LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Abafiripi 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obutassa bwesige mu mubiri (1-11)

        • Okwefiiriza ebintu byonna ku lwa Kristo (7-9)

      • Okuluubirira eby’omu maaso (12-21)

        • Obutuuze obw’omu ggulu (20)

Abafiripi 3:1

Marginal References

  • +2Ko 13:11; Baf 4:4; 1Se 5:16

Abafiripi 3:2

Marginal References

  • +Bag 5:2

Abafiripi 3:3

Marginal References

  • +Yer 4:4; Bar 2:29; Bak 2:11
  • +Bag 6:14; Beb 9:13, 14

Abafiripi 3:5

Marginal References

  • +Lub 17:12; Lev 12:3
  • +2Ko 11:22
  • +Bik 23:6; 26:4, 5

Abafiripi 3:6

Marginal References

  • +Bik 8:3; 9:1, 2; Bag 1:13

Abafiripi 3:7

Footnotes

  • *

    Oba, “nnabireka kyeyagalire.”

Marginal References

  • +Mat 13:44

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2001, lup. 5-6

Abafiripi 3:8

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 46

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2012, lup. 22-23

    3/15/2012, lup. 27-28

    9/15/2009, lup. 24

    4/1/2005, lup. 16-17

    4/1/2001, lup. 5-6

Abafiripi 3:9

Marginal References

  • +Bar 4:5
  • +Bag 2:15, 16
  • +Bar 3:20-22

Abafiripi 3:10

Marginal References

  • +1Ko 15:22; 2Ko 13:4
  • +Bar 8:17; 2Ko 4:10; Bak 1:24
  • +Bar 6:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2006, lup. 14

Abafiripi 3:11

Marginal References

  • +1Se 4:16; Kub 20:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2020, lup. 7

Abafiripi 3:12

Marginal References

  • +Luk 13:24
  • +1Ti 6:12

Abafiripi 3:13

Marginal References

  • +Luk 9:62
  • +1Ko 9:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2019, lup. 3-4

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2012, lup. 28

    8/15/2008, lup. 28

Abafiripi 3:14

Marginal References

  • +2Ti 4:8; Beb 12:1
  • +Beb 3:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2009, lup. 11

Abafiripi 3:15

Marginal References

  • +1Ko 14:20; Beb 5:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2000, lup. 19-20

Abafiripi 3:16

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 60

    4/1/1991, lup. 18

Abafiripi 3:17

Marginal References

  • +1Ko 4:16; 2Se 3:9

Abafiripi 3:18

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Abafiripi 3:19

Marginal References

  • +Bar 8:5; Yak 3:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2008, lup. 5

    7/1/2001, lup. 11

Abafiripi 3:20

Marginal References

  • +Bef 2:19
  • +Yok 18:36; Bef 2:6; Bak 3:1
  • +1Ko 1:7; 1Se 1:10; Tit 2:13; Beb 9:28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2012, lup. 11

Abafiripi 3:21

Footnotes

  • *

    Obut., “kugituukanya n’ogugwe ogw’ekitiibwa.”

Marginal References

  • +1Ko 15:42, 49
  • +1Ko 15:27; Beb 2:8

General

Baf. 3:12Ko 13:11; Baf 4:4; 1Se 5:16
Baf. 3:2Bag 5:2
Baf. 3:3Yer 4:4; Bar 2:29; Bak 2:11
Baf. 3:3Bag 6:14; Beb 9:13, 14
Baf. 3:5Lub 17:12; Lev 12:3
Baf. 3:52Ko 11:22
Baf. 3:5Bik 23:6; 26:4, 5
Baf. 3:6Bik 8:3; 9:1, 2; Bag 1:13
Baf. 3:7Mat 13:44
Baf. 3:9Bar 4:5
Baf. 3:9Bag 2:15, 16
Baf. 3:9Bar 3:20-22
Baf. 3:101Ko 15:22; 2Ko 13:4
Baf. 3:10Bar 8:17; 2Ko 4:10; Bak 1:24
Baf. 3:10Bar 6:5
Baf. 3:111Se 4:16; Kub 20:6
Baf. 3:12Luk 13:24
Baf. 3:121Ti 6:12
Baf. 3:13Luk 9:62
Baf. 3:131Ko 9:24
Baf. 3:142Ti 4:8; Beb 12:1
Baf. 3:14Beb 3:1
Baf. 3:151Ko 14:20; Beb 5:14
Baf. 3:171Ko 4:16; 2Se 3:9
Baf. 3:19Bar 8:5; Yak 3:15
Baf. 3:20Bef 2:19
Baf. 3:20Yok 18:36; Bef 2:6; Bak 3:1
Baf. 3:201Ko 1:7; 1Se 1:10; Tit 2:13; Beb 9:28
Baf. 3:211Ko 15:42, 49
Baf. 3:211Ko 15:27; Beb 2:8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Abafiripi 3:1-21

Abafiripi

3 Eky’enkomerero baganda bange, mweyongere okusanyuka mu Mukama waffe.+ Sikaluubirirwa kuddamu kubawandiikira bintu bye nnabawandiikira edda, era bya bukuumi gye muli.

2 Mwekuume abo abalinga embwa; mwekuume abo abakola eby’akabi; mwekuume abo abakomola omubiri.+ 3 Kubanga ffe abaakomolebwa mu ngeri entuufu,+ abeenyigidde mu buweereza obutukuvu okuyitira mu mwoyo gwa Katonda, twenyumiririza mu Kristo Yesu,+ era tetwesiga mubiri, 4 naye bwe wabaawo omuntu yenna alina ky’asinziirako okwesiga omubiri, ye nze.

Bwe wabaawo omuntu omulala yenna alowooza nti alina ky’asinziirako okwesiga omubiri, nze mmusinga: 5 nnakomolebwa ku lunaku olw’omunaana,+ ndi wa ggwanga lya Isirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya eyazaalibwa abazadde Abebbulaniya;+ Omufalisaayo ku bikwata ku mateeka;+ 6 bwe kituuka ku kuba omunyiikivu, nnayigganya ekibiina;+ bwe kituuka ku butuukirivu obufunibwa okuyitira mu mateeka, saaliko kya kunenyezebwa. 7 Naye ebintu ebyali amagoba gye ndi nnabyefiiriza* olwa Kristo.+ 8 Okugatta ku ekyo, ebintu byonna mbitwala ng’ebitagasa olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu Mukama wange, okusinga ebirala byonna. Ku lulwe, nzikirizza okufiirwa ebintu byonna era mbitwala ng’ebisasiro nsobole okufuna Kristo, 9 ndyoke nsangibwe nga ndi bumu naye, nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula obwo obuva mu kukkiririza+ mu Kristo+ era obuva eri Katonda nga bwesigamiziddwa ku kukkiriza.+ 10 Ekiruubirirwa kyange kwe kumumanya n’okumanya amaanyi g’okuzuukira+ kwe era n’okugabana ku kubonaabona kwe,+ nga nzikiriza okufa nga bwe yafa,+ 11 ndabe obanga nnaabeera mu kuzuukira okusooka.+

12 Sigamba nti mmaze okufuna empeera, oba nti mmaze okufuulibwa atuukiridde, naye nfuba+ okulaba nti nfuna ekyo Kristo Yesu kye yannondera okufuna.+ 13 Ab’oluganda, seetwala ng’amaze okufuna empeera; naye waliwo ekintu kimu kye nkola: Nneerabira ebintu eby’emabega+ ne nduubirira eby’omu maaso,+ 14 nga nfuba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuna empeera+ ey’okuyitibwa okw’omu ggulu,+ Katonda gy’agaba okuyitira mu Kristo Yesu. 15 N’olwekyo, ffenna abakuze+ ka tubeere n’endowooza eno, era bwe muba nga mulina endowooza eyawukana ku eno, Katonda ajja kubabikkulira endowooza entuufu. 16 Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.

17 Ab’oluganda, mmwenna munkoppe,+ era mutunuulire abo abeeyisa mu ngeri etuukagana n’ekyokulabirako kye twabateerawo. 18 Kubanga waliwo bangi be nnateranga okwogerako naye kati mboogerako nga nkaaba, kubanga beeyisa ng’abalabe b’omuti gwa Kristo ogw’okubonaabona.* 19 Enkomerero yaabwe kuliba kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto lwabwe, beenyumiririza mu bintu ebyandibadde bibakwasa ensonyi, era balowooza bintu bya nsi.+ 20 Naye ffe obutuuze bwaffe+ buli mu ggulu,+ era tulindirira omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo ali mu ggulu.+ 21 Era emibiri gyaffe egyatoowazibwa ajja kugifuula gya kitiibwa ng’ogugwe*+ ng’akozesa amaanyi ge amangi, agamusobozesa okussa ebintu byonna wansi we.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share