Olubereberye
48 Oluvannyuma lw’ebyo, ne babuulira Yusufu nti: “Laba, kitaawo agenda aggwaamu amaanyi.” Awo n’agenda eri Yakobo wamu ne batabani be ababiri, Manase ne Efulayimu.+ 2 Ne bagamba Yakobo nti: “Mutabani wo azze okukulaba.” Isirayiri ne yeekakaba n’atuula ku kitanda kye. 3 Yakobo n’agamba Yusufu nti:
“Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yandabikira e Luuzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa.+ 4 Yaŋŋamba nti, ‘Ndikuwa abaana era ndikwaza nnyo era ndikufuula ekibiina ky’abantu+ era ab’ezzadde lyo abalikuddirira ndibawa ensi eno ebeere yaabwe lubeerera.’+ 5 Batabani bo ababiri abaakuzaalirwa mu nsi ya Misiri nga sinnajja gy’oli mu Misiri, bange.+ Efulayimu ne Manase banaaba bange nga Lewubeeni ne Simiyoni bwe bali abange.+ 6 Naye abaana b’olizaala oluvannyuma lwa bano baliba babo. Baliyitibwa mannya ga baganda baabwe bano ababiri, era obusika bwabwe balibufuna ku mugabo gwa bano.+ 7 Naye bwe nnali nva e Padani, Laakeeri yanfiirako+ mu nsi ya Kanani nga wakyabulayo olugendo luwanvu okutuuka mu Efulaasi,+ era ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda mu Efulaasi, kwe kugamba, erigenda e Besirekemu.”+
8 Awo Isirayiri n’alaba abaana ba Yusufu n’agamba nti: “Bano be baani?” 9 Yusufu n’agamba kitaawe nti: “Bano be batabani bange Katonda b’ampeeredde eno.”+ Awo n’amugamba nti: “Baleete we ndi mbawe omukisa.”+ 10 Amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde nga kyenkana talaba. Awo Yusufu n’abasembeza w’ali n’abanywegera era n’abawambaatira. 11 Isirayiri n’agamba Yusufu nti: “Nnali simanyi nti ndiddamu okukulabako,+ naye kaakano Katonda ansobozesezza n’okulaba ku zzadde lyo.” 12 Awo Yusufu n’abaggya okumpi n’amaviivi ga Isirayiri, n’avunnama, obwenyi bwe ne butuukira ddala ku ttaka.
13 Yusufu n’abakwata bombi, Efulayimu+ mu mukono gwe ogwa ddyo ku ludda lwa Isirayiri olwa kkono, ne Manase+ mu mukono gwe ogwa kkono ku ludda lwa Isirayiri olwa ddyo, n’abasembeza w’ali. 14 Kyokka Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu wadde nga ye yali omuto, ate omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase. Yakigenderera okubateekako emikono gye bw’atyo wadde nga Manase ye yali omwana omubereberye.+ 15 Awo n’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti:+
“Katonda ow’amazima bakitange Ibulayimu ne Isaaka gwe baagobereranga,+
Katonda ow’amazima abadde andabirira obulamu bwange bwonna okutuusa leero,+
16 Malayika abadde annunula mu buli kabi,+ wa abalenzi bano omukisa.+
Erinnya lyange n’erya bakitange Ibulayimu ne Isaaka ka gayitibwenga ku balenzi bano,
Ka babe bangi nnyo mu nsi.”+
17 Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, ne kitamusanyusa, n’agezaako okukwata omukono gwa kitaawe aguggye ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 Yusufu n’agamba kitaawe nti: “Nedda taata, ono ye mubereberye.+ Omukono gwo ogwa ddyo guteeke ku mutwe gwe.” 19 Naye kitaawe n’agaana, ng’agamba nti: “Nkimanyi mwana wange, nkimanyi. Naye alifuuka ekibiina ky’abantu, era naye aliba mukulu. Kyokka muto we alimusinga obukulu.+ Era abaana be baliba bangi nnyo nga basobola okuvaamu amawanga.”+ 20 N’ayongera n’abawa omukisa ku lunaku olwo+ ng’agamba nti:
“Abayisirayiri ka bakozesenga erinnya lyo okusabiragana omukisa nga bagamba nti,
‘Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase.’”
Bw’atyo n’akulembeza Efulayimu mu kifo kya Manase.
21 Awo Isirayiri n’agamba Yusufu nti: “Laba nnaatera okufa,+ naye Katonda ajja kweyongera okuba nammwe, era ajja kubazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe.+ 22 Era ekitundu kye nnaggya ku Baamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange, nkuwaddeko omugabo gumu* okusinga baganda bo.”