LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Peetero 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okulamusa (1)

      • Musigale nga muli beesigwa (2-15)

        • Engeri endala ezongerwa ku kukkiriza (5-9)

      • Ekigambo ky’obunnabbi kyongedde okukakasibwa (16-21)

2 Peetero 1:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2002, lup. 3

2 Peetero 1:2

Marginal References

  • +Bak 1:9

2 Peetero 1:3

Footnotes

  • *

    Oba, “gatuwadde ku bwereere.”

Marginal References

  • +Yok 17:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1990, lup. 6

2 Peetero 1:4

Footnotes

  • *

    Oba, “atuwadde ku bwereere.”

Marginal References

  • +Luk 22:29, 30; Yok 14:2; Bag 3:29
  • +1Ko 15:53; 1Pe 1:3, 4; 1Yo 3:2; Kub 20:6

2 Peetero 1:5

Marginal References

  • +Baf 2:12; 2Ti 2:15; Beb 4:11; Yud 3
  • +Baf 4:8
  • +Yok 17:3; Beb 5:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 8

    4/1/1994, lup. 13-18

    3/1/1994, lup. 15, 20-24

    3/1/1990, lup. 5

2 Peetero 1:6

Marginal References

  • +1Ko 9:25; 2Ti 2:24
  • +2Pe 2:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2003, lup. 12

    8/1/2002, lup. 7-11

    5/1/1994, lup. 16-24

    4/1/1994, lup. 18-23

    3/1/1994, lup. 15-16

2 Peetero 1:7

Marginal References

  • +1Se 4:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2009, lup. 14

    6/1/1994, lup. 14-18, 19-24

    3/1/1994, lup. 15-16

2 Peetero 1:8

Marginal References

  • +Tit 3:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/1994, lup. 18

2 Peetero 1:9

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “muzibe, alaba kumpi.”

Marginal References

  • +1Yo 2:9; Kub 3:17
  • +Beb 9:14

2 Peetero 1:10

Marginal References

  • +Beb 3:1
  • +2Ti 4:7, 8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2016, lup. 19

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2012, lup. 21

2 Peetero 1:11

Marginal References

  • +Dan 2:44
  • +Luk 16:9; Yok 3:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2016, lup. 19

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2012, lup. 22-23

    3/1/1990, lup. 5

2 Peetero 1:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2003, lup. 19

2 Peetero 1:13

Footnotes

  • *

    Obut., “weema eno.”

Marginal References

  • +2Ko 5:1
  • +Bar 15:15; Yud 5

2 Peetero 1:14

Footnotes

  • *

    Obut., “weema eno.”

Marginal References

  • +Yok 21:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1994, lup. 16

2 Peetero 1:15

Footnotes

  • *

    Oba, “okwogeranga.”

2 Peetero 1:16

Marginal References

  • +Mat 17:2; Mak 9:2; Luk 9:29

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 144

    3/1/1994, lup. 16-17

2 Peetero 1:17

Marginal References

  • +Zb 2:7; Mat 17:1, 5; Mak 9:7; Luk 9:35

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 144

    3/1/1994, lup. 16-17

2 Peetero 1:18

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 144

    3/1/1994, lup. 16-17

2 Peetero 1:19

Marginal References

  • +Zb 119:105; Yok 1:9
  • +Kbl 24:17; Kub 22:16

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 144

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2017

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2008, lup. 22

    2/1/2005, lup. 9

    6/1/2000, lup. 15

    4/1/2000, lup. 20-22

    3/1/1994, lup. 17-18

2 Peetero 1:20

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 7

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2000, lup. 23

2 Peetero 1:21

Marginal References

  • +2Ti 3:16
  • +2Sa 23:2; Bik 1:16; 28:25; 1Pe 1:11

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 5

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2019, lup. 9-11

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2012, lup. 25-26

General

2 Peet. 1:2Bak 1:9
2 Peet. 1:3Yok 17:3
2 Peet. 1:4Luk 22:29, 30; Yok 14:2; Bag 3:29
2 Peet. 1:41Ko 15:53; 1Pe 1:3, 4; 1Yo 3:2; Kub 20:6
2 Peet. 1:5Baf 2:12; 2Ti 2:15; Beb 4:11; Yud 3
2 Peet. 1:5Baf 4:8
2 Peet. 1:5Yok 17:3; Beb 5:14
2 Peet. 1:61Ko 9:25; 2Ti 2:24
2 Peet. 1:62Pe 2:9
2 Peet. 1:71Se 4:9
2 Peet. 1:8Tit 3:14
2 Peet. 1:91Yo 2:9; Kub 3:17
2 Peet. 1:9Beb 9:14
2 Peet. 1:10Beb 3:1
2 Peet. 1:102Ti 4:7, 8
2 Peet. 1:11Dan 2:44
2 Peet. 1:11Luk 16:9; Yok 3:5
2 Peet. 1:132Ko 5:1
2 Peet. 1:13Bar 15:15; Yud 5
2 Peet. 1:14Yok 21:18
2 Peet. 1:16Mat 17:2; Mak 9:2; Luk 9:29
2 Peet. 1:17Zb 2:7; Mat 17:1, 5; Mak 9:7; Luk 9:35
2 Peet. 1:19Zb 119:105; Yok 1:9
2 Peet. 1:19Kbl 24:17; Kub 22:16
2 Peet. 1:212Ti 3:16
2 Peet. 1:212Sa 23:2; Bik 1:16; 28:25; 1Pe 1:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Peetero 1:1-21

2 Peetero

1 Nze Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo omungi ng’okwaffe okuyitira mu butuukirivu bwa Katonda waffe n’Omulokozi Yesu Kristo:

2 Ekisa eky’ensusso n’emirembe bibongerweko olw’okutegeerera ddala+ Katonda ne Mukama waffe Yesu. 3 Kubanga amaanyi ga Katonda gatuwadde* ebintu byonna ebitusobozesa okuba n’obulamu obw’okwemalira ku Katonda, okuyitira mu kutegeerera ddala Oyo eyatuyita+ olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe. 4 Okuyitira mu bintu ebyo, atuwadde* ebisuubizo eby’omuwendo era eby’ekitalo,+ okuyitira mu byo musobole okugabana ku kitiibwa kya Katonda ng’ebitonde eby’omwoyo,+ nga mumaze okulekayo empisa embi ez’ensi ezireetebwa okwegomba okubi.

5 Olw’ensonga eno, mufubenga nnyo+ okwongera ku kukkiriza kwammwe obulungi,+ ku bulungi bwammwe, okumanya,+ 6 ku kumanya kwammwe, okwefuga, ku kwefuga kwammwe,+ okugumiikiriza, ku kugumiikiriza kwammwe, okwemalira ku Katonda,+ 7 ku kwemalira ku Katonda, okwagalana ng’ab’oluganda, ku kwagalana ng’ab’oluganda, okwagala.+ 8 Kubanga bwe muba n’ebintu ebyo mu bungi, bijja kubakugira okuba abantu abatakola oba abatabala bibala+ bwe kituuka ku kussa mu nkola ebintu bye mwategeera obulungi ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo.

9 Kubanga omuntu bw’ataba na bintu ebyo, aba muzibe, era aba takkiriza kulaba kitangaala,*+ ate era aba yeerabidde nti yanaazibwako ebibi bye+ eby’emabega. 10 N’olwekyo ab’oluganda, mufube nnyo okusigala nga muli beesigwa ng’abo abaayitibwa+ era abaalondebwa; kubanga bwe mweyongera okukola ebintu bino, temujja kugwa.+ 11 Bwe mukola mutyo, muliyingizibwa n’ekitiibwa mu Bwakabaka obutaliggwaawo+ obwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo.+

12 Olw’ensonga eyo, nja kubajjukizanga ebintu bino wadde nga mubimanyi era nga munyweredde mu mazima ge mwayiga. 13 Naye nga nkyali mu mubiri guno,*+ nkiraba nga kirungi okubajjukizanga+ ebintu bino, 14 kubanga nkimanyi nti nnaatera okuva mu mubiri guno* nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.+ 15 Ate era nja kufubanga nga bwe nsobola, musobole okwejjukizanga* ebintu bino nga mmaze okuvaawo.

16 Bwe twabategeeza obuyinza bwa Mukama waffe Yesu Kristo n’okubeerawo kwe, tetwasinziira ku ngero ez’obulimba ezaagunjibwa obugunjibwa, naye twalabako n’amaaso gaffe ekitiibwa kye.+ 17 Kubanga yafuna okuva eri Katonda Kitaffe ekitiibwa n’ettendo, Katonda ensibuko y’ekitiibwa ekitagambika bwe yamugamba ebigambo bino: “Ono ye mwana wange omwagalwa gwe nsiima.”+ 18 Ebigambo bino twabiwulira nga biva mu ggulu bwe twali naye ku lusozi olutukuvu.

19 N’olwekyo, twongedde okukakasa ekigambo ky’obunnabbi era mukola bulungi okukissaako omwoyo ng’ettaala+ eyakira mu kizikiza (okutuusa obudde lwe busaasaana era emmunnyeenye ey’oku makya+ n’evaayo) mu mitima gyammwe. 20 Okusookera ddala, mukimanyi nti tewali bunnabbi bwonna mu Byawandiikibwa busibuka mu kulowooza kw’abantu. 21 Kubanga tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu,+ naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share