LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ennyumba ya Dawudi yeeyongera okuba ey’amaanyi (1)

      • Abaana ba Dawudi (2-5)

      • Abuneeri adda ku ludda lwa Dawudi (6-21)

      • Yowaabu atta Abuneeri (22-30)

      • Dawudi akungubagira Abuneeri (31-39)

2 Samwiri 3:1

Marginal References

  • +1Sa 15:27, 28; 24:17, 20; 26:25
  • +2Sa 2:17

2 Samwiri 3:2

Marginal References

  • +1By 3:1-4
  • +2Sa 13:1
  • +1Sa 25:43

2 Samwiri 3:3

Marginal References

  • +1Sa 25:42
  • +2Sa 15:12
  • +2Sa 13:37

2 Samwiri 3:4

Marginal References

  • +1Sk 1:5

2 Samwiri 3:6

Marginal References

  • +2Sa 2:8

2 Samwiri 3:7

Marginal References

  • +2Sa 21:8-11
  • +2Sa 2:10
  • +2Sa 16:21; 1Sk 2:22

2 Samwiri 3:9

Marginal References

  • +1Sa 15:27, 28; Zb 78:70; 89:20

2 Samwiri 3:10

Marginal References

  • +Bal 20:1; 2Sa 24:2

2 Samwiri 3:11

Marginal References

  • +2Sa 3:39

2 Samwiri 3:12

Footnotes

  • *

    Obut., “era laba! omukono gwange guli naawe.”

Marginal References

  • +2Sa 5:3

2 Samwiri 3:13

Marginal References

  • +1Sa 18:20; 19:11; 1By 15:29

2 Samwiri 3:14

Marginal References

  • +2Sa 2:10
  • +1Sa 18:25, 27

2 Samwiri 3:15

Marginal References

  • +1Sa 25:44

2 Samwiri 3:16

Marginal References

  • +2Sa 16:5; 1Sk 2:8

2 Samwiri 3:18

Marginal References

  • +1Sa 13:14; 15:27, 28; 16:1, 13; Zb 89:3, 20; 132:17; Bik 13:22

2 Samwiri 3:19

Marginal References

  • +1Sa 10:20, 21; 1By 12:29

2 Samwiri 3:23

Marginal References

  • +2Sa 8:16
  • +1Sa 14:50; 2Sa 2:8, 22
  • +1Sa 14:51

2 Samwiri 3:27

Footnotes

  • *

    Obut., “olw’omusaayi gwa.”

Marginal References

  • +2Sa 3:20
  • +1Sk 2:5
  • +2Sa 2:22, 23

2 Samwiri 3:28

Marginal References

  • +Lub 9:6; Kuv 21:12; Kbl 35:33; Ma 21:9

2 Samwiri 3:29

Footnotes

  • *

    Oboolyawo ayogera ku musajja omulema akola emirimu gy’abakazi.

Marginal References

  • +Zb 7:16; 55:23; Nge 5:22
  • +Lev 15:2
  • +Lev 13:44; Kbl 5:2
  • +Ma 27:24; Zb 109:2, 10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2005, lup. 9

2 Samwiri 3:30

Marginal References

  • +2Sa 2:24
  • +2Sa 2:8
  • +2Sa 2:23

2 Samwiri 3:34

Footnotes

  • *

    Obut., “kikomo.”

  • *

    Obut., “abaana b’obutali butuukirivu.”

Marginal References

  • +1Sk 2:31, 32

2 Samwiri 3:35

Footnotes

  • *

    Oba, “emmere ey’okukungubaga.”

Marginal References

  • +Bal 20:26

2 Samwiri 3:37

Marginal References

  • +2Sa 3:28; 1Sk 2:5

2 Samwiri 3:38

Marginal References

  • +1Sa 14:50; 2Sa 2:8; 3:12

2 Samwiri 3:39

Marginal References

  • +2Sa 2:4
  • +1By 2:15, 16
  • +2Sa 19:13; 20:10
  • +2Sa 3:29; 1Sk 2:5, 34

General

2 Sam. 3:11Sa 15:27, 28; 24:17, 20; 26:25
2 Sam. 3:12Sa 2:17
2 Sam. 3:21By 3:1-4
2 Sam. 3:22Sa 13:1
2 Sam. 3:21Sa 25:43
2 Sam. 3:31Sa 25:42
2 Sam. 3:32Sa 15:12
2 Sam. 3:32Sa 13:37
2 Sam. 3:41Sk 1:5
2 Sam. 3:62Sa 2:8
2 Sam. 3:72Sa 21:8-11
2 Sam. 3:72Sa 2:10
2 Sam. 3:72Sa 16:21; 1Sk 2:22
2 Sam. 3:91Sa 15:27, 28; Zb 78:70; 89:20
2 Sam. 3:10Bal 20:1; 2Sa 24:2
2 Sam. 3:112Sa 3:39
2 Sam. 3:122Sa 5:3
2 Sam. 3:131Sa 18:20; 19:11; 1By 15:29
2 Sam. 3:142Sa 2:10
2 Sam. 3:141Sa 18:25, 27
2 Sam. 3:151Sa 25:44
2 Sam. 3:162Sa 16:5; 1Sk 2:8
2 Sam. 3:181Sa 13:14; 15:27, 28; 16:1, 13; Zb 89:3, 20; 132:17; Bik 13:22
2 Sam. 3:191Sa 10:20, 21; 1By 12:29
2 Sam. 3:232Sa 8:16
2 Sam. 3:231Sa 14:50; 2Sa 2:8, 22
2 Sam. 3:231Sa 14:51
2 Sam. 3:272Sa 3:20
2 Sam. 3:271Sk 2:5
2 Sam. 3:272Sa 2:22, 23
2 Sam. 3:28Lub 9:6; Kuv 21:12; Kbl 35:33; Ma 21:9
2 Sam. 3:29Zb 7:16; 55:23; Nge 5:22
2 Sam. 3:29Lev 15:2
2 Sam. 3:29Lev 13:44; Kbl 5:2
2 Sam. 3:29Ma 27:24; Zb 109:2, 10
2 Sam. 3:302Sa 2:24
2 Sam. 3:302Sa 2:8
2 Sam. 3:302Sa 2:23
2 Sam. 3:341Sk 2:31, 32
2 Sam. 3:35Bal 20:26
2 Sam. 3:372Sa 3:28; 1Sk 2:5
2 Sam. 3:381Sa 14:50; 2Sa 2:8; 3:12
2 Sam. 3:392Sa 19:13; 20:10
2 Sam. 3:392Sa 3:29; 1Sk 2:5, 34
2 Sam. 3:392Sa 2:4
2 Sam. 3:391By 2:15, 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 3:1-39

2 Samwiri

3 Olutalo olwali wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi lweyongera mu maaso; Dawudi yeeyongera okubeera ow’amaanyi,+ naye ng’ennyumba ya Sawulo yeeyongera kunafuwa bunafuyi.+

2 Mu kiseera ekyo nga Dawudi ali e Kebbulooni,+ yazaala abaana ab’obulenzi. Omwana we omubereberye yali Amunoni+ era nnyina ye yali Akinowamu+ ow’e Yezuleeri. 3 Ow’okubiri yali Kireyaabu era nnyina ye yali Abbigayiri+ nnamwandu wa Nabbali Omukalumeeri; ow’okusatu yali Abusaalomu+ mutabani wa Maaka muwala wa Talumaayi+ kabaka wa Gesuli. 4 Ow’okuna yali Adoniya+ mutabani wa Kaggisi, ow’okutaano yali Sefatiya mutabani wa Abitali. 5 N’ow’omukaaga yali Isuleyamu era nnyina ye yali Egula mukazi wa Dawudi. Abo Dawudi be yazaalira e Kebbulooni.

