Yoweeri
2 “Mufuuwe eŋŋombe mu Sayuuni!+
Mulaye enduulu z’olutalo ku lusozi lwange olutukuvu.
Abantu bonna ababeera mu nsi ka bakankane,
Kubanga olunaku lwa Yakuwa lujja!+ Luli kumpi!
2 Lunaku lwa kizikiza eky’amaanyi,+
Lunaku lwa bire ebikutte,+
Lulinga ekitangaala ekimulisa ku nsozi ng’obudde bukya.
Waliwo eggwanga eddene era ery’amaanyi;+
Tewabangawo lirifaanana,
Era tewalibaawo ddala liriba nga lyo
Mu mirembe gyonna egiriddawo.
3 Mu maaso gaalyo omuliro gugenda gwokya,
Era emabega waalyo ennimi z’omuliro zigenda zisaanyaawo.+
Ensi eri mu maaso gaalyo eringa olusuku Edeni,+
Naye emabega waalyo eriyo ddungu jjereere,
Era tewali kiyinza kuwonawo.
4 Lifaanana ng’embalaasi,
Era badduka ng’embalaasi ez’olutalo.+
5 Bawuuma ng’amagaali ag’olutalo nga babuukira ku ntikko z’ensozi,+
Era ng’omuliro ogubuubuuka ogwokya ebisubi.
Balinga abantu ab’amaanyi abasimbye ennyiriri okulwana.+
6 Balireetera amawanga okuba mu bulumi.
Okutya kulyeyoleka mu maaso g’abantu bonna.
7 Bafubutuka ng’abalwanyi.
Balinnya bbugwe ng’abasirikale.
Buli omu tava mu kkubo lye,
Era buli omu tawuguka kuva mu mpenda ze.
8 Tebasindikagana;
Buli omu atambulira mu kkubo lye.
Eby’okulwanyisa bwe bisuula abamu,
Abalala basigala bakyeyongerayo.
9 Bafubutuka ne bayingira ekibuga, baddukira ku bbugwe.
Bawalampa amayumba, bayingirira mu madirisa ng’ababbi.
10 Ensi ekankanira mu maaso gaabwe, n’eggulu liyuuguuma.
Enjuba n’omwezi bikutte ekizikiza,+
N’emmunyeenye tezikyayaka.
11 Yakuwa alyogera eri abasirikale be+ mu ddoboozi ery’omwanguka, kubanga eggye lye ddene nnyo.+
Oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi;
Olunaku lwa Yakuwa lukulu era lwa ntiisa nnyo.+
Ani ayinza okulugumira?”+
12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba nti, “Kale kaakano mudde gye ndi n’omutima gwammwe gwonna,+
Nga musiiba,+ nga mukaaba, era nga mukuba ebiwoobe.
13 Muyuze emitima gyammwe+ so si byambalo byammwe,+
Mudde eri Yakuwa Katonda wammwe,
Kubanga wa kisa era musaasizi, alwawo okusunguwala+ era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+
Era alyerowooza* ku kabi k’ayagala okuleeta ku bantu be.
14 Ani amanyi obanga alireka obusungu bwe ne yeerowooza*+
N’alekawo omukisa,
Ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa eby’okuwaayo eri Yakuwa Katonda wammwe?
15 Mufuuwe eŋŋombe mu Sayuuni!
Mulangirire* okusiiba; muyite olukuŋŋaana olw’enjawulo.+
16 Mukuŋŋaanye abantu; mutukuze ekibiina.+
Mukuŋŋaanye abasajja abakadde; mukuŋŋaanye abaana abato n’abo abakyayonka.+
Omugole omusajja ave mu kisenge kye eky’omunda, n’omugole omukazi naye ave mu kisenge kye.
17 Bakabona, abaweereza ba Yakuwa
Ka bakaabire wakati w’ekisasi n’ekyoto+ nga bagamba nti:
‘Kwatirwa abantu bo ekisa, Ai Yakuwa;
Obusika bwo tobufuula kintu ekinyoomebwa,
Ng’oleka amawanga okubafuga.
Lwaki amawanga gandibuuzizza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?”’+
18 Awo Yakuwa alikwatibwa obuggya olw’ensi ye
N’asaasira abantu be.+
19 Yakuwa aligamba abantu be nti:
‘Laba mbawa emmere ey’empeke n’omwenge omusu n’amafuta,
Era mulikkutira ddala;+
Siriddamu nate kubafuula kivume mu mawanga.+
20 Ndigobera wala oyo ow’ebukiikakkono ave we muli;
Ndimusaasaanyiza mu nsi enkalu eyafuuka amatongo,
Ng’ekitundu eky’omu maaso kyolekedde ennyanja ey’ebuvanjuba,*
Ate ng’eky’emabega kyolekedde ennyanja ey’ebugwanjuba.*
21 Totya ggwe ensi.
Sanyuka era ojaganye, kubanga Yakuwa alikola ebintu eby’ekitalo.
22 Temutya mmwe ensolo ez’oku ttale,
Kubanga omuddo gw’omu ddungu gulibeera gwa kiragala.+
23 Mmwe abaana ba Sayuuni musanyuke era mujaganye olw’ebyo Yakuwa Katonda wammwe by’alibakolera;+
Kubanga alibawa enkuba eya ddumbi mu kigero ekituufu,
Era alibatonnyeseza enkuba nnyingi,
Enkuba eya ddumbi n’enkuba eya ttoggo, nga bwe kyabanga mu kusooka.+
24 Amawuuliro galijjula emmere ey’empeke,
N’amasogolero galijjula ne gabooga omwenge omusu n’amafuta.+
25 Ndibasasula emyaka
Enzige ezibeera mu bibinja n’enzige ezitannamera biwaawaatiro n’enzige ezirya ennyo n’enzige ezivaabira gye zaamala nga zirya ebirime byammwe;
Eggye lyange eddene lye nnabasindikira.+
26 Mulirya ne mukkuta,+
Era mulitendereza erinnya lya Yakuwa Katonda wammwe,+
Abakoledde ebintu eby’ekitalo;
Abantu bange tebaliddamu kuswazibwa.+
Abantu bange tebaliddamu kuswazibwa.
28 Oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange+ ku bantu aba buli ngeri,
Era batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi,
Abasajja bammwe abakadde baliroota ebirooto,
N’abavubuka bammwe balyolesebwa.+
29 Era n’abaddu bange abasajja n’abakazi
Ndibafukako omwoyo gwange mu nnaku ezo.
30 Era ndikola ebintu ebyewuunyisa* ku ggulu ne ku nsi.
Walibaawo omusaayi n’omuliro n’empagi ez’omukka.+
31 Enjuba erifuuka kizikiza, n’omwezi gulifuuka musaayi+
Ng’olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa lunaatera okutuuka,+
32 Era buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa;+
Kubanga walibaawo abaliwonawo+ ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, nga Yakuwa bw’agambye,
Abo abaliwonawo Yakuwa b’ayita.”