. 4 Awo Yusufu n’agamba baganda be nti: “Mbeegayiridde musembere we ndi.” Ne bamusemberera.

N’agamba baganda be nti: “Nze Yusufu muganda wammwe gwe mwatunda e Misiri.+ 5 Naye kaakano temutya era buli omu aleme kunenya munne olw’okuba mwantunda eno; Katonda ye yansindika eno mbasookeyo okusobola okuwonyaawo obulamu bwammwe.+ 6 Guno gwe mwaka ogw’okubiri ogw’enjala mu nsi+ era wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano gye batagenda kulimiramu wadde okukunguliramu. 7 Naye Katonda yansindika eno ku lwammwe, musobole okununulibwa mu ngeri ey’ekitalo era ebika byammwe bireme okuzikirira.*+ 8 Kale nno si mmwe mwansindika eno wabula Katonda ow’amazima, asobole okunfuula omuwabuzi* wa Falaawo omukulu, era omukulu w’ennyumba ye yonna era afuga ensi ya Misiri yonna.+

9 “Kale muddeeyo mangu eri kitange mumugambe nti, ‘Omwana wo Yusufu agambye bw’ati: “Katonda annonze okufuga ensi yonna eya Misiri.+ Jjangu gye ndi era tolwa.+ 10 Ojja kubeera mu kitundu ky’e Goseni+ okumpi nange—ggwe n’abaana bo, ne bazzukulu bo, n’ebisibo byo, n’amagana go, na buli kimu ky’olina. 11 Era nja kukuweeranga eyo emmere kubanga ekyasigaddeyo emyaka emirala etaano egy’enjala;+ oleme okwavuwala ggwe n’ennyumba yo, era ebintu by’olina bireme okusaanawo.”’ 12 Era kaakano mmwe mmwennyini ne muganda wange Benyamini mulaba n’amaaso gammwe nti nze njogera nammwe.+ 13 Kale mubuulire kitange ekitiibwa kyonna kye nnina mu Misiri ne byonna bye mulabye; era mwanguwe muleete kitange eno.”

14 Awo n’agwa muganda we Benyamini mu kifuba* n’akaaba, Benyamini naye n’akaaba ng’amuwambaatidde.+ 15 N’anywegera baganda be bonna era n’akaaba ng’abawambaatidde, oluvannyuma baganda be ne banyumya naye.

16 Amawulire ne gatuuka mu nnyumba ya Falaawo nti: “Baganda ba Yusufu bazze!” Ekyo ne kisanyusa nnyo Falaawo n’abaweereza be. 17 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti: “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: Mutikke ensolo zammwe mugende mu nsi ya Kanani 18 muggyeyo kitammwe n’ab’omu nnyumba zammwe mujje eno gye ndi. Nja kubawa ebintu ebirungi eby’omu nsi ya Misiri, era mujja kulya ebiva mu kitundu ky’ensi ekisinga obulungi.’*+ 19 Era bagambe nti: ‘Mukole bwe muti:+ Mutwale amagaali+ okuva mu nsi ya Misiri muteekemu abaana bammwe, bakazi bammwe, ne kitammwe mujje eno.+ 20 Era temweraliikirira bintu byammwe+ kubanga ebisingayo obulungi byonna eby’omu nsi ya Misiri yonna byammwe.’”

21 Awo batabani ba Isirayiri ne bakola bwe batyo. Yusufu n’abawa amagaali nga Falaawo bwe yalagira era n’abawa n’emmere ey’okulya mu kkubo. 22 Buli omu ku bo n’amuwa ekyambalo ekipya, naye Benyamini n’amuwa ebitundu bya ffeeza 300 n’ebyambalo ebipya bitaano.+ 23 N’aweereza kitaawe endogoyi kkumi nga zeetisse ebintu ebirungi eby’e Misiri, n’endogoyi enkazi kkumi nga zeetisse eŋŋaano,* emigaati, n’eby’okulya ebirala eby’okuliira mu kkubo. 24 Bw’atyo n’asiibula baganda be, era bwe baali bagenda n’abagamba nti: “Temuyombera mu kkubo.”+

25 Ne bava e Misiri, oluvannyuma ne batuuka eri Yakobo kitaabwe mu nsi ya Kanani, 26 ne bamugamba nti: “Yusufu akyali mulamu era y’afuga ensi yonna eya Misiri!”+ Naye ebigambo ne bimubula kubanga teyakkiriza kye baagamba.+ 27 Naye bwe beeyongera okumubuulira byonna Yusufu bye yabagamba era bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwala, n’addamu omwoyo. 28 Awo Isirayiri n’agamba nti: “Kimala! Omwana wange Yusufu akyali mulamu! Nteekwa okugenda mmulabeko nga sinnafa!”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share