LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Yeremiya 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Yeremiya si wa kuwasa, oba kukungubaga, oba kugenda ku bijjulo (1-9)

      • Ekibonerezo; okukomezebwawo (10-21)

Yeremiya 16:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 15:2
  • +Zb 79:2, 3; Is 5:25; Yer 7:33; 9:22; 36:30
  • +Ezk 5:12

Yeremiya 16:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 24:16, 17
  • +Ma 31:17; Is 27:11; 63:10

Yeremiya 16:6

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Buno bulombolombo obw’okukungubaga obw’ekikaafiiri, nga kirabika bwakolebwanga Abayisirayiri nga bavudde ku Katonda.

Yeremiya 16:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 24:7, 8; Yer 7:34; Kub 18:23

Yeremiya 16:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 5:19

Yeremiya 16:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bal 2:12
  • +Yer 8:1, 2
  • +Dan 9:11; Am 2:4

Yeremiya 16:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 7:26
  • +Nek 9:29; Yer 6:28

Yeremiya 16:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2By 7:20; Yer 15:14; 17:4
  • +Ma 4:27, 28; 28:36

Yeremiya 16:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 20:2; Yer 23:7, 8

Yeremiya 16:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 30:1-3; Yer 3:18; 24:6; 30:3; 32:37; Am 9:14

Yeremiya 16:16

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2020, lup. 5

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 9

Yeremiya 16:17

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “gali ku makubo gaabwe gonna.”

Yeremiya 16:18

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “n’emirambo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 40:2
  • +Lev 26:30; Zb 106:38

Yeremiya 16:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 17:17
  • +Yer 10:5, 14

Yeremiya 16:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 115:4; Yer 2:11; 1Ko 8:4

Ebirala

Yer. 16:4Yer 15:2
Yer. 16:4Zb 79:2, 3; Is 5:25; Yer 7:33; 9:22; 36:30
Yer. 16:4Ezk 5:12
Yer. 16:5Ezk 24:16, 17
Yer. 16:5Ma 31:17; Is 27:11; 63:10
Yer. 16:9Is 24:7, 8; Yer 7:34; Kub 18:23
Yer. 16:10Yer 5:19
Yer. 16:11Bal 2:12
Yer. 16:11Yer 8:1, 2
Yer. 16:11Dan 9:11; Am 2:4
Yer. 16:12Yer 7:26
Yer. 16:12Nek 9:29; Yer 6:28
Yer. 16:132By 7:20; Yer 15:14; 17:4
Yer. 16:13Ma 4:27, 28; 28:36
Yer. 16:14Kuv 20:2; Yer 23:7, 8
Yer. 16:15Ma 30:1-3; Yer 3:18; 24:6; 30:3; 32:37; Am 9:14
Yer. 16:18Is 40:2
Yer. 16:18Lev 26:30; Zb 106:38
Yer. 16:19Yer 17:17
Yer. 16:19Yer 10:5, 14
Yer. 16:20Zb 115:4; Yer 2:11; 1Ko 8:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 16:1-21

Yeremiya

16 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nate nti: 2 “Towasa mukazi era tozaala baana ba buwala na ba bulenzi mu kifo kino. 3 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku baana ab’obulenzi n’ab’obuwala abazaalibwa mu kifo kino, ne ku bannyaabwe ne ku bakitaabwe abali mu nsi eno: 4 ‘Bajja kufa endwadde embi ennyo,+ naye tewali ajja kubakungubagira wadde okubaziika; bajja kuba ng’obusa ku ttaka.+ Bajja kufa ekitala n’enjala,+ era emirambo gyabwe gijja kuba mmere ya binyonyi n’ebisolo.’

 5 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba,

‘Toyingira mu nnyumba omuli ekijjulo ky’abakungubaga,

Era togendayo kukuba biwoobe wadde okubasaasira.’+

‘Kubanga abantu bano mbaggyeeko emirembe gyange,’

‘Awamu n’okwagala kwange okutajjulukuka n’obusaasizi,’+ Yakuwa bw’agamba.

 6 ‘Abantu ab’ebitiibwa n’aba wansi bajja kufiira mu nsi eno.

Tebajja kuziikibwa,

Tewali n’omu ajja kubakungubagira,

Wadde okwesala emisale ku lwabwe oba okwemwa omutwe.*

 7 Era abakungubaga tewali ajja kubawa mmere,

Okubabudaabuda olw’okufiirwa;

Era tewali ajja kubawa kikopo kya kubudaabuda

Okunywa olw’okufiirwa kitaabwe oba nnyaabwe.

 8 Era toyingira mu nnyumba mwe baliira ekijjulo

Okutuula nabo okulya n’okunywa.’

9 “Kubanga bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Mu kifo kino, mu nnaku zammwe, era nga mukyerabirako n’amaaso gammwe, nja kukomya okusanyuka n’okujaguza, era nja kusirisa eddoboozi ly’omugole omusajja n’omugole omukazi.’+

10 “Bw’onoogamba abantu bano ebigambo ebyo byonna, bajja kukubuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa alangiridde akabi ak’amaanyi bwe katyo okututuukako? Nsobi ki era kibi ki kye tukoze mu maaso ga Yakuwa Katonda waffe?’+ 11 Ojja kubaddamu nti, ‘“Kubanga bakitammwe banvaako,”+ Yakuwa bw’agamba, “ne bagoberera bakatonda abalala, ne babaweereza, era ne babavunnamira.+ Nze banvaako, era tebaakwata mateeka gange.+ 12 Mweyisizza bubi n’okusinga bajjajjammwe,+ era buli omu agugubidde ku ky’okugoberera omutima gwe omubi mu kifo ky’okuŋŋondera.+ 13 Nja kubaggya mu nsi eno mbakasuke mu nsi gye mutamanyi era ne bajjajjammwe gye bataamanya,+ era eyo gye munaaweererezanga bakatonda abalala emisana n’ekiro,+ kubanga sijja kubasaasira.”’

14 “‘Naye ekiseera kijja,’ Yakuwa bw’agamba, ‘lwe bataligamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, eyaggya abantu ba Isirayiri mu nsi ya Misiri!”+ 15 wabula nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu eyaggya abantu ba Isirayiri mu nsi ey’ebuvanjuba ne mu nsi zonna gye yali abasaasaanyirizza!” Nja kubakomyawo mu nsi yaabwe, gye nnawa bajjajjaabwe.’+

16 ‘Laba, ŋŋenda kutumya abavubi bangi,’ Yakuwa bw’agamba,

‘Era bajja kubavubayo.

Oluvannyuma nja kutumya abayizzi bangi,

Era bajja kubayigga ku buli lusozi ne ku buli kasozi

Era ne mu mpampagama z’enjazi.

17 Kubanga amaaso gange galaba byonna bye bakola.*

Tebinkisiddwa,

Era n’ensobi zaabwe tezikisiddwa maaso gange.

18 Okusooka, nja kubasasula mu bujjuvu ekyo ekigwanira ensobi zaabwe n’ebibi byabwe,+

Kubanga boonoonye ensi yange n’ebifaananyi* byabwe ebyenyinyaza ebitalina bulamu

Era obusika bwange babujjuzza ebintu byabwe eby’omuzizo.’”+

19 Ai Yakuwa, ggwe maanyi gange era ekigo kyange,

Ggwe kifo kyange eky’okuddukiramu mu kiseera eky’okulaba ennaku,+

Ab’omu mawanga baliva mu nsi yonna ne bajja gy’oli,

Ne bagamba nti: “Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere,

Obutaliimu n’ebintu ebitalina mugaso.”+

20 Omuntu asobola okwekolera bakatonda?

Baaba akoze tebaba bakatonda ba ddala.+

21 “Kale ndibamanyisa,

Ku olwo ndibamanyisa amaanyi gange n’obuyinza bwange,

Era balimanya nti erinnya lyange nze Yakuwa.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza