1 Samwiri
31 Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isirayiri;+ abasajja ba Isirayiri ne badduka Abafirisuuti, era bangi battirwa ku Lusozi Girubowa.+ 2 Abafirisuuti ne basemberera Sawulo ne batabani be, era Abafirisuuti ne batta Yonasaani+ ne Abinadaabu ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.+ 3 Olutalo ne luzitoowerera nnyo Sawulo; abalasi b’obusaale ne bamulaba ne bamutuusaako ebisago eby’amaanyi.+ 4 Sawulo n’agamba oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa nti: “Sowolayo ekitala kyo onfumite, abasajja abo abatali bakomole+ baleme okujja banfumite era bantulugunye.” Naye oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa n’agaana, kubanga yali atidde nnyo. Awo Sawulo n’akwata ekitala n’akigwako.+ 5 Oyo eyasitulanga eby’okulwanyisa bya Sawulo bwe yalaba nga Sawulo afudde,+ naye n’agwa ku kitala kye n’afiira wamu naye. 6 Bw’atyo Sawulo, ne batabani be abasatu, n’oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa, n’abasajja be bonna, ne bafa ku lunaku olwo.+ 7 Abantu ba Isirayiri abaali mu kitundu ekyalimu ekiwonvu n’abo abaali mu kitundu kya Yoludaani bwe baalaba ng’eggye lya Isirayiri lidduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne bava mu bibuga byabwe ne badduka;+ Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8 Ku lunaku olwaddako, Abafirisuuti bwe baagenda okunyaga ebintu by’abo abaali battiddwa, ne basanga omulambo gwa Sawulo n’egya batabani be abasatu ku Lusozi Girubowa.+ 9 Sawulo ne bamutemako omutwe, ne batwala n’ebyambalo bye eby’olutalo,* era ne baweereza obubaka mu nsi y’Abafirisuuti yonna, amawulire ago gabunyisibwe+ mu nnyumba* z’ebