LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Keezeekiya amalawo okusinza okw’obulimba (1)

      • Bakabona n’Abaleevi baweebwa omugabo gwabwe (2-21)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:1

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Kuv 23:24
  • +Ma 7:5; 2Sk 18:1, 4; 2By 14:2, 3; 34:1, 3
  • +Ma 12:2
  • +2By 23:16, 17
  • +2By 30:1, 18

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:2

Footnotes

  • *

    Obut., “egy’ensiisira.”

Marginal References

  • +1By 23:6; 24:1
  • +2By 8:14
  • +1By 23:13, 27-30

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:3

Marginal References

  • +2By 30:24
  • +Kuv 29:39
  • +Kbl 28:9
  • +Kbl 10:10
  • +Ma 16:16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:4

Footnotes

  • *

    Oba, “basobole okwemalira ku.”

Marginal References

  • +Kbl 18:21; Nek 10:38, 39

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:5

Marginal References

  • +Kbl 18:12
  • +Kuv 22:29; 23:19; Nek 10:37
  • +Nge 3:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:6

Marginal References

  • +Lev 27:30; Ma 14:28

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:7

Marginal References

  • +Lev 23:16
  • +Lev 23:24

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:10

Marginal References

  • +Kbl 18:8
  • +Mal 3:10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:11

Footnotes

  • *

    Oba, “ebisenge ebiriirwamu eby’ennyumba.”

Marginal References

  • +Nek 10:38, 39; 12:44

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:12

Marginal References

  • +Lev 27:30; Ma 14:28

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:14

Marginal References

  • +1By 26:17, 19
  • +Ma 12:5, 6; 16:10
  • +Kbl 18:8
  • +Lev 2:10; 7:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:15

Marginal References

  • +Yos 21:19
  • +1By 24:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:17

Marginal References

  • +1By 24:4
  • +Kbl 4:2, 3; 8:24; 1By 23:24
  • +1By 23:6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:19

Marginal References

  • +Lev 25:33, 34; Kbl 35:2; Yos 21:13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:21

Marginal References

  • +2By 29:35

General

2 Byom. 31:1Kuv 23:24
2 Byom. 31:1Ma 7:5; 2Sk 18:1, 4; 2By 14:2, 3; 34:1, 3
2 Byom. 31:1Ma 12:2
2 Byom. 31:12By 23:16, 17
2 Byom. 31:12By 30:1, 18
2 Byom. 31:21By 23:6; 24:1
2 Byom. 31:22By 8:14
2 Byom. 31:21By 23:13, 27-30
2 Byom. 31:32By 30:24
2 Byom. 31:3Kuv 29:39
2 Byom. 31:3Kbl 28:9
2 Byom. 31:3Kbl 10:10
2 Byom. 31:3Ma 16:16
2 Byom. 31:4Kbl 18:21; Nek 10:38, 39
2 Byom. 31:5Kbl 18:12
2 Byom. 31:5Kuv 22:29; 23:19; Nek 10:37
2 Byom. 31:5Nge 3:9
2 Byom. 31:6Lev 27:30; Ma 14:28
2 Byom. 31:7Lev 23:16
2 Byom. 31:7Lev 23:24
2 Byom. 31:10Kbl 18:8
2 Byom. 31:10Mal 3:10
2 Byom. 31:11Nek 10:38, 39; 12:44
2 Byom. 31:12Lev 27:30; Ma 14:28
2 Byom. 31:141By 26:17, 19
2 Byom. 31:14Ma 12:5, 6; 16:10
2 Byom. 31:14Kbl 18:8
2 Byom. 31:14Lev 2:10; 7:1
2 Byom. 31:15Yos 21:19
2 Byom. 31:151By 24:1
2 Byom. 31:171By 24:4
2 Byom. 31:17Kbl 4:2, 3; 8:24; 1By 23:24
2 Byom. 31:171By 23:6
2 Byom. 31:19Lev 25:33, 34; Kbl 35:2; Yos 21:13
2 Byom. 31:212By 29:35
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:1-21

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

31 Ebyo bwe byaggwa, Abayisirayiri bonna abaaliwo ne bagenda mu bibuga bya Yuda ne bamenyaamenya empagi ezisinzibwa,+ ne batemaatema ebikondo ebisinzibwa,*+ era ne bamenyaamenya n’ebifo ebigulumivu+ n’ebyoto+ mu Yuda yonna ne mu Benyamini ne mu Efulayimu ne mu Manase+ okutuusa lwe baabisaanyizaawo ddala. Oluvannyuma Abayisirayiri bonna ne baddayo mu bibuga byabwe, buli muntu ku butaka bwe.

2 Awo Keezeekiya n’alonda bakabona n’Abaleevi okusinziira ku bibinja byabwe,+ buli kabona na buli Muleevi ng’obuweereza bwe bwe bwali,+ okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe, okuweereza n’okwebaza n’okutendereza Katonda ku miryango gyonna egy’empya* za Yakuwa.+ 3 Ebimu ku bintu bya kabaka byaweebwayo okuba ebiweebwayo ebyokebwa,+ ebiweebwayo ebyokebwa eby’oku makya n’eby’akawungeezi,+ era n’ebiweebwayo ebyokebwa eby’oku Ssabbiiti,+ ne ku kuboneka kw’omwezi,+ ne ku mbaga,+ nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Yakuwa.

4 Ate era kabaka yagamba abantu b’omu Yerusaalemi bawenga bakabona n’Abaleevi omugabo gwabwe,+ basobole okukolera ddala* byonna amateeka ga Yakuwa bye galagira. 5 Ekiragiro ekyo olwali okuyisibwa, Abayisirayiri ne baleeta mu bungi ebibala ebibereberye eby’emmere ey’empeke, n’omwenge omusu, n’amafuta,+ n’omubisi, n’ebirala byonna bye baalimanga mu nnimiro zaabwe;+ baaleeta mu bungi ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ebintu byonna.+ 6 Abantu ba Isirayiri n’aba Yuda abaali babeera mu bibuga bya Yuda nabo baaleeta ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ente n’endiga n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebitukuvu+ ebyatukuzibwa okuba ebya Yakuwa Katonda waabwe. Baabireeta ne babituuma mu ntuumu nnyingi. 7 Mu mwezi ogw’okusatu+ mwe baatandikira okutuuma entuumu z’ebintu ebyaweebwayo, ne bamaliriza mu mwezi ogw’omusanvu.+ 8 Keezeekiya n’abaami bwe bajja ne balaba entuumu ezo, ne batendereza Yakuwa era ne bawa abantu be Isirayiri omukisa.

9 Awo Keezeekiya n’abuuza bakabona n’Abaleevi ebikwata ku ntuumu, 10 Azaliya kabona omukulu ow’ennyumba ya Zadooki n’amugamba nti: “Okuva lwe baatandika okuleeta mu nnyumba ya Yakuwa bye bawaayo,+ abantu balya ne bakkuta era ne wafikkawo bingi; kubanga Yakuwa awadde abantu be omukisa, era bino byonna bye bifisseewo.”+

11 Awo Keezeekiya n’alagira bategeke amaterekero g’ennyumba*+ ya Yakuwa; bwe batyo ne bagategeka. 12 Baaleetanga ebintu eby’okuwaayo, n’ekimu eky’ekkumi,+ n’ebintu ebitukuvu, era kino baakikolanga n’obwesigwa. Konaniya Omuleevi ye yali akulira ogw’okubirabirira, ate muganda we Simeeyi ye yali amuddirira. 13 Yekyeri ne Azaziya ne Nakasi ne Asakeri ne Yerimosi ne Yozabadi ne Eryeri ne Isumakiya ne Makasi ne Benaya be baali abalabirizi abaayambangako Konaniya ne Simeeyi muganda we nga Kabaka Keezeekiya bwe yalagira, era Azaliya ye yali akulira ennyumba ya Katonda ow’amazima. 14 Koole mutabani wa Imuna, Omuleevi omukuumi w’oku mulyango ogw’ebuvanjuba,+ ye yali avunaanyizibwa ku ebyo ebyaweebwangayo kyeyagalire+ eri Katonda ow’amazima, era yagabanyangamu ebintu bye baawanga Yakuwa+ n’ebintu ebitukuvu ennyo.+ 15 Era ye yali akulira Edeni ne Miniyamini ne Yesuwa ne Semaaya ne Amaliya ne Sekaniya, abaali mu bibuga bya bakabona,+ abaakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okuwanga baganda baabwe ab’omu bibinja omugabo gwabwe,+ abato n’abakulu kyenkanyi. 16 Ng’oggyeeko abo, abasajja n’abaana ab’obulenzi, okuva ku b’emyaka esatu n’okudda waggulu abaawandiikibwa mu nnyiriri z’obuzaale bwabwe, abajjanga buli lunaku okuweereza mu nnyumba ya Yakuwa n’okukola emirimu gy’omu bibinja byabwe, nabo baaweebwanga omugabo gwabwe.

17 Ennyiriri z’obuzaale bwa bakabona zaawandiikibwa okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe,+ era n’ez’Abaleevi okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu,+ okusinziira ku buvunaanyizibwa bw’ebibinja byabwe.+ 18 Mu nnyiriri z’obuzaale mwalimu abaana baabwe bonna, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, awamu ne bawala baabwe, ekibiina kyabwe kyonna—kubanga beekuuma nga batukuvu okukola omulimu omutukuvu olw’obwesigwa bwabwe— 19 ne bazzukulu ba Alooni, bakabona abaali babeera mu malundiro agaali geetoolodde ebibuga byabwe.+ Mu bibuga byonna mwalimu abasajja abaalondebwa okugabiranga emmere abasajja n’abaana ab’obulenzi bonna ab’omu lulyo lwa bakabona na buli yenna eyali awandiikiddwa mu nnyiriri z’obuzaale ez’Abaleevi.

20 Keezeekiya yakola bw’atyo mu Yuda yonna, era yeeyongera okukola ebirungi era ebituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda we era yali mwesigwa gy’ali. 21 Buli kye yatandika okukola okusobola okunoonya Katonda we, ka kibe nga kyali kikwata ku buweereza obw’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima+ oba ku Mateeka n’ebiragiro, yakikola n’omutima gwe gwonna, era yatuuka ku buwanguzi.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share