LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Abebbulaniya 10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ssaddaaka ez’ensolo tezisobola kuggyako muntu bibi (1-4)

        • Amateeka gaali kisiikirize (1)

      • Kristo yawaayo ssaddaaka emu emirembe n’emirembe (5-18)

      • Ekkubo eddamu era eriggya (19-25)

        • Obutalekaayo kukuŋŋaana wamu(24, 25)

      • Balabulwa beewale okwonoona mu bugenderevu (26-31)

      • Kyetaagisa obuvumu n’okukkiriza okusobola okugumiikiriza (32-39)

Abebbulaniya 10:1

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “abantu tebasobola.”

Marginal References

  • +Beb 8:5
  • +Bak 2:16, 17
  • +Beb 7:19; 9:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2000, lup. 11

Abebbulaniya 10:2

Footnotes

  • *

    Oba, “abo abeenyigira mu buweereza obutukuvu.”

Abebbulaniya 10:3

Marginal References

  • +Lev 16:34

Abebbulaniya 10:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1992, lup. 5

Abebbulaniya 10:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 6 2017 lup. 8

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2000, lup. 12

    7/1/1996, lup. 16

Abebbulaniya 10:6

Marginal References

  • +Zb 40:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2000, lup. 12

Abebbulaniya 10:7

Footnotes

  • *

    Obut., “mu muzingo gw’ekitabo.”

Marginal References

  • +Zb 40:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2012, lup. 28

    9/1/2000, lup. 12

Abebbulaniya 10:9

Marginal References

  • +Zb 40:6-8

Abebbulaniya 10:10

Marginal References

  • +Bag 1:4
  • +Beb 13:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2020, lup. 31

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 16-17

Abebbulaniya 10:11

Marginal References

  • +1Sa 2:27, 28
  • +Kuv 29:38; Kbl 28:3
  • +Beb 7:18; 10:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2000, lup. 9

Abebbulaniya 10:12

Marginal References

  • +Bar 8:34

Abebbulaniya 10:13

Marginal References

  • +Zb 110:1; 1Ko 15:25

Abebbulaniya 10:14

Marginal References

  • +Beb 7:19

Abebbulaniya 10:16

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Yer 31:33; Beb 8:10

Abebbulaniya 10:17

Marginal References

  • +Yer 31:34; Beb 8:12

Abebbulaniya 10:19

Marginal References

  • +Beb 9:8, 24

Abebbulaniya 10:20

Footnotes

  • *

    Obut., “lye yatongoza ku lwaffe.”

Marginal References

  • +Mat 27:51

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 10-11

    7/1/1996, lup. 17

Abebbulaniya 10:21

Marginal References

  • +Zek 6:13; Beb 3:6

Abebbulaniya 10:22

Marginal References

  • +1Yo 1:7
  • +Bef 5:25, 26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2000, lup. 12-13

Abebbulaniya 10:23

Marginal References

  • +1Ko 15:58; Bak 1:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2000, lup. 14

    1/1/2000, lup. 15

    6/1/1988, lup. 8

Abebbulaniya 10:24

Footnotes

  • *

    Oba, “afeeyo; asseeyo omwoyo.”

Marginal References

  • +Bak 3:23; 1Ti 6:18

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 10

    Yakuwa by’Ayagala, essomo 6

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2013, lup. 19-21

    3/15/2013, lup. 16

    4/1/2009, lup. 29

    9/1/2000, lup. 14-15

    1/1/2000, lup. 14-15

    4/1/1999, lup. 9

    Okumanya, lup. 163

Abebbulaniya 10:25

Marginal References

  • +Ma 31:12; Bik 2:42
  • +Is 35:3; Bar 1:11, 12
  • +Bar 13:11; 2Pe 3:11, 12

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 10

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2018, lup. 20-24

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2016, lup. 6-7

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2013, lup. 19, 21-22

    4/1/2009, lup. 29

    3/1/2002, lup. 30

    9/1/2000, lup. 14-15

    4/1/2000, lup. 14

    1/1/2000, lup. 14-15

    12/1/1999, lup. 16

    7/1/1994, lup. 23-24

    9/1/1992, lup. 9

    12/1/1991, lup. 8-11, 12-13

Abebbulaniya 10:26

Marginal References

  • +2Pe 2:21
  • +Mat 12:32; Beb 6:4-6; 1Yo 5:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2012, lup. 14

    5/1/1993, lup. 13

Abebbulaniya 10:27

Marginal References

  • +Is 26:11

Abebbulaniya 10:28

Marginal References

  • +Ma 17:6

Abebbulaniya 10:29

Marginal References

  • +Mat 26:27, 28; Luk 22:20
  • +Beb 6:4-6

Abebbulaniya 10:30

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Ma 32:35, 36

Abebbulaniya 10:32

Marginal References

  • +2Ko 4:6; Beb 6:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2000, lup. 9

Abebbulaniya 10:33

Footnotes

  • *

    Oba, “mwayimiriranga.”

Abebbulaniya 10:34

Marginal References

  • +Mat 5:12
  • +Luk 16:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2007, lup. 21-22

    1/1/2006, lup. 20-21

    5/1/2001, lup. 24-25

Abebbulaniya 10:35

Footnotes

  • *

    Obut., “kwogera na buvumu.”

Marginal References

  • +Mat 10:32; 1Ko 15:58

Abebbulaniya 10:36

Marginal References

  • +Luk 21:19; Yak 5:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2015, lup. 30-31

    11/1/1992, lup. 4

Abebbulaniya 10:37

Marginal References

  • +Is 26:20
  • +Kab 2:3; 2Pe 3:9

Abebbulaniya 10:38

Marginal References

  • +Yok 3:16; Bar 1:17
  • +Kab 2:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 21

    1/1/2000, lup. 12-13

Abebbulaniya 10:39

Marginal References

  • +2Pe 2:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2006, lup. 16

    1/1/2000, lup. 6-15

General

Beb. 10:1Beb 8:5
Beb. 10:1Bak 2:16, 17
Beb. 10:1Beb 7:19; 9:9
Beb. 10:3Lev 16:34
Beb. 10:6Zb 40:6
Beb. 10:7Zb 40:8
Beb. 10:9Zb 40:6-8
Beb. 10:10Bag 1:4
Beb. 10:10Beb 13:12
Beb. 10:111Sa 2:27, 28
Beb. 10:11Kuv 29:38; Kbl 28:3
Beb. 10:11Beb 7:18; 10:1
Beb. 10:12Bar 8:34
Beb. 10:13Zb 110:1; 1Ko 15:25
Beb. 10:14Beb 7:19
Beb. 10:16Yer 31:33; Beb 8:10
Beb. 10:17Yer 31:34; Beb 8:12
Beb. 10:19Beb 9:8, 24
Beb. 10:20Mat 27:51
Beb. 10:21Zek 6:13; Beb 3:6
Beb. 10:221Yo 1:7
Beb. 10:22Bef 5:25, 26
Beb. 10:231Ko 15:58; Bak 1:23
Beb. 10:24Bak 3:23; 1Ti 6:18
Beb. 10:25Ma 31:12; Bik 2:42
Beb. 10:25Is 35:3; Bar 1:11, 12
Beb. 10:25Bar 13:11; 2Pe 3:11, 12
Beb. 10:262Pe 2:21
Beb. 10:26Mat 12:32; Beb 6:4-6; 1Yo 5:16
Beb. 10:27Is 26:11
Beb. 10:28Ma 17:6
Beb. 10:29Mat 26:27, 28; Luk 22:20
Beb. 10:29Beb 6:4-6
Beb. 10:30Ma 32:35, 36
Beb. 10:322Ko 4:6; Beb 6:4
Beb. 10:34Mat 5:12
Beb. 10:34Luk 16:9
Beb. 10:35Mat 10:32; 1Ko 15:58
Beb. 10:36Luk 21:19; Yak 5:11
Beb. 10:37Is 26:20
Beb. 10:37Kab 2:3; 2Pe 3:9
Beb. 10:38Yok 3:16; Bar 1:17
Beb. 10:38Kab 2:4
Beb. 10:392Pe 2:20
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Abebbulaniya 10:1-39

Abebbulaniya

10 Okuva Amateeka bwe gali ekisiikirize obusiikirize+ eky’ebintu ebirungi ebigenda okujja,+ so si ebintu ebyo byennyini, tegasobola* kufuula abo abasinza Katonda okuba abatuukiridde+ okuyitira mu kuwangayo ssaddaaka ze zimu buli mwaka. 2 Singa kyali bwe kityo, ssaddaaka zandibadde tezaakoma dda okuweebwayo, olw’okuba abo abazireeta * bandibadde baatukuzibwa omulundi gumu nga tebakyemanyiiko kibi? 3 Naye ssaddaaka ezo zijjukiza abantu ebibi buli mwaka,+ 4 kubanga omusaayi gw’ente ennume n’ogw’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.

5 N’olwekyo, bw’ajja mu nsi agamba nti: “‘Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri. 6 Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi tewabisiima.’+ 7 Awo ne ŋŋamba nti, ‘Laba! Nzize (kyampandiikibwako mu muzingo*) okukola by’oyagala, Ai Katonda.’”+ 8 Oluvannyuma lw’okugamba nti: “Tewayagala era tewasiima ssaddaaka, n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ekibi”—ssaddaaka eziweebwayo okusinziira ku Mateeka— 9 agamba nti: “Laba! Nzize okukola by’oyagala.”+ Aggyawo ekisooka asobole okussaawo eky’okubiri. 10 Olw’ebyo Katonda ‘by’ayagala,’+ tutukuziddwa okuyitira mu kuweebwayo kw’omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.+

11 Era buli kabona ayimirira mu kifo kye buli lunaku okuweereza+ n’okuwaayo ssaddaaka ze zimu emirundi mingi,+ ezitasobola kuggirawo ddala bibi.+ 12 Naye ye yawaayo ssaddaaka emu olw’ebibi emirembe n’emirembe, n’alyoka atuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,+ 13 era okuva olwo alindirira okutuusa abalabe be lwe balifuulibwa ng’entebe y’ebigere bye.+ 14 Kubanga okuyitira mu ssaddaaka emu eyaweebwayo, afudde abo abatukuzibwa okuba abatuukiridde+ emirembe n’emirembe. 15 Ate era, omwoyo omutukuvu nagwo gutuwa obujulirwa, kubanga bwe gumala okugamba nti: 16 “‘Eno ye ndagaano gye ndikola nabo oluvannyuma lw’ennaku ezo,’ Yakuwa* bw’agamba. ‘Nditeeka amateeka gange mu mitima gyabwe, era ndigawandiika mu birowoozo byabwe.’”+ 17 Era gugamba nti: “Siriddamu kujjukira bibi byabwe n’ebikolwa byabwe eby’obujeemu.”+ 18 Bwe kityo, ebyo bwe biba nga bibasonyiyiddwa, kiba tekikyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ekibi.

19 Kale ab’oluganda, okuyitira mu musaayi gwa Yesu tetutya kukozesa kkubo eriyingira mu kifo ekitukuvu,+ 20 ekkubo lye yatuggulirawo,* eriggya, eddamu, era eriyita mu lutimbe,+ kwe kugamba, omubiri gwe, 21 era okuva bwe tulina kabona omukulu ennyo bw’atyo akulira ennyumba ya Katonda,+ 22 ka tutuukirire Katonda nga tulina emitima egy’amazima era nga tulina okukkiriza okw’amaanyi, okuva emitima gyaffe bwe gimansiddwako ne giggibwako omuntu ow’omunda omubi+ era n’emibiri gyaffe ne ginaazibwa amazzi amayonjo.+ 23 Ka tunywerere ku kwatula essuubi lyaffe mu lujjudde awatali kuddirira,+ kubanga eyasuubiza mwesigwa. 24 Era ka buli omu ku ffe alowoozenga* ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi,+ 25 nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu+ ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi,+ naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.+

26 Bwe tukola ekibi mu bugenderevu oluvannyuma lw’okutegeerera ddala amazima,+ waba tewakyaliwo ssaddaaka ndala eweebwayo olw’ebibi byaffe,+ 27 naye wabaawo entiisa ey’okulindirira okusalirwa omusango, era wabaawo obusungu obubuubuuka obugenda okusaanyaawo abalabe ba Katonda.+ 28 Omuntu yenna amenya Amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa, kasita wabaawo obujulizi bwa bantu babiri oba basatu.+ 29 Mulowooza omuntu alinnyiridde Omwana wa Katonda, atatutte musaayi gw’endagaano+ ogwamutukuza ng’ogw’omuwendo, era anyoomodde omwoyo ogw’ekisa eky’ensusso,+ taaweebwe ekibonerezo ekisingawo obunene? 30 Kubanga tumumanyi Oyo eyagamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula.” Era nti: “Yakuwa* aliramula abantu be.”+ 31 Kya ntiisa nnyo okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.

32 Naye mujjukirenga ennaku ezaayita ze mwafuniramu ekitangaala,+ ne mugumiikiriza ensiitaano ey’amaanyi n’okubonaabona. 33 Oluusi mwafuukanga ng’ekyerolerwa nga muvumibwa era nga mubonyaabonyezebwa, ate oluusi mwabanga* wamu n’abo abaabanga boolekagana n’ebintu ng’ebyo. 34 Kubanga mwalumirirwa abo abali mu kkomera era ne mukkiriza okunyagibwako ebintu byammwe naye ne musigala nga muli basanyufu,+ nga mukimanyi nti mulina eky’obusika ekisingawo obulungi era eky’olubeerera.+

35 N’olwekyo, temulekangayo kuba bavumu,* kubanga ekyo kijja kubaweesa empeera ennene.+ 36 Mwetaaga okugumiikiriza+ musobole okufuna ekyo kye yasuubiza nga mumaze okukola Katonda by’ayagala. 37 Kubanga wasigaddeyo “akaseera katono nnyo,”+ era “oyo ow’okujja ajja era tajja kulwa.”+ 38 “Naye omutuukirivu wange anaabanga mulamu lwa kukkiriza,”+ era “bw’adda ennyuma simusanyukira.”+ 39 Tetuli abo abadda ennyuma mu kuzikirira,+ wabula tuli abo abalina okukkiriza okusobola okuwonyaawo obulamu.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share