2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
5 Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna gwe yalina okukola ku nnyumba ya Yakuwa.+ Awo Sulemaani n’aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yatukuza;+ n’ateeka ffeeza ne zzaabu n’ebintu ebirala byonna mu mawanika g’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima.+ 2 Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, abakulu b’ebika bonna, abaami b’ennyumba za bakitaabwe ba Isirayiri. Bajja e Yerusaalemi okuleeta essanduuko y’endagaano ya Yakuwa nga bagiggya mu Kibuga kya Dawudi,+ kwe kugamba, mu Sayuuni.+ 3 Abasajja ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka ku mbaga* ey’omwezi ogw’omusanvu.+
4 Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bajja, era Abaleevi ne basitula Essanduuko.+ 5 Ne baleeta Essanduuko ne weema ey’okusisinkaniramu+ n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi* baabireeta. 6 Kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri abaali bayitiddwa okumusisinkana baali mu maaso g’Essanduuko. Endiga n’ente zaasaddaakibwa,+ ne kiba nti kyali tekisoboka kumanya muwendo gwazo wadde okuzibala. 7 Awo bakabona ne baleeta essanduuko y’endagaano ya Yakuwa mu kifo kyayo, mu kisenge ky’ennyumba ekisingayo okuba munda, Awasinga Obutukuvu, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi.+ 8 Bakerubi baali banjululizza ebiwaawaatiro byabwe waggulu w’ekifo Essanduuko we yali, ne kiba nti baali babikkiridde Essanduuko n’emisituliro gyayo.+ 9 Naye emisituliro gyali miwanvu nnyo, ng’omuntu ali Awatukuvu mu maaso g’ekisenge ekisingayo okuba munda asobola okulaba emitwe gyagyo, naye ng’ali ebweru tasobola kugiraba; era emisituliro egyo gikyali eyo n’okutuusa leero. 10 Mu Ssanduuko temwalimu kintu kirala kyonna okuggyako ebipande by’amayinja ebibiri Musa bye yateekeramu e Kolebu,+ Yakuwa bwe yakola endagaano+ n’abantu ba Isirayiri bwe baali nga bava e Misiri.+
11 Bakabona bwe baafuluma mu kifo ekitukuvu (kubanga bakabona bonna abaaliwo, ka babe ba mu kibinja ki,+ baali beetukuzza),+ 12 Abaleevi bonna abayimbi+ abaali aba Asafu,+ aba Kemani,+ aba Yedusuni,+ n’abaana baabwe, ne baganda baabwe, baali bambadde engoye ennungi nga bakutte ebitaasa n’ebivuga eby’enkoba n’entongooli; baali bayimiridde ku luuyi lw’ekyoto olw’ebuvanjuba nga bali wamu ne bakabona 120 abaali bafuuwa amakondeere.+ 13 Abafuuyi b’amakondeere n’abayimbi bwe baakwataganya wamu amaloboozi gaabwe nga batendereza era nga beebaza Yakuwa, era bwe baayimusa amaloboozi g’amakondeere, ag’ebitaasa, n’ag’ebivuga ebirala nga batendereza Yakuwa, “kubanga mulungi; okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,”+ ennyumba, ennyumba ya Yakuwa n’ejjula ekire.+ 14 Bakabona ne batasobola kweyongera kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Yakuwa kyajjula ennyumba ya Katonda ow’amazima.+