Yoswa
13 Yoswa yali akaddiye nnyo.+ Awo Yakuwa n’amugamba nti: “Okaddiye nnyo, naye ekitundu ekisinga obunene eky’ensi tekinnawambibwa. 2 Bino bye bitundu ebitannawambibwa:+ ebitundu byonna eby’Abafirisuuti n’eby’Abagesuli+ 3 (okuva ku kikono ky’Omugga Kiyira* ekiri ku ludda olw’ebuvanjuba olwa* Misiri okutuuka ku nsalo ya Ekulooni ku luuyi olw’ebukiikakkono, ekitundu ekyali kitwalibwa okuba eky’Abakanani)+ nga mw’otwalidde n’ekitundu eky’abafuzi abataano ab’Abafirisuuti+—Gaaza, Asudodi,+ Asukulooni,+ Gaasi,+ ne Ekuloni;+ ensi y’Abaavi+ 4 ku luuyi olw’ebukiikaddyo; ensi yonna ey’Abakanani; Meyala eky’Abasidoni,+ okutuukira ddala e Afeki ekiri ku nsalo y’Abaamoli; 5 ensi y’Abagebali+ ne Lebanooni yonna okwolekera ebuvanjuba, okuva ku Bbaali-gaadi wansi ku Lusozi Kerumooni okutuukira ddala ku Lebo-Kamasi;*+ 6 n’ekitundu eky’Abasidoni+ bonna ababeera mu kitundu eky’ensozi, okuva e Lebanooni+ okutuukira ddala e Misulefosu-mayimu.+ Nja kubagoba mu maaso g’Abayisirayiri.+ Ojja kukiwa Abayisirayiri kibe obusika bwabwe, nga bwe nnakulagira.+ 7 Kale ensi eno ojja kugigabanyizaamu ebika omwenda n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase+ ebe obusika bwabwe.”
8 Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri ekirala eky’ekika kya Manase baatwala obusika bwabwe Musa bwe yabawa ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, nga Musa omuweereza wa Yakuwa bwe yali abubawadde:+ 9 okuva e Aloweri,+ ekiriraanye Ekiwonvu Alunoni,+ n’ekibuga ekiri mu makkati g’ekiwonvu, n’ekitundu kyonna eky’omuseetwe eky’e Medeba okutuukira ddala e Diboni; 10 n’ebibuga byonna ebya Kabaka Sikoni ow’Abaamoli, eyafuganga okuva e Kesuboni okutuuka ku nsalo y’Abaamoni;+ 11 ne Gireyaadi n’ekitundu ky’Abagesuli n’Abamaakasi+ n’Olusozi Kerumooni lwonna ne Basani+ yonna okutuukira ddala e Saleka;+ 12 obwakabaka bwonna obwa Ogi ow’omu Basani, eyali afugira mu Asutaloosi ne mu Edereyi. (Y’omu ku Baleefa abaali bakyasigaddewo)+ Musa yabawangula n’abagobamu.+ 13 Naye Abayisirayiri tebaagoba Bagesuli na Bamaakasi,+ kubanga Abagesuli n’Abamaakasi bakyabeera wamu n’Abayisirayiri n’okutuusa leero.
14 Ekika ky’Abaleevi kye kyokka ky’ataawa busika.+ Ebiweebwayo eri Yakuwa Katonda wa Isirayiri ebyokebwa n’omuliro bwe busika bwabwe,+ nga Yakuwa bwe yabasuubiza.+
15 Awo Musa n’awa ab’ekika kya Lewubeeni obusika, ng’empya zaabwe bwe zaali, 16 era ekitundu kyabwe kyali kiva e Aloweri, ekiriraanye Ekiwonvu Alunoni, n’ekibuga ekiri mu makkati g’ekiwonvu, n’ekitundu kyonna eky’omuseetwe ekiriraanye Medeba; 17 Kesuboni n’obubuga bwakyo+ bwonna obwali mu kitundu eky’omuseetwe, ne Diboni, ne Bamosi-bbaali, ne Besa-bbaali-myoni,+ 18 ne Yakazi,+ ne Kedemosi,+ ne Mefaasi,+ 19 ne Kiriyasayimu, ne Sibima,+ ne Zeresi-sakali, ekiri ku lusozi oluliraanye ekiwonvu, 20 ne Besu-pyoli, ne wansi wa Pisuga,+ ne Besu-yesimosi,+ 21 n’ebibuga byonna ebiri mu kitundu eky’omuseetwe, n’obwakabaka bwonna obwa Kabaka Sikoni ow’Abaamoli eyafugiranga mu Kesuboni.+ Musa yamuwangula+ awamu n’abaami Abamidiyaani, Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli, ne Leeba,+ abaali wansi w’obuyinza* bwa Sikoni, abaali babeera mu nsi eyo. 22 Balamu+ mutabani wa Byoli, omulaguzi,+ Abayisirayiri baamutta n’ekitala awamu n’abalala abattibwa. 23 Yoludaani ye yali ensalo y’Abalewubeeni; era ekitundu ekyo nga mw’otwalidde ebibuga awamu n’ebyalo ebibyetoolodde, bwe bwali obusika bw’Abalewubeeni ng’empya zaabwe bwe zaali.
24 Ate Musa yawa ekika kya Gaadi obusika, kwe kugamba, Abagaadi ng’empya zaabwe bwe zaali, 25 era ekitundu kyabwe kyali kizingiramu Yazeri+ n’ebibuga byonna eby’omu Gireyaadi n’ekitundu kimu kya kubiri eky’ensi y’Abaamoni+ okutuukira ddala e Aloweri, ekiri mu maaso ga Labba;+ 26 era n’okuva e Kesuboni+ okutuuka e Lamasu-mizupe n’e Betonimu, n’okuva e Makanayimu+ okutuuka ku nsalo ya Debiri; 27 ne mu kiwonvu, ne Besu-kalani, ne Besu-nimira,+ ne Sukkosi,+ ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo eky’obwakabaka bwa Kabaka Sikoni owa Kesuboni,+ ng’ensalo eva ku Yoludaani n’etuukira ddala ku nkomerero y’Ennyanja Kinneresi*+ ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani. 28 Obwo bwe bwali obusika bw’Abagaadi ng’empya zaabwe bwe zaali, awamu n’ebibuga n’ebyalo ebibyetoolodde.
29 Ate Musa yawa ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase obusika, ne buba bwabwe n’empya zaabwe.+ 30 Ekitundu kyabwe kyali kiva e Makanayimu+ ne kizingiramu Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Kabaka Ogi owa Basani, n’obubuga obutono bwonna obwa Yayiri+ obwali mu Basani, obubuga 60. 31 N’ekitundu kimu kya kubiri ekya Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Edereyi,+ ebibuga eby’obwakabaka bwa Ogi mu Basani, byaweebwa abaana ba Makiri,+ mutabani wa Manase, kwe kugamba, ekitundu ekimu eky’okubiri eky’abaana ba Makiri, ng’empya zaabwe bwe zaali.
32 Ebyo bye bitundu Musa bye yabawa okuba obusika, bwe baali mu ddungu lya Mowaabu emitala wa Yoludaani, ebuvanjuba wa Yeriko.+
33 Naye ekika ky’Abaleevi Musa teyakiwa busika.+ Yakuwa Katonda wa Isirayiri bwe busika bwabwe, nga bwe yabasuubiza.+