6 Olutalo wakati w’ennyumba ya Sawulo n’eya Dawudi bwe lwali nga lweyongera mu maaso, Abuneeri+ yeeyongera okunyweza ekifo kye mu nnyumba ya Sawulo. 7 Sawulo yalina omuzaana eyali ayitibwa Lizupa,+ muwala wa Aya. Lumu Isu-bosesi+ yagamba Abuneeri nti: “Lwaki weegatta n’omuzaana wa kitange?”+ 8 Abuneeri n’asunguwala nnyo olw’ebigambo bya Isu-bosesi n’agamba nti: “Ndi mutwe gwa mbwa ya mu Yuda? Okutuusa leero mbadde ndaga okwagala okutajjulukuka eri ennyumba ya Sawulo kitaawo, ne baganda be, ne mikwano gye, era sikuwaddeeyo mu mukono gwa Dawudi, kyokka kati onvunaana omusango olw’omukazi. 9 Katonda abonereze Abuneeri era ayongere ku kibonerezo kye, bwe siikolere Dawudi nga Yakuwa bwe yamulayirira+ 10 nti ajja kuggya obwakabaka mu nnyumba ya Sawulo era anyweze obwakabaka bwa Dawudi ku Isirayiri ne ku Yuda, okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba.”+ 11 Isu-bosesi teyasobola kwanukula Abuneeri kigambo kirala olw’okuba yali amutya.+

12 Amangu ago Abuneeri n’atuma ababaka eri Dawudi bamugambe nti: “Ensi y’ani?” Yagattako nti: “Kola nange endagaano, era nja kukola kyonna kye nsobola* okuzza Isirayiri yonna ku ludda lwo.”+ 13 Awo Dawudi n’amugamba nti: “Ekyo kirungi! Nja kukola naawe endagaano. Naye ekintu kyokka kye nkusaba kiri nti tojja gye ndi okuggyako ng’osoose kuleeta Mikali+ muwala wa Sawulo.” 14 Awo Dawudi n’atuma ababaka eri Isu-bosesi+ mutabani wa Sawulo ng’agamba nti: “Mpa mukazi wange Mikali gwe nnasasulira ebikuta by’Abafirisuuti 100.”+ 15 Bw’atyo Isu-bosesi n’atuma baggye Mikali ku bba Palutiyeri+ mutabani wa Layisi. 16 Naye bba n’atambula naye, n’amugoberera nga bw’akaaba okutuukira ddala e Bakulimu.+ Abuneeri n’amugamba nti: “Ddayo!” Awo n’addayo.

17 Abuneeri yaweereza obubaka eri abakadde ba Isirayiri ng’agamba nti: “Mumaze ebbanga nga mwagala Dawudi abeere kabaka wammwe. 18 Kaakano mubeeko kye mukolawo, kubanga Yakuwa yagamba Dawudi nti, ‘Okuyitira mu muweereza wange Dawudi+ nja kununula abantu bange Abayisirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna.’” 19 Oluvannyuma Abuneeri yayogera n’abantu ba Benyamini.+ Ate era yagenda e Kebbulooni okwogera ne Dawudi mu kyama okumubuulira ebyo Isirayiri n’ennyumba ya Benyamini yonna bye baali bakkaanyizzaako.

20 Abuneeri bwe yatuuka eri Dawudi e Kebbulooni n’abasajja 20, Dawudi n’abafumbira ekijjulo. 21 Awo Abuneeri n’agamba Dawudi nti: “Ka ŋŋende nkuŋŋaanyize Isirayiri yonna eri mukama wange kabaka, bakole naawe endagaano, era ojja kufuga Isirayiri yonna.” Dawudi n’asiibula Abuneeri, Abuneeri n’agenda mirembe.

