LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 57
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omutuukirivu n’abeesigwa bazikirira (1, 2)

      • Obwenzi bwa Isirayiri obw’eby’omwoyo bwogerwako (3-13)

      • Ebigambo ebibudaabuda abanakuwavu (14-21)

        • Ababi balinga ennyanja esiikuuse (20)

        • Ababi tebalina mirembe (21)

Isaaya 57:1

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, bafa.

Marginal References

  • +Mi 7:2

Isaaya 57:2

Footnotes

  • *

    Obut., “ku bitanda byabwe.”

Isaaya 57:4

Marginal References

  • +Is 1:4; 30:9

Isaaya 57:5

Marginal References

  • +Is 1:29
  • +Ma 12:2; 1Sk 14:22, 23
  • +2Sk 16:1, 3; Yer 7:31

Isaaya 57:6

Marginal References

  • +Yer 3:9
  • +Yer 7:18

Isaaya 57:7

Marginal References

  • +Yer 2:20; Ezk 16:16; 23:17
  • +Ezk 20:28

Isaaya 57:8

Footnotes

  • *

    Kiyinza okuba kitegeeza okusinza ebifaananyi.

Marginal References

  • +Ezk 16:25, 33; 23:18

Isaaya 57:9

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “kabaka.”

  • *

    Laba Awanny.

Isaaya 57:10

Footnotes

  • *

    Obut., “tokoowa.”

Isaaya 57:11

Marginal References

  • +Is 30:9, 10; 59:3
  • +Is 1:3; Yer 2:32; 9:3
  • +Is 42:24, 25
  • +Zb 50:21

Isaaya 57:12

Marginal References

  • +Is 58:2
  • +Is 66:3
  • +Yer 7:4; Mi 3:4

Isaaya 57:13

Marginal References

  • +Bal 10:14; Is 42:17
  • +Is 56:6, 7; 66:20; Ezk 20:40; Yow. 3:17

Isaaya 57:14

Marginal References

  • +Is 35:8; 40:3; 62:10

Isaaya 57:15

Footnotes

  • *

    Oba, “abeenenyezza.”

  • *

    Oba, “abeenenyezza.”

Marginal References

  • +Lub 21:33; Zb 90:2; Is 40:28; 1Ti 1:17
  • +Kuv 15:11; Luk 1:46, 49
  • +1Sk 8:27
  • +Zb 34:18; 147:3; Is 61:1; 66:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2005, lup. 17

Isaaya 57:16

Marginal References

  • +Zb 103:9; Mi 7:18
  • +Yob 34:14, 15

Isaaya 57:17

Marginal References

  • +Yer 6:13; 8:10
  • +Yer 3:14

Isaaya 57:18

Marginal References

  • +Yer 33:6; Kos 14:4
  • +Is 49:10
  • +Is 12:1
  • +Is 61:2; Kuk 1:4

Isaaya 57:19

Marginal References

  • +Is 48:18; Bef 2:17

Isaaya 57:21

Marginal References

  • +Nge 13:9; Is 3:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1999, lup. 22

General

Is. 57:1Mi 7:2
Is. 57:4Is 1:4; 30:9
Is. 57:5Is 1:29
Is. 57:5Ma 12:2; 1Sk 14:22, 23
Is. 57:52Sk 16:1, 3; Yer 7:31
Is. 57:6Yer 3:9
Is. 57:6Yer 7:18
Is. 57:7Yer 2:20; Ezk 16:16; 23:17
Is. 57:7Ezk 20:28
Is. 57:8Ezk 16:25, 33; 23:18
Is. 57:11Is 30:9, 10; 59:3
Is. 57:11Is 1:3; Yer 2:32; 9:3
Is. 57:11Is 42:24, 25
Is. 57:11Zb 50:21
Is. 57:12Is 58:2
Is. 57:12Is 66:3
Is. 57:12Yer 7:4; Mi 3:4
Is. 57:13Bal 10:14; Is 42:17
Is. 57:13Is 56:6, 7; 66:20; Ezk 20:40; Yow. 3:17
Is. 57:14Is 35:8; 40:3; 62:10
Is. 57:15Lub 21:33; Zb 90:2; Is 40:28; 1Ti 1:17
Is. 57:15Kuv 15:11; Luk 1:46, 49
Is. 57:151Sk 8:27
Is. 57:15Zb 34:18; 147:3; Is 61:1; 66:2
Is. 57:16Zb 103:9; Mi 7:18
Is. 57:16Yob 34:14, 15
Is. 57:17Yer 6:13; 8:10
Is. 57:17Yer 3:14
Is. 57:18Yer 33:6; Kos 14:4
Is. 57:18Is 49:10
Is. 57:18Is 12:1
Is. 57:18Is 61:2; Kuk 1:4
Is. 57:19Is 48:18; Bef 2:17
Is. 57:21Nge 13:9; Is 3:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 57:1-21

Isaaya

57 Omutuukirivu azikiridde,

Naye tewali afuddeyo.

