LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 65
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omusango Yakuwa gw’asalidde abasinza ebifaananyi (1-16)

        • Katonda Mukisa ne katonda Omugeresi (11)

        • “Abaweereza bange balirya” (13)

      • Eggulu eriggya n’ensi empya (17-25)

        • Okuzimba amayumba; okusimba ennimiro z’emizabbibu (21)

        • Tewaliba ateganira bwereere (23)

Isaaya 65:1

Marginal References

  • +Is 55:6, 7
  • +Bar 10:20, 21

Isaaya 65:2

Marginal References

  • +Ma 31:27; Nek 9:29; Zek 7:11
  • +Is 59:7, 8; Yer 35:15
  • +Yer 5:23

Isaaya 65:3

Marginal References

  • +2Sk 17:16, 17; Yer 32:29
  • +Is 1:29; 66:17

Isaaya 65:4

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “busiisira bw’abakuumi.”

  • *

    Oba, “ebitali birongoofu.”

Marginal References

  • +Kbl 19:16
  • +Lev 11:7, 8; Is 66:17
  • +Ma 14:3

Isaaya 65:5

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kubanga nja kukuwa obutukuvu bwange.”

Isaaya 65:6

Footnotes

  • *

    Obut., “mu kifuba kyabwe.”

Marginal References

  • +Zb 50:3, 21; Yer 16:18; Ezk 11:21

Isaaya 65:7

Footnotes

  • *

    Obut., “mu kifuba kyabwe.”

Marginal References

  • +Kuv 20:4, 5; Lev 26:39
  • +1Sk 22:41, 43; 2Sk 12:3

Isaaya 65:8

Footnotes

  • *

    Obut., “kirimu omukisa.”

Marginal References

  • +Yer 30:11; Am 9:8

Isaaya 65:9

Marginal References

  • +Is 60:21; Ezk 37:21; Ob 17
  • +Is 61:7; Zef 3:20

Isaaya 65:10

Marginal References

  • +Is 33:9
  • +Yos 7:24; Kos 2:15

Isaaya 65:11

Marginal References

  • +Is 1:4
  • +2By 28:24; 34:25

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 44

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2006, lup. 25

Isaaya 65:12

Marginal References

  • +Lev 26:25; Ezk 6:13
  • +Ezk 9:6
  • +2By 36:15, 16
  • +Is 66:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2006, lup. 25

Isaaya 65:13

Marginal References

  • +Zb 37:19, 25; Am 8:11
  • +Is 49:10
  • +Is 66:14
  • +Is 66:5

Isaaya 65:15

Marginal References

  • +Is 62:2; Yer 33:16

Isaaya 65:16

Footnotes

  • *

    Oba, “ow’obwesigwa.” Obut., “Amiina.”

  • *

    Oba, “ow’obwesigwa.” Obut., “Amiina.”

Marginal References

  • +Ma 6:13
  • +Is 12:1; Yer 31:12; Zef 3:14, 15

Isaaya 65:17

Marginal References

  • +Ezr 5:2; Is 51:16; 66:22; 2Pe 3:13
  • +Kub 21:1, 4

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 26

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    2/2017, lup. 7

    5/1/2000, lup. 9-11, 14

    3/1/1994, lup. 19-20

    Ddala Katonda Afaayo, lup. 28

Isaaya 65:18

Marginal References

  • +Is 51:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 9-10

Isaaya 65:19

Marginal References

  • +Is 62:4; Yer 32:41
  • +Is 25:8; Yer 31:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 9-10

Isaaya 65:20

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Era oyo ataliweza myaka kikumi alitwalibwa ng’eyakolimirwa.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2018, lup. 11

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 16

    9/1/1989, lup. 13

Isaaya 65:21

Marginal References

  • +Yer 31:4
  • +Is 62:8; Am 9:14

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 27

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/15/2012, lup. 9

    5/1/2000, lup. 16-17

Isaaya 65:22

Marginal References

  • +Zb 92:12-14

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 27

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2018, lup. 5

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2009, lup. 16

    5/1/2000, lup. 16-17

Isaaya 65:23

Marginal References

  • +Lev 26:3-5; Ma 28:4
  • +Is 61:9
  • +Is 66:22

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 27

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 17

Isaaya 65:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 17

Isaaya 65:25

Marginal References

  • +Is 35:9; Kos 2:18
  • +Is 2:3, 4; 11:6-9; Mi 4:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/15/2012, lup. 9-10