22 Mu kiseera ekyo Yowaabu n’abaweereza ba Dawudi ne bakomawo nga bava ku lutabaalo, nga balina omunyago mungi nnyo. Kyokka Abuneeri yali takyali ne Dawudi mu Kebbulooni kubanga Dawudi yali amusiibudde era ng’agenze mirembe. 23 Yowaabu n’eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, Yowaabu+ n’ategeezebwa nti: “Abuneeri+ mutabani wa Neeri+ yazze eri kabaka, kabaka n’amusiibula n’agenda mirembe.” 24 Yowaabu kwe kugenda eri kabaka n’amugamba nti: “Kiki ky’okoze? Abuneeri yazze gy’oli. Lwaki wamusiibudde n’agenda mirembe? 25 Omanyi bulungi Abuneeri mutabani wa Neeri! Yazze kukulimbalimba n’okumanya amakubo go gonna era ne byonna by’okola.”

26 Awo Yowaabu n’ava awali Dawudi n’atuma ababaka okuwondera Abuneeri, ne bamusanga ku luzzi lwa Siira ne bamukomyawo, naye Dawudi teyakimanyaako. 27 Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni,+ Yowaabu n’amuyingiza mu mulyango ayogere naye mu kyama. Kyokka Yowaabu n’amufumitira awo mu lubuto n’afa,+ olw’okutta* muganda we Asakeri.+ 28 Oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, n’agamba nti: “Yakuwa akimanyi nti nze n’obwakabaka bwange tetuvunaanyizibwa kufa kwa Abuneeri+ mutabani wa Neeri emirembe gyonna. 29 Omusango ka gubeere ku Yowaabu+ ne ku nnyumba ya kitaawe yonna. Ennyumba ya Yowaabu k’eremenga kubulamu musajja alina endwadde emuleetera okuvaamu amazzi mu bitundu bye eby’ekyama,+ oba omugenge,+ oba alanga ewuzi,* oba attibwa n’ekitala, oba atalina mmere!”+ 30 Yowaabu ne muganda we Abisaayi+ batta Abuneeri,+ olw’okuba yali yatta muganda waabwe Asakeri mu lutalo+ e Gibiyoni.

31 Dawudi n’agamba Yowaabu n’abantu bonna abaali naye nti: “Muyuze ebyambalo byammwe era mwesibe ebibukutu mukungubagire Abuneeri.” Kabaka Dawudi yali agoberera akatanda kwe baali basitulidde omulambo. 32 Awo ne baziika Abuneeri e Kebbulooni, era kabaka n’atemera emiranga ku ntaana ya Abuneeri, n’abantu bonna ne bakaaba. 33 Kabaka yakungubagira Abuneeri ng’agamba nti:

“Abuneeri yandifudde ng’omusirusiru bw’afa?

34 Emikono gyo gyabadde tegisibiddwa,

N’ebigere byo byabadde tebiteekeddwako mpingu.*

Wafudde ng’omuntu attiddwa abamenyi b’amateeka.”*+

Awo abantu bonna ne baddamu okumukaabira.

35 Oluvannyuma abantu bonna baagenda okuwa Dawudi emmere ey’okumubudaabuda* ng’obudde bukyali misana, naye Dawudi n’alayira nti: “Katonda ambonereze era ayongere ku kibonerezo kyange, singa nnaakomba ku mmere oba ku kintu kyonna ng’enjuba tennagwa!”+ 36 Abantu bonna baakiraba ne kibasanyusa. Okufaananako ebintu ebirala byonna kabaka bye yakolanga, ekintu ekyo kyasanyusa abantu bonna. 37 Abantu bonna ne Isirayiri yonna ne bakitegeera ku lunaku olwo nti kabaka si ye yali avunaanyizibwa okuttibwa kwa Abuneeri mutabani wa Neeri.+ 38 Kabaka n’agamba abaweereza be nti: “Temukimanyi nti omuntu omukulu era ow’ekitiibwa ennyo afudde mu Isirayiri olwa leero?+ 39 Olwa leero siri wa maanyi wadde nga nnafukibwako amafuta okuba kabaka,+ era obukambwe bwa batabani ba Zeruyiya+ bumpitiriddeko.+ Yakuwa k’asasule omukozi w’ebibi ng’ebikolwa bye ebibi bwe biri.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share