Abantu abeesigwa baggibwawo,*+

Ne wataba muntu yenna akitegeera nti omutuukirivu aggiddwawo

Aleme kutuukibwako kabi.

 2 Ayingira mu mirembe.

Abo bonna abatambulira mu bugolokofu bagalamira mu ntaana zaabwe.*

 3 “Naye mmwe musembere,

Mmwe abaana b’omukazi omulogo,

Mmwe abaana b’omwenzi era malaaya:

 4 Ani gwe musekerera?

Ani gwe mwasamiza akamwa era ne mumusowolera olulimi?

Temuli baana ba kwonoona,

Abaana b’obulimba,+

 5 Abo abeemalidde ku kuweereza bakatonda ab’obulimba mu miti eminene,+

Wansi wa buli muti ogulina ebikoola ebingi,+

Abattira abaana mu biwonvu,+

Mu mpompogoma z’enjazi?

 6 Olonzeewo amayinja amaweweevu ag’omu kiwonvu.+

Ago gwe mugabo gwo.

Ogafukira ebiweebwayo eby’eby’okunywa era owaayo ebirabo gye gali.+

Ebyo biyinza okunsanyusa?

 7 Wayala ekitanda kyo ku lusozi oluwanvu era olugulumivu,+

N’oyambuka eyo okuwaayo ssaddaaka.+

 8 Oteeka ekijjukizo kyo emabega w’oluggi n’omwango.

Wandeka ne weeyambula;

Wayambuka n’ogaziya ekitanda kyo.

Wakola nabo endagaano.

Wayagala okwebaka nabo ku kitanda kyabwe,+

Era watunuulira ebitundu by’omusajja eby’ekyama.*

 9 Wagenda eri Mereki* ng’olina amafuta

Era ng’olina eby’akaloosa bingi.

Watuma ababaka bo ewala,

Bw’otyo n’okka emagombe.*

10 Wategana nnyo ng’otambulira mu makubo go amangi,

Naye tewagamba nti, ‘Tekigasa!’

Waddamu okufuna amaanyi.

Ye nsonga lwaki tolekera awo.*

11 Ani gwe watya era n’otekemuka

Olyoke otandike okulimba?+

Tewanzijukira.+

Tewafaayo.+

Saasirika era ne sibaako kye njogera?+

Kyewava olaga nti tontya.

12 Nja kumanyisa obutuukirivu bwo+ obw’obukuusa n’ebikolwa byo,+

Era tebijja kukugasa.+

13 Bw’onoosaba obuyambi,

Ebifaananyi byo bye wakuŋŋaanya tebijja kukuyamba.+

Byonna empewo ejja kubitwala,

Omukka obukka ogussibwa gujja kubifuumuula,

Naye oyo addukira gye ndi ajja kusikira ensi

Era ajja kubeera ku lusozi lwange olutukuvu.+

14 Kijja kugambibwa nti, ‘Mukole oluguudo, Mukole oluguudo! Muteeketeeke ekkubo!+

Muggye emisanvu mu kkubo ly’abantu bange.’”

15 Kubanga bw’ati Oyo Ali Waggulu era Agulumidde bw’agamba,

Oyo abeerawo emirembe n’emirembe+ era alina erinnya ettukuvu:+

“Mbeera mu kifo ekya waggulu era ekitukuvu,+

Kyokka era mbeera n’abo abanyigirizibwa* era abeetoowaze,

Okuzza obuggya omwoyo gw’abanaku,

N’okuzza obuggya omutima gw’abo abanyigirizibwa.*+

16 Kubanga siribalwanyisa mirembe gyonna

Era sirisigala nga ndi musunguwavu ekiseera kyonna;+

Kubanga omwoyo gw’omuntu guyinza okunafuwa olw’okubeera nze,+

Era n’ebitonde ebissa omukka bye nnakola.

17 Nnamusunguwalira olw’okuba yeenoonyeza ebintu mu makubo amakyamu,+

Kyennava mmukuba, ne mmwekweka, era ne nsunguwala.

Naye yeeyongera kweyisa nga kyewaggula,+ ng’atambulira mu kkubo ly’omutima gwe.

18 Ndabye amakubo ge,

Naye nja kumuwonya+ era mmukulembere,+

Nja kuddamu okumubudaabuda,+ awamu n’ababe abakungubaga.”+

19 “Ntonda ekibala ky’emimwa.

Emirembe egitaggwaawo gijja kuweebwa oyo ali ewala n’oyo ali okumpi,”+ Yakuwa bw’agamba,

“Era nja kumuwonya.”

20 “Kyokka ababi balinga ennyanja esiikuuse etasobola kuteeka,

Amazzi gaayo gafuukuula omuddo gw’omu nnyanja n’ebitosi.

21 Ababi tebalina mirembe,”+ Katonda wange bw’agamba.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share