LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yekoyakazi, kabaka wa Isirayiri (1-9)

      • Yekowaasi, kabaka wa Isirayiri (10-13)

      • Erisa agezesa Yekowaasi (14-19)

      • Erisa afa; omusajja akoona ku magumba ge n’azuukira (20, 21)

      • Obunnabbi bwa Erisa obwasembayo butuukirira (22-25)

2 Bassekabaka 13:1

Marginal References

  • +2Sk 11:2, 21
  • +2Sk 8:26; 9:27
  • +2Sk 10:30, 35

2 Bassekabaka 13:2

Marginal References

  • +1Sk 12:28-30; 13:33; 14:16

2 Bassekabaka 13:3

Marginal References

  • +Beb 12:29
  • +Lev 26:14, 17
  • +1Sk 19:17; 2Sk 8:12
  • +2Sk 13:24

2 Bassekabaka 13:4

Marginal References

  • +Kuv 3:7; Bal 10:16; 2Sk 14:26, 27

2 Bassekabaka 13:5

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, nga bali mu mirembe era nga batebenkedde.

Marginal References

  • +Nek 9:27

2 Bassekabaka 13:6

Footnotes

  • *

    Obut., “Yakitambuliramu.”

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +2Sk 10:29; 17:21
  • +Ma 7:5; 1Sk 14:15; 16:33

2 Bassekabaka 13:7

Marginal References

  • +2Sk 8:12; 10:32
  • +Am 1:3

2 Bassekabaka 13:9

Marginal References

  • +2Sk 10:35

2 Bassekabaka 13:10

Marginal References

  • +2Sk 14:1

2 Bassekabaka 13:11

Footnotes

  • *

    Obut., “Yatambulira mu bibi ebyo.”

Marginal References

  • +2Sk 10:29

2 Bassekabaka 13:12

Marginal References

  • +2Sk 14:8, 13

2 Bassekabaka 13:13

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, Yerobowaamu ow’okubiri.

Marginal References

  • +2Sk 10:35; 13:9
  • +2Sk 14:28

2 Bassekabaka 13:14

Marginal References

  • +1Sk 19:16
  • +2Sk 2:11, 12

2 Bassekabaka 13:17

Footnotes

  • *

    Oba, “ak’obulokozi.”

  • *

    Oba, “Ojja kuwangula.”

Marginal References

  • +1Sa 29:1; 1Sk 20:26

2 Bassekabaka 13:19

Marginal References

  • +2Sk 13:25

2 Bassekabaka 13:20

Footnotes

  • *

    Obut., “ku kujja kw’omwaka,” kirabika mu ttoggo.

Marginal References

  • +2Sk 1:1; 24:2

2 Bassekabaka 13:21

Marginal References

  • +Yok 11:44; Beb 11:35

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2017, lup. 5

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2005, lup. 21

2 Bassekabaka 13:22

Marginal References

  • +1Sk 19:15
  • +2Sk 8:12; 10:32

2 Bassekabaka 13:23

Marginal References

  • +2Sk 14:26, 27
  • +Lub 13:14-16
  • +Lub 26:3
  • +Lub 28:13; Zb 105:8; Mi 7:20

2 Bassekabaka 13:25

Marginal References

  • +2Sk 13:19

General

2 Bassek. 13:12Sk 11:2, 21
2 Bassek. 13:12Sk 8:26; 9:27
2 Bassek. 13:12Sk 10:30, 35
2 Bassek. 13:21Sk 12:28-30; 13:33; 14:16
2 Bassek. 13:3Beb 12:29
2 Bassek. 13:3Lev 26:14, 17
2 Bassek. 13:31Sk 19:17; 2Sk 8:12
2 Bassek. 13:32Sk 13:24
2 Bassek. 13:4Kuv 3:7; Bal 10:16; 2Sk 14:26, 27
2 Bassek. 13:5Nek 9:27
2 Bassek. 13:62Sk 10:29; 17:21
2 Bassek. 13:6Ma 7:5; 1Sk 14:15; 16:33
2 Bassek. 13:72Sk 8:12; 10:32
2 Bassek. 13:7Am 1:3
2 Bassek. 13:92Sk 10:35
2 Bassek. 13:102Sk 14:1
2 Bassek. 13:112Sk 10:29
2 Bassek. 13:122Sk 14:8, 13
2 Bassek. 13:132Sk 10:35; 13:9
2 Bassek. 13:132Sk 14:28
2 Bassek. 13:141Sk 19:16
2 Bassek. 13:142Sk 2:11, 12
2 Bassek. 13:171Sa 29:1; 1Sk 20:26
2 Bassek. 13:192Sk 13:25
2 Bassek. 13:202Sk 1:1; 24:2
2 Bassek. 13:21Yok 11:44; Beb 11:35
2 Bassek. 13:221Sk 19:15
2 Bassek. 13:222Sk 8:12; 10:32
2 Bassek. 13:232Sk 14:26, 27
2 Bassek. 13:23Lub 13:14-16
2 Bassek. 13:23Lub 26:3
2 Bassek. 13:23Lub 28:13; Zb 105:8; Mi 7:20
2 Bassek. 13:252Sk 13:19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 13:1-25

2 Bassekabaka

13 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogw’obufuzi bwa Yekowaasi+ mutabani wa Akaziya+ kabaka wa Yuda, Yekoyakazi mutabani wa Yeeku+ yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era yafugira emyaka 17. 2 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa, era yeeyongera okutambulira mu kibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati kye yaleetera Isirayiri okukola.+ Teyakirekaayo. 3 N’olwekyo Yakuwa yasunguwalira+ Isirayiri+ n’abawaayo mu mukono gwa Kabaka Kazayeeri+ owa Busuuli ne mu mukono gwa Beni-kadadi+ mutabani wa Kazayeeri ekiseera ekyo kyonna.

4 Nga wayiseewo ekiseera, Yekoyakazi yeegayirira Yakuwa amusaasire, Yakuwa n’amuwuliriza, kubanga yali alabye engeri kabaka wa Busuuli gye yanyigirizaamu Abayisirayiri.+ 5 Awo Yakuwa n’awa Isirayiri omulokozi+ n’abanunula okuva mu mukono gw’Abasuuli, Abayisirayiri ne baba nga basobola okubeera mu maka gaabwe nga bwe kyabanga edda.* 6 (Kyokka, tebaalekayo kibi ennyumba ya Yerobowaamu kye yaleetera Abayisirayiri okukola.+ Beeyongera okukola ekibi ekyo,* era n’ekikondo ekisinzibwa*+ kyeyongera okubeera mu Samaliya.) 7 Eggye lya Yekoyakazi lyasigalamu abeebagala embalaasi 50 bokka, amagaali 10, n’abasajja 10,000 abatambuza ebigere, olw’okuba kabaka wa Busuuli yali abazikirizza,+ n’abalinnyirira ng’enfuufu y’omu gguuliro.+

8 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yekoyakazi, ebyo byonna bye yakola nga mw’otwalidde n’ebikolwa bye eby’obuzira, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 9 Awo Yekoyakazi n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu Samaliya,+ mutabani we Yekowaasi n’amusikira ku bwakabaka.

10 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Kabaka Yekowaasi owa Yuda, Yekowaasi+ mutabani wa Yekoyakazi yafuuka kabaka wa Isirayiri, era yafugira mu Samaliya emyaka 16. 11 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa n’atalekaayo bibi byonna Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Abayisirayiri okukola.+ Yeeyongera okukola ebibi ebyo.*

12 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yekowaasi, ebyo byonna bye yakola nga mw’otwalidde n’ebikolwa bye eby’obuzira era ne bwe yalwanyisa Kabaka Amaziya owa Yuda,+ biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 13 Awo Yekowaasi n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu Samaliya ne bakabaka ba Isirayiri,+ Yerobowaamu*+ n’amusikira ku bwakabaka.

14 Erisa+ bwe yalwala obulwadde obwamuviirako okufa, Yekowaasi kabaka wa Isirayiri yagenda gye yali okumulaba n’akaaba ng’agamba nti: “Kitange, kitange! Eggaali lya Isirayiri ery’olutalo n’abasajja be abeebagala embalaasi!”+ 15 Awo Erisa n’amugamba nti: “Kwata omutego n’obusaale.” Yekowaasi n’akwata omutego n’obusaale. 16 Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti: “Teeka omukono gwo ku mutego.” Kabaka n’ateeka omukono gwe ku mutego, oluvannyuma Erisa naye n’ateeka emikono gye ku mikono gya kabaka. 17 N’amugamba nti: “Ggulawo eddirisa eritunudde ebuvanjuba.” N’aliggulawo. Erisa n’amugamba nti: “Lasa!” Kabaka n’alasa. Erisa n’agamba nti: “Ako ke kasaale ka Yakuwa ak’obuwanguzi,* era ke kasaale akanaawangula Abasuuli! Ojja kutta* Abasuuli mu Afeki+ okutuusa lw’onoobamalawo.”

18 Erisa era n’amugamba nti: “Kwata obusaale.” N’abukwata. Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti: “Lasa obusaale ku ttaka.” Awo kabaka n’alasa emirundi esatu, n’alekera awo. 19 Omusajja wa Katonda ow’amazima n’asunguwalira kabaka, n’amugamba nti: “Wandirasizza emirundi etaano oba mukaaga! Olwo wandikubye Abasuuli okutuusa lwe wandibamaliddewo ddala. Naye kaakano ojja kuwangula Abasuuli emirundi esatu gyokka.”+

20 Oluvannyuma Erisa yafa ne bamuziika. Waaliwo ebibinja by’abazigu+ eby’Abamowaabu ebyajjanga mu nsi ku ntandikwa y’omwaka.* 21 Lwali lumu abantu bwe baali baziika omusajja, ne balaba ekibinja ky’abazigu, amangu ago ne basuula omulambo gwe mu ntaana ya Erisa, ne badduka. Omulambo gw’omusajja bwe gwakoona ku magumba ga Erisa, omusajja n’alamuka+ n’ayimirira.

22 Kabaka Kazayeeri+ owa Busuuli yanyigiriza nnyo Abayisirayiri+ ekiseera ky’obufuzi bwa Yekoyakazi kyonna. 23 Naye Yakuwa yabakwatirwa ekisa n’abasaasira+ era n’alaga nti abafaako olw’endagaano gye yakola ne Ibulayimu,+ ne Isaaka,+ ne Yakobo.+ Teyayagala kubazikiriza, era tabagobanga mu maaso ge n’okutuusa leero. 24 Kabaka Kazayeeri owa Busuuli bwe yafa, Beni-kadadi mutabani we n’amusikira ku bwakabaka. 25 Awo Yekowaasi mutabani wa Yekoyakazi n’aggya ku Beni-kadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali awambye ku kitaawe Yekoyakazi mu lutalo. Yekowaasi yamuwangula emirundi esatu+ n’amuggyako ebibuga bya Isirayiri.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share