LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Omubuulizi 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo (1-8)

      • Okunyumirwa obulamu kirabo okuva eri Katonda (9-15)

        • Eky’okubeerawo emirembe gyonna kiri mu mitima gy’abantu (11)

      • Katonda alamula bonna mu bwenkanya (16, 17)

      • Abantu n’ebisolo byonna bifa (18-22)

        • Byonna bidda mu nfuufu (20)

Omubuulizi 3:1

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    10/1/1999, lup. 16-17

Omubuulizi 3:2

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 1 2017 lup. 14

Omubuulizi 3:4

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “eky’okubuukabuuka.”

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1999, lup. 17-19

    6/1/1993, lup. 21

    Essanyu mu Maka, lup. 97-98

Omubuulizi 3:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1999, lup. 19-21

Omubuulizi 3:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Sa 3:31
  • +Zb 39:1
  • +1Sa 19:4; 25:23, 24; Es 4:13, 14; Zb 145:11; Nge 9:8

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    3/2020, lup. 18-23

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2019, lup. 11-12

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2015, lup. 19-20

    5/15/2009, lup. 3-5

    10/1/1999, lup. 23-26

    12/1/1988, lup. 27-30

    Essanyu mu Maka, lup. 66

Omubuulizi 3:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 139:21; Bar 12:9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2012, lup. 13-14

    10/1/1999, lup. 21-23

Omubuulizi 3:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mub 1:3; 5:15, 16

Omubuulizi 3:11

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “mu ngeri entegeke obulungi; nga kisaanira.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 1:31; Bar 1:20

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 25

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2019 lup. 4

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 2 2016 lup. 5

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2015, lup. 13

    1/1/2014, lup. 4-5

    12/1/2006, lup. 30

    6/1/2002, lup. 3

    5/1/1999, lup. 4-6

    4/1/1996, lup. 14-15

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 318-319

Omubuulizi 3:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 37:3; 1Se 5:15

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2009, lup. 19

    3/1/1997, lup. 16-17

Omubuulizi 3:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mub 5:18, 19; Is 65:21, 22

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2009, lup. 19

    3/1/2006, lup. 23

    3/1/1997, lup. 16-17

Omubuulizi 3:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 10:7; Kub 15:4

Omubuulizi 3:15

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekyayita.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mub 1:9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 30

Omubuulizi 3:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 82:2; 94:16, 21

Omubuulizi 3:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mub 12:14; Bik 17:31; Bar 2:5, 6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1999, lup. 26

Omubuulizi 3:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yob 14:10; Zb 39:5; 89:48
  • +Lub 7:22; Zb 104:29; Mub 12:7

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1997, lup. 10-11

    Okumanya, lup. 82

Omubuulizi 3:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mub 9:10
  • +Lub 2:7, 19
  • +Lub 3:19; Yob 10:9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 29

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1997, lup. 10-11

    Okumanya, lup. 82

Omubuulizi 3:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 146:3, 4; Mub 3:19; 9:10

Omubuulizi 3:22

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “ogwo gwe mugabo gwe.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 12:7; Mub 5:18
  • +Yob 14:21; Mub 6:12

Ebirala

Mub. 3:72Sa 3:31
Mub. 3:7Zb 39:1
Mub. 3:71Sa 19:4; 25:23, 24; Es 4:13, 14; Zb 145:11; Nge 9:8
Mub. 3:8Zb 139:21; Bar 12:9
Mub. 3:9Mub 1:3; 5:15, 16
Mub. 3:11Lub 1:31; Bar 1:20
Mub. 3:12Zb 37:3; 1Se 5:15
Mub. 3:13Mub 5:18, 19; Is 65:21, 22
Mub. 3:14Yer 10:7; Kub 15:4
Mub. 3:15Mub 1:9
Mub. 3:16Zb 82:2; 94:16, 21
Mub. 3:17Mub 12:14; Bik 17:31; Bar 2:5, 6
Mub. 3:19Yob 14:10; Zb 39:5; 89:48
Mub. 3:19Lub 7:22; Zb 104:29; Mub 12:7
Mub. 3:20Mub 9:10
Mub. 3:20Lub 2:7, 19
Mub. 3:20Lub 3:19; Yob 10:9
Mub. 3:21Zb 146:3, 4; Mub 3:19; 9:10
Mub. 3:22Ma 12:7; Mub 5:18
Mub. 3:22Yob 14:21; Mub 6:12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Omubuulizi 3:1-22

Omubuulizi

3 Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo,

Na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kiba n’ekiseera kyakyo:

 2 Ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;

Ekiseera eky’okusimba n’ekiseera eky’okusiguukulula ekyasimbibwa;

 3 Ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;

Ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;

 4 Ekiseera eky’okukaaba n’ekiseera eky’okuseka;

Ekiseera eky’okukuba ebiwoobe n’ekiseera eky’okuzina;*

 5 Ekiseera eky’okukasuka amayinja n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanya awamu;

Ekiseera eky’okugwa mu kifuba n’ekiseera eky’obutagwa mu kifuba;

 6 Ekiseera eky’okunoonya n’ekiseera eky’okulekera awo okunoonya;

Ekiseera eky’okutereka n’ekiseera eky’okusuula;

 7 Ekiseera eky’okuyuza+ n’ekiseera eky’okutunga;

Ekiseera eky’okusirika+ n’ekiseera eky’okwogera;+

 8 Ekiseera eky’okwagala n’ekiseera eky’okukyawa;+

Ekiseera eky’olutalo n’ekiseera eky’emirembe.

9 Kiki omukozi ky’afuna olw’okukola ennyo?+ 10 Ndabye ebintu Katonda by’awadde abaana b’abantu okukolanga. 11 Buli kintu yakikola nga kirungi* era yakikola mu kiseera kyakyo.+ Yateeka mu mitima gyabwe ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna; kyokka abantu tebalitegeerera ddala bintu Katonda ow’amazima by’akoze okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.

12 Nkirabye nti eri abantu teri kisinga kusanyuka n’okukola ebirungi mu bulamu bwabwe,+ 13 era nti buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.+

14 Nkitegedde nti buli kintu Katonda ow’amazima ky’akola kijja kubeerawo emirembe gyonna. Tewali kiyinza kukyongerwako era tewali kiyinza kukiggibwako. Katonda ow’amazima yakikola bw’atyo abantu balyoke bamutye.+

15 Buli ekibeerawo kyali kibaddewo, era buli ekigenda okujja kyali kibaddewo;+ naye Katonda ow’amazima anoonya ekyo ekiwonderwa.*

16 Ndabye na kino wansi w’enjuba: Awandibadde obwenkanya waliwo bikolwa bibi, n’awandibadde obutuukirivu waliwo bikolwa bibi.+ 17 Kyennava ŋŋamba mu mutima gwange nti: “Katonda ow’amazima ajja kulamula abatuukirivu n’ababi,+ kubanga waliwo ekiseera ekya buli mulimu na buli ekikolebwa.”

18 Era nnayogera mu mutima gwange ku baana b’abantu nti Katonda ow’amazima ajja kubagezesa abalage nti balinga ensolo, 19 kubanga ekituuka ku bantu kye kituuka ne ku nsolo. Ng’ensolo bw’efa n’omuntu bw’atyo bw’afa;+ byonna birina omwoyo gwe gumu.+ N’olwekyo omuntu talina ky’asinga nsolo, kubanga byonna butaliimu. 20 Byonna bigenda mu kifo kimu.+ Byonna byava mu nfuufu+ era byonna bidda mu nfuufu.+ 21 Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, era obanga ogw’ensolo gukka wansi?+ 22 Era nnalaba nti eri omuntu, ekisinga obulungi kwe kusanyuka olw’ebyo byonna by’ateganidde,+ eyo ye mpeera ye;* kubanga ani ayinza okumusobozesa okulaba ebiribaawo ng’amaze okufa?+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza