LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Matayo 23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Temuba ng’abawandiisi n’Abafalisaayo (1-12)

      • Zisanze abawandiisi n’Abafalisaayo (13-36)

      • Yesu akaabira Yerusaalemi (37-39)

Matayo 23:3

Marginal References

  • +Mal 2:7, 8

Matayo 23:4

Marginal References

  • +Mat 11:28
  • +Luk 11:46

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1995, lup. 15

Matayo 23:5

Footnotes

  • *

    Oba, “bagaziya fulakuteeri.”

Marginal References

  • +Mat 6:1, 2
  • +Ma 6:6, 8
  • +Kbl 15:38, 39

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 252

Matayo 23:6

Footnotes

  • *

    Oba, “ebisingayo okuba ebirungi.”

Marginal References

  • +Mak 12:38, 39; Luk 11:43; 14:7, 10; 20:46

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2010, lup. 17

Matayo 23:7

Footnotes

  • *

    Oba, “Omuyigiriza.”

Matayo 23:8

Marginal References

  • +Yok 13:13

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 20

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2018, lup. 10

    Yesu—Ekkubo, lup. 252

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2001, lup. 25-26

    7/1/2000, lup. 13-14, 17-18

Matayo 23:9

Marginal References

  • +Mat 6:9

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 20

Matayo 23:10

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 20

    Tutegekeddwa, lup. 13-14

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 22

Matayo 23:11

Marginal References

  • +Mat 20:26; Mak 9:35; Luk 22:26

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 20

Matayo 23:12

Marginal References

  • +Nge 16:18
  • +Nge 29:23; Mat 18:4; Luk 14:11; Bar 12:3; 1Pe 5:5

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 20

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2012, lup. 14

Matayo 23:13

Marginal References

  • +Luk 11:52

Matayo 23:14

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A3.

Matayo 23:15

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Mat 6:2; Luk 12:56

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2008, lup. 31

    3/1/1992, lup. 4-5

Matayo 23:16

Marginal References

  • +Mat 15:14
  • +Mat 5:34, 35

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 252-253

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2000, lup. 15

Matayo 23:17

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 252-253

Matayo 23:21

Marginal References

  • +1Sk 8:13

Matayo 23:23

Footnotes

  • *

    Nnabbugira, aneta, ne kumino, bimera ebiwunya obulungi ebikozesebwa ng’ebirungo.

Marginal References

  • +Lev 27:30
  • +Mi 6:8; Yok 7:24
  • +Mat 9:13; 12:7
  • +Luk 11:42

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2017, lup. 13-14

Matayo 23:24

Marginal References

  • +Mat 15:14
  • +Lev 11:23
  • +Lev 11:4

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 253

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 20

Matayo 23:25

Footnotes

  • *

    Oba, “omunyago.”

Marginal References

  • +Mak 7:3, 4
  • +Mak 12:38, 40
  • +Luk 11:39

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 254

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2000, lup. 14-15

Matayo 23:26

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 254

Matayo 23:27

Marginal References

  • +Luk 12:56
  • +Luk 11:44; Bik 23:3

Matayo 23:28

Marginal References

  • +Luk 16:15

Matayo 23:29

Footnotes

  • *

    Oba, “entaana ez’ekijjukizo.” Laba Awanny.

Marginal References

  • +Mat 6:2
  • +Luk 11:47

Matayo 23:31

Marginal References

  • +Luk 11:48; Bik 7:52; Beb 11:32, 37

Matayo 23:33

Marginal References

  • +Mat 3:7; 12:34; Luk 3:7
  • +Mat 10:28; Luk 12:5

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 254

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2008, lup. 7

Matayo 23:34

Marginal References

  • +Luk 11:49-51
  • +Mat 13:52
  • +Yok 16:2; Bik 7:59
  • +Bik 5:40; 2Ko 11:24
  • +Luk 21:12

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 254

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2013, lup. 12-13

Matayo 23:35

Marginal References

  • +Lub 4:8, 10; Beb 11:4
  • +2By 24:20-22

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 254

Matayo 23:36

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 254

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1995, lup. 18-19

Matayo 23:37

Marginal References

  • +Yok 8:59; Beb 11:32, 37
  • +Luk 13:34; 19:41, 42

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 6 2016 lup. 9

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2006, lup. 14

    7/1/2005, lup. 13-14

    2/1/1992, lup. 17-18

Matayo 23:38

Marginal References

  • +1Sk 9:7, 8; Yer 12:7; 22:5; Mat 21:43; Luk 21:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 15

Matayo 23:39

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Zb 118:26

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 254

General

Mat. 23:3Mal 2:7, 8
Mat. 23:4Mat 11:28
Mat. 23:4Luk 11:46
Mat. 23:5Mat 6:1, 2
Mat. 23:5Ma 6:6, 8
Mat. 23:5Kbl 15:38, 39
Mat. 23:6Mak 12:38, 39; Luk 11:43; 14:7, 10; 20:46
Mat. 23:8Yok 13:13
Mat. 23:9Mat 6:9
Mat. 23:11Mat 20:26; Mak 9:35; Luk 22:26
Mat. 23:12Nge 16:18
Mat. 23:12Nge 29:23; Mat 18:4; Luk 14:11; Bar 12:3; 1Pe 5:5
Mat. 23:13Luk 11:52
Mat. 23:15Mat 6:2; Luk 12:56
Mat. 23:16Mat 15:14
Mat. 23:16Mat 5:34, 35
Mat. 23:211Sk 8:13
Mat. 23:23Lev 27:30
Mat. 23:23Mi 6:8; Yok 7:24
Mat. 23:23Mat 9:13; 12:7
Mat. 23:23Luk 11:42
Mat. 23:24Mat 15:14
Mat. 23:24Lev 11:23
Mat. 23:24Lev 11:4
Mat. 23:25Mak 7:3, 4
Mat. 23:25Mak 12:38, 40
Mat. 23:25Luk 11:39
Mat. 23:27Luk 12:56
Mat. 23:27Luk 11:44; Bik 23:3
Mat. 23:28Luk 16:15
Mat. 23:29Mat 6:2
Mat. 23:29Luk 11:47
Mat. 23:31Luk 11:48; Bik 7:52; Beb 11:32, 37
Mat. 23:33Mat 3:7; 12:34; Luk 3:7
Mat. 23:33Mat 10:28; Luk 12:5
Mat. 23:34Luk 11:49-51
Mat. 23:34Mat 13:52
Mat. 23:34Yok 16:2; Bik 7:59
Mat. 23:34Bik 5:40; 2Ko 11:24
Mat. 23:34Luk 21:12
Mat. 23:35Lub 4:8, 10; Beb 11:4
Mat. 23:352By 24:20-22
Mat. 23:37Yok 8:59; Beb 11:32, 37
Mat. 23:37Luk 13:34; 19:41, 42
Mat. 23:381Sk 9:7, 8; Yer 12:7; 22:5; Mat 21:43; Luk 21:20
Mat. 23:39Zb 118:26
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Matayo 23:1-39

Matayo

23 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’eri abayigirizwa be n’abagamba nti: 2 “Abawandiisi n’Abafalisaayo beetadde mu kifo kya Musa. 3 Kale, ebintu byonna bye babagamba mubikole, naye temukola nga bo bwe bakola; boogera naye tebassa mu nkola bye boogera.+ 4 Basiba emigugu emizito ne bagiteeka ku bibegaabega by’abantu,+ naye bo tebaagala wadde okugikwatako n’olugalo lwabwe.+ 5 Ebintu byonna bye bakola, babikola abantu babalabe;+ kubanga bagaziya obusanduuko omuli ebyawandiikibwa* bwe bambala okubawa obukuumi,+ era bawanvuya ebijwenge eby’oku byambalo byabwe.+ 6 Baagala ebifo ebisingayo okuba eby’ekitiibwa nga bali ku bijjulo, n’okutuula mu bifo eby’omu maaso* mu makuŋŋaaniro,+ 7 n’okulamusibwa mu butale mu ngeri ey’ekitiibwa, era baagala abantu okubayita Labbi.* 8 Naye mmwe temuyitibwanga Labbi, kubanga Omuyigiriza wammwe+ ali omu, era mmwe mmwenna muli ba luganda. 9 Ate era temuyitanga muntu n’omu kitammwe ku nsi, kubanga Kitammwe+ ali omu, Oyo ali mu ggulu. 10 Era temuyitibwanga bakulembeze kubanga Omukulembeze wammwe ali omu, Kristo. 11 Naye asinga obukulu mu mmwe ateekwa kuba muweereza wammwe.+ 12 Buli eyeegulumiza alitoowazibwa+ na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.+

13 “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalirawo abantu enzigi z’Obwakabaka obw’omu ggulu; mmwe mmwennyini temuyingira era mulemesa n’abo ababa bayingira.+ 14 *​—

15 “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi!+ kubanga muyita ku nnyanja ne ku lukalu ne mugenda okukyusa omuntu omu, era bwe mumala okumukyusa mumufuula agwanira Ggeyeena* emirundi ebiri okusinga mmwe.

16 “Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso+ abagamba nti, ‘Singa omuntu alayira yeekaalu n’atatuukiriza ky’alayidde, taba na musango; naye oyo alayira zzaabu ow’omu yeekaalu ateekwa okutuukiriza ky’alayidde.’+ 17 Basirusiru mmwe era abazibe b’amaaso! Kiruwa ekisinga kinnaakyo, zzaabu, oba yeekaalu efuula zzaabu okuba omutukuvu? 18 Era mugamba nti, ‘Singa omuntu alayira ekyoto n’atatuukiriza ky’alayidde, taba na musango; naye oyo alayira ekirabo ekiweereddwayo ku kyoto alina okutuukiriza ky’alayidde.’ 19 Mmwe abazibe b’amaaso! Kiruwa ekisinga kinnaakyo, ekirabo, oba ekyoto ekifuula ekirabo okuba ekitukuvu? 20 N’olwekyo, oyo alayira ekyoto aba alayidde n’ebyo byonna ebikiriko; 21 oyo alayira yeekaalu aba alayira n’Oyo agibeeramu;+ 22 era oyo alayira eggulu aba alayira entebe ya Katonda n’Oyo agituddeko.

23 “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ekya nnabbugira, ekya aneta, n’ekya kkumino,*+ naye ne mutatuukiriza bintu ebisinga obukulu mu Mateeka: obwenkanya,+ obusaasizi,+ n’obwesigwa. Ebintu ebyo birina okutuukirizibwa naye era na bino tebirina kubuusibwa maaso.+ 24 Abakulembeze abazibe b’amaaso,+ musengejja akabu+ mu bye munywa naye ne mumira eŋŋamira!+

25 “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muyonja kungulu ku kikopo ne kungulu ku kibya+ naye nga munda mujjudde omululu*+ n’obuteefuga.+ 26 Ggwe Omufalisaayo omuzibe w’amaaso, sooka oyonje munda mu kikopo ne mu kibya, kungulu nakwo kulyoke kubeere kuyonjo.

27 “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi!+ kubanga mulinga amalaalo agasiigiddwa langi enjeru+ era agalabika obulungi kungulu, naye nga munda gajjudde amagumba g’abafu n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri. 28 Nammwe kungulu mulabika nga muli batuukirivu mu maaso g’abantu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n’obujeemu.+

29 “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi!+ kubanga muzimba entaana* za bannabbi era ne muyooyoota amalaalo g’abatuukirivu,+ 30 nga mugamba nti, ‘Singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe, tetwandyetabye wamu nabo okutta bannabbi.’ 31 Bwe mutyo mwewaako obujulizi nti muli baana b’abo abatta bannabbi.+ 32 Kale mumalirize ekyo bajjajjammwe kye baatandika.

33 “Mmwe emisota, era abaana b’emisota egy’obusagwa,+ muliwona mutya omusango gwa Ggeyeena?+ 34 Kyenva ntuma gye muli bannabbi,+ n’abasajja ab’amagezi, n’abayigiriza.+ Abamu mujja kubatta+ era mubawanike ku miti, abalala mujja kubakubira+ mu makuŋŋaaniro gammwe era mubayigganye+ mu buli kibuga, 35 mulyoke mubeereko omusango gw’okuyiwa omusaayi gwonna ogw’abatuukirivu ogwayiika ku nsi, okuva ku gwa Abbeeri+ omutuukirivu okutuuka ku gwa Zekkaliya mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati w’ekifo ekitukuvu n’ekyoto.+ 36 Mazima mbagamba nti, ebintu bino byonna bijja kutuuka ku mulembe guno.

37 “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi era akuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’ali,+—mirundi emeka gye nnayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo! Naye temwakyagala.+ 38 Laba! Ennyumba yammwe ebalekeddwa nga kifulukwa.+ 39 Naye mbagamba nti, temuliddayo kundaba okutuusa lwe muligamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa!’”*+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share