LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 115
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Katonda yekka y’alina okuweebwa ekitiibwa

        • Ebifaananyi tebirina bulamu (4-8)

        • Ensi yaweebwa abantu (16)

        • “Abafu tebatendereza Ya” (17)

Zabbuli 115:1

Footnotes

  • *

    Oba, “Ffe tewali kye tulina, Ai Yakuwa, ffe tewali kye tulina.”

Marginal References

  • +Is 48:11; Yok 12:28
  • +Zb 138:2

Zabbuli 115:2

Marginal References

  • +Kuv 32:12; Kbl 14:15, 16; Ma 32:26, 27; Zb 79:10

Zabbuli 115:4

Marginal References

  • +Zb 135:15-18; Is 40:19; 46:6; Yer 10:3, 4, 8, 9; Bik 19:26; 1Ko 10:19

Zabbuli 115:5

Marginal References

  • +Kab 2:19

Zabbuli 115:7

Marginal References

  • +1Sa 5:3; Is 46:7
  • +Kab 2:18

Zabbuli 115:8

Marginal References

  • +Is 44:9
  • +Zb 97:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1993, lup. 5

Zabbuli 115:9

Marginal References

  • +Nge 3:5
  • +Ma 33:29; Zb 33:20

Zabbuli 115:10

Marginal References

  • +Kuv 28:1

Zabbuli 115:11

Marginal References

  • +Nge 16:20
  • +Zb 84:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1993, lup. 5-6

Zabbuli 115:12

Marginal References

  • +Lub 12:2

Zabbuli 115:13

Footnotes

  • *

    Oba, “ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa.”

Zabbuli 115:14

Footnotes

  • *

    Obut., “ne batabani.”

Marginal References

  • +Lub 13:16

Zabbuli 115:15

Marginal References

  • +Zb 3:8
  • +Zb 96:5

Zabbuli 115:16

Marginal References

  • +Is 66:1
  • +Lub 1:28; Zb 37:29; Is 45:18; Bik 17:26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1993, lup. 5-6

Zabbuli 115:17

Marginal References

  • +Zb 6:5; Mub 9:5
  • +Zb 31:17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1993, lup. 5-6

Zabbuli 115:18

Footnotes

  • *

    Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1993, lup. 5-6

General

Zab. 115:1Is 48:11; Yok 12:28
Zab. 115:1Zb 138:2
Zab. 115:2Kuv 32:12; Kbl 14:15, 16; Ma 32:26, 27; Zb 79:10
Zab. 115:4Zb 135:15-18; Is 40:19; 46:6; Yer 10:3, 4, 8, 9; Bik 19:26; 1Ko 10:19
Zab. 115:5Kab 2:19
Zab. 115:71Sa 5:3; Is 46:7
Zab. 115:7Kab 2:18
Zab. 115:8Is 44:9
Zab. 115:8Zb 97:7
Zab. 115:9Nge 3:5
Zab. 115:9Ma 33:29; Zb 33:20
Zab. 115:10Kuv 28:1
Zab. 115:11Nge 16:20
Zab. 115:11Zb 84:11
Zab. 115:12Lub 12:2
Zab. 115:14Lub 13:16
Zab. 115:15Zb 3:8
Zab. 115:15Zb 96:5
Zab. 115:16Is 66:1
Zab. 115:16Lub 1:28; Zb 37:29; Is 45:18; Bik 17:26
Zab. 115:17Zb 6:5; Mub 9:5
Zab. 115:17Zb 31:17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 115:1-18

Zabbuli

115 Si ffe, Ai Yakuwa, si ffe,*

Wabula erinnya lyo ly’oba owa ekitiibwa+

Olw’okwagala kwo okutajjulukuka n’olw’obwesigwa bwo.+

 2 Lwaki amawanga gandibuuzizza nti:

“Katonda waabwe ali ludda wa?”+

 3 Katonda waffe ali mu ggulu;

Akola byonna by’ayagala.

 4 Ebifaananyi byabwe bya ffeeza ne zzaabu,

Byakolebwa na mikono gya bantu.+

 5 Birina emimwa naye tebyogera;+

Birina amaaso naye tebiraba;

 6 Birina amatu naye tebiwulira;

Birina ennyindo naye tebiwunyiriza;

 7 Birina engalo naye tebikwata;

Birina ebigere naye tebitambula;+

Obulago bwabyo tebuvaamu ddoboozi.+

 8 Abantu ababikola balifuuka nga byo,+

Awamu n’abo bonna ababyesiga.+

 9 Ggwe Isirayiri, weesige Yakuwa+

—Y’abayamba era ye ngabo yammwe.+

10 Ggwe ennyumba ya Alooni,+ weesige Yakuwa

—Y’abayamba era ye ngabo yammwe.

11 Mmwe abatya Yakuwa, mwesige Yakuwa+

—Y’abayamba era ye ngabo yammwe.+

12 Yakuwa atujjukira era ajja kutuwa emikisa,

Ajja kuwa ennyumba ya Isirayiri emikisa;+

Ajja kuwa ennyumba ya Alooni emikisa.

13 Yakuwa ajja kuwa emikisa abo abamutya,

Abato n’abakulu.*

14 Yakuwa ajja kubafuula bangi,

Mmwe awamu n’abaana* bammwe.+

15 Yakuwa abawe emikisa,+

Oyo eyakola eggulu n’ensi.+

16 Eggulu lya Yakuwa,+

Naye ensi yagiwa abaana b’abantu.+

17 Abafu tebatendereza Ya,+

Newakubadde abo abakkirira mu kusirika.+

18 Naye ffe tujja kutenderezanga Ya

Okuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.

Mutendereze Ya!*

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share