    5/1/2000, lup. 17-18

General

Is. 65:1Is 55:6, 7
Is. 65:1Bar 10:20, 21
Is. 65:2Ma 31:27; Nek 9:29; Zek 7:11
Is. 65:2Is 59:7, 8; Yer 35:15
Is. 65:2Yer 5:23
Is. 65:32Sk 17:16, 17; Yer 32:29
Is. 65:3Is 1:29; 66:17
Is. 65:4Kbl 19:16
Is. 65:4Lev 11:7, 8; Is 66:17
Is. 65:4Ma 14:3
Is. 65:6Zb 50:3, 21; Yer 16:18; Ezk 11:21
Is. 65:7Kuv 20:4, 5; Lev 26:39
Is. 65:71Sk 22:41, 43; 2Sk 12:3
Is. 65:8Yer 30:11; Am 9:8
Is. 65:9Is 60:21; Ezk 37:21; Ob 17
Is. 65:9Is 61:7; Zef 3:20
Is. 65:10Is 33:9
Is. 65:10Yos 7:24; Kos 2:15
Is. 65:11Is 1:4
Is. 65:112By 28:24; 34:25
Is. 65:12Lev 26:25; Ezk 6:13
Is. 65:12Ezk 9:6
Is. 65:122By 36:15, 16
Is. 65:12Is 66:3
Is. 65:13Zb 37:19, 25; Am 8:11
Is. 65:13Is 49:10
Is. 65:13Is 66:14
Is. 65:13Is 66:5
Is. 65:15Is 62:2; Yer 33:16
Is. 65:16Ma 6:13
Is. 65:16Is 12:1; Yer 31:12; Zef 3:14, 15
Is. 65:17Ezr 5:2; Is 51:16; 66:22; 2Pe 3:13
Is. 65:17Kub 21:1, 4
Is. 65:18Is 51:11
Is. 65:19Is 62:4; Yer 32:41
Is. 65:19Is 25:8; Yer 31:12
Is. 65:21Yer 31:4
Is. 65:21Is 62:8; Am 9:14
Is. 65:22Zb 92:12-14
Is. 65:23Lev 26:3-5; Ma 28:4
Is. 65:23Is 61:9
Is. 65:23Is 66:22
Is. 65:25Is 35:9; Kos 2:18
Is. 65:25Is 2:3, 4; 11:6-9; Mi 4:2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 65:1-25

Isaaya

65 “Nnakkiriza okunoonyezebwa abo abaali batambuulirizaako;

Nnakkiriza okuzuulibwa abo abatannoonya.+

Nnagamba eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange+ nti, ‘Nzuuno, nzuuno!’

 2 Olunaku lwonna ngololedde abantu abajeemu emikono gyange,+

Abatambulira mu kkubo eritali ddungi,+

Abagendera ku bye balowooza;+

 3 Abantu abakola mu lujjudde buli kiseera ebintu ebinnyiiza,+

Abaweerayo ssaddaaka mu nnimiro+ era abanyookereza omukka gwa ssaddaaka ku matoffaali.

 4 Batuula mu malaalo,+

Era ekiro kyonna bakimala mu bifo ebyekusifu,*

Nga balya ennyama y’embizzi,+

Era ssupu w’ebintu ebyenyinyaza* ali mu bibya byabwe.+

 5 Bagamba nti, ‘Beera eyo wekka; tonsemberera,

Kubanga ndi mutukuvu okukusinga.’*

Bano mukka mu nnyindo zange, muliro ogwaka okuzibya obudde.

 6 Laba! Kiwandiikiddwa mu maaso gange;

Sijja kuyimirira buyimirizi,

Naye nja kubasasula,+

Nja kubasasula mu bujjuvu*

 7 Olw’ensobi zaabwe n’olw’ensobi za bajjajjaabwe,”+ Yakuwa bw’agamba.

“Olw’okuba banyookerezza omukka gwa ssaddaaka ku nsozi

Era banzivooledde ku busozi,+

Nja kusooka kubapimira empeera yaabwe mu bujjuvu.”*

 8 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Ng’omwenge omusu bwe gusangibwa mu kirimba ky’ezzabbibu,

Omuntu n’agamba nti, ‘Tokyonoona, kubanga kirimu ekintu ekirungi,’*

Bwe ntyo bwe nja okukola ku lw’abaweereza bange;

Sijja kubazikiriza bonna.+

 9 Nja kuggya mu Yakobo ezzadde,

Nja kuggya mu Yuda oyo anaasikira ensozi zange;+

Abalonde bange bajja kutwala ensi yange ey’ensozi,

Era abaweereza bange bajja kubeera eyo.+

10 Saloni+ kijja kubeera ddundiro lya ndiga,

Era Ekiwonvu Akoli+ kijja kubeera kifo

Ente z’abantu bange abannoonya mwe ziwummulira.

11 Naye mmwe bamu ku abo abaleka Yakuwa,+

Abo abeerabira olusozi lwange olutukuvu,+

Abo abategekera katonda Mukisa emmeeza,

Era abo abajjuliza katonda Omugeresi ebikopo by’omwenge omutabule.

12 N’olwekyo, nja kubagerekera ekitala,+

Era mmwenna mujja kukutama wansi muttibwe,+

Kubanga nnabayita naye temwayitaba,

Nnayogera naye temwawuliriza;+

Mwakolanga ebintu ebibi mu maaso gange,

Era mwalondawo ebitansanyusa.”+

13 N’olwekyo, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:

“Laba! Abaweereza bange balirya, naye mmwe mulirumwa enjala.+

Laba! Abaweereza bange balinywa,+ naye mmwe mulirumwa ennyonta.

Laba! Abaweereza bange balisanyuka,+ naye mmwe muliswala.+

14 Laba! Abaweereza bange balyogerera waggulu n’essanyu, olw’essanyu eririba mu mitima gyabwe,

Naye mmwe mulikaaba olw’obulumi obuliba mu mitima gyammwe,

Era mulikuba ebiwoobe olw’okwennyamira mu mwoyo.

15 Mulirekawo erinnya abalonde bange lye balikozesa ng’ekikolimo,

Era Yakuwa Mukama Afuga Byonna alibatta mmwenna.

Naye abaweereza be alibayita erinnya eddala;+

16 Bwe kityo buli eyeenoonyeza omukisa mu nsi

Katonda ow’amazima* alimuwa omukisa,

Era buli alirayira mu nsi

Alirayira mu linnya lya Katonda ow’amazima.*+

Ebizibu ebyasooka tebirijjukirwa;

Biriggibwa mu maaso gange.+

17 Kubanga laba! Ntonda eggulu eriggya n’ensi empya;+

Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa,

Era tebirisigala mu mutima.+

18 N’olwekyo musanyuke era mujaganye emirembe gyonna olw’ekyo kye ntonda.

Kubanga laba! Ntonda Yerusaalemi okuba ekintu ekireeta essanyu,

N’abantu baamu okuba ekintu ekisanyusa.+

19 Nja kusanyuka olwa Yerusaalemi, era nja kujaguza olw’abantu bange;+

Tewajja kuddamu kuwulirwayo ddoboozi lya kukaaba oba okutema emiranga olw’ennaku.”+

20 “Eyo teriddayo kubaayo mwana muwere afa nga yaakamala nnaku bunaku,

Wadde omukadde atalimalayo nnaku ze.

Oyo alifiira ku myaka kikumi alitwalibwa ng’abadde akyali omwana obwana,

Era omwonoonyi alikolimirwa ne bw’aliba ng’aweza emyaka kikumi.*

21 Balizimba ennyumba ne bazibeeramu,+

Era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu.+

22 Tebalizimba omulala n’abeeramu,

Era tebalisimba abalala ne balya.

Kubanga ennaku z’abantu bange ziriba ng’ennaku z’omuti,+

Era abalonde bange balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe.

23 Tebaliteganira bwereere,+

Era tebalizaala baana ba kulaba nnaku,

Kubanga lye zzadde ly’abo Yakuwa be yawa omukisa,+

Awamu ne bazzukulu baabwe.+

24 Ne bwe baliba tebannankowoola, ndiyitaba;

Bwe baliba bakyayogera, ndiwulira.

25 Omusege n’omwana gw’endiga biririira wamu,

Empologoma erirya omuddo ng’ente,+

Era enfuufu y’eriba emmere y’omusota.

Tebirikola kabi konna wadde okuzikiriza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu,”+ Yakuwa bw’agamba.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share