LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Ekyamateeka 26
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okuwaayo ebibala ebibereberye (1-11)

      • Ekimu eky’ekkumi eky’omulundi ogw’okubiri (12-15)

      • Isirayiri, kintu kiganzi eri Yakuwa (16-19)

Ekyamateeka 26:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 23:19; Lev 23:10; Kbl 18:8, 12; 2By 6:6; 31:5; Nge 3:9

Ekyamateeka 26:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 17:1, 8; 26:3

Ekyamateeka 26:5

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “azikirira.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 28:5; Kos 12:12
  • +Lub 46:3; Bik 7:15
  • +Lub 46:27
  • +Kuv 1:7; Ma 10:22; Zb 105:24

Ekyamateeka 26:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 1:11

Ekyamateeka 26:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 3:9; 4:31; Bik 7:34

Ekyamateeka 26:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 6:6
  • +Kuv 7:3; Ma 4:33, 34

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2015, lup. 4-5

Ekyamateeka 26:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 3:8; Ma 8:7, 8; Ezk 20:6

Ekyamateeka 26:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 26:2

Ekyamateeka 26:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 12:7; 16:14

Ekyamateeka 26:12

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “mulekwa.”

  • *

    Obut., “miryango.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 12:5, 6; 14:22
  • +Ma 14:28, 29; Nge 14:21; 1Yo 3:17

Ekyamateeka 26:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yak 1:27

Ekyamateeka 26:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 23:25
  • +Lub 15:18; 26:3
  • +Ma 8:7, 8

Ekyamateeka 26:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 6:6; 11:1; Zb 119:34; 1Yo 5:3

Ekyamateeka 26:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 26:46
  • +Lev 19:37; Mub 12:13

Ekyamateeka 26:18

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “eky’omuwendo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 14:2; 29:10-13

Ekyamateeka 26:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 4:8
  • +Ma 7:6; 28:1, 9

Ebirala

Ma. 26:2Kuv 23:19; Lev 23:10; Kbl 18:8, 12; 2By 6:6; 31:5; Nge 3:9
Ma. 26:3Lub 17:1, 8; 26:3
Ma. 26:5Lub 28:5; Kos 12:12
Ma. 26:5Lub 46:3; Bik 7:15
Ma. 26:5Lub 46:27
Ma. 26:5Kuv 1:7; Ma 10:22; Zb 105:24
Ma. 26:6Kuv 1:11
Ma. 26:7Kuv 3:9; 4:31; Bik 7:34
Ma. 26:8Kuv 6:6
Ma. 26:8Kuv 7:3; Ma 4:33, 34
Ma. 26:9Kuv 3:8; Ma 8:7, 8; Ezk 20:6
Ma. 26:10Ma 26:2
Ma. 26:11Ma 12:7; 16:14
Ma. 26:12Ma 12:5, 6; 14:22
Ma. 26:12Ma 14:28, 29; Nge 14:21; 1Yo 3:17
Ma. 26:13Yak 1:27
Ma. 26:15Kuv 23:25
Ma. 26:15Lub 15:18; 26:3
Ma. 26:15Ma 8:7, 8
Ma. 26:16Ma 6:6; 11:1; Zb 119:34; 1Yo 5:3
Ma. 26:17Lev 26:46
Ma. 26:17Lev 19:37; Mub 12:13
Ma. 26:18Ma 14:2; 29:10-13
Ma. 26:19Ma 4:8
Ma. 26:19Ma 7:6; 28:1, 9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 26:1-19

Ekyamateeka

26 “Bw’olimala okuyingira mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa okuba obusika, n’ogitwala era n’ogibeeramu, 2 otoolanga ku bibereberye eby’ebibala byonna eby’ettaka by’oliggya mu nsi yo Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kisero n’ogenda mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’anaalonda erinnya lye okubeeramu.+ 3 Era ogendanga eri kabona alibaawo mu kiseera ekyo n’omugamba nti, ‘Njatula leero mu maaso ga Yakuwa Katonda wo nti nnajja mu nsi Yakuwa gye yalayirira bajjajjaffe okutuwa.’+

4 “Kabona aliggya ekisero mu mukono gwo n’akiteeka mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa Katonda wo. 5 Olyogerera mu maaso ga Yakuwa Katonda wo nti, ‘Kitange yali Mwalameeya+ omubungeesi,* era yagenda e Misiri+ n’ab’omu maka ge abaali abatono+ era n’abeera eyo ng’omugwira. Naye ng’ali eyo yafuuka eggwanga eddene era ery’amaanyi.+ 6 Abamisiri baatuyisa bubi, baatubonyaabonya, era baatukozesa emirimu gy’obuddu emikakali.+ 7 Twakaabirira Yakuwa Katonda wa bajjajjaffe, era Yakuwa n’awulira eddoboozi lyaffe n’atunuulira okubonaabona kwaffe n’obuzibu bwaffe n’okunyigirizibwa kwaffe.+ 8 Oluvannyuma Yakuwa yatuggya mu Misiri n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa,+ n’ebikolwa eby’entiisa, n’obubonero era n’ebyamagero.+ 9 Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ 10 Kaakano ndeese ebibereberye bye nkungudde mu ttaka Yakuwa lye yampa.’+

“Olibissa mu maaso ga Yakuwa Katonda wo era n’ovunnama mu maaso ga Yakuwa Katonda wo. 11 Era olisanyuka olw’ebirungi byonna Yakuwa Katonda wo by’aliba akuwadde ggwe n’ab’ennyumba yo, n’Omuleevi, n’omugwira ali mu mmwe.+

12 “Bw’omalanga okukuŋŋaanya ekimu eky’ekkumi+ kyonna eky’ebirime byo mu mwaka ogw’okusatu, omwaka ogw’ekimu eky’ekkumi, okiwanga Omuleevi n’omugwira n’omwana atalina kitaawe* ne nnamwandu, era banaakiriiranga mu bibuga* byo ne bakkuta.+ 13 Era oyogereranga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo nti, ‘Ebintu bino ebitukuvu mbiggye mu nnyumba yange ne mbiwa Omuleevi n’omugwira n’omwana atalina kitaawe ne nnamwandu,+ nga bwe wandagira. Simenye biragiro byo era sireseeyo kubikwata. 14 Tewali kintu kyonna kitukuvu kye ndidde nga ndi mu kukungubaga, era sirina kintu kitukuvu kye nkutteko nga siri mulongoofu, era tewali kintu kitukuvu kye mpaddeyo ku lw’abafu. Ŋŋondedde eddoboozi lya Yakuwa Katonda wange era nkoze byonna bye wandagira. 15 Kaakano tunula wansi ng’oyima mu ggulu, ekifo kyo ekitukuvu ky’obeeramu, owe abantu bo Isirayiri omukisa era n’ensi gy’otuwadde,+ nga bwe walayirira bajjajjaffe,+ ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’+

16 “Leero Yakuwa Katonda wo akulagira okukwata amateeka gano n’ebiragiro bino; bikwatenga era obikolereko n’omutima gwo gwonna+ n’obulamu bwo bwonna. 17 Olwa leero oleetedde Yakuwa okugamba nti ajja kubeeranga Katonda wo bw’onootambuliranga mu makubo ge, n’okwata amateeka ge+ n’ebiragiro bye,+ era n’owuliriza eddoboozi lye. 18 Yakuwa naye akuleetedde leero okugamba nti ojja kubeeranga ggwanga lye era ekintu kye ekiganzi,*+ nga bwe yakusuubiza, era nti ojja kukwata ebiragiro bye byonna, 19 era nti ajja kukugulumiza okusinga amawanga amalala gonna ge yakola,+ kikuleetere ettendo, ettutumu, n’ekitiibwa, bw’onooba eggwanga ettukuvu eri Yakuwa Katonda wo,+ nga bwe yakusuubiza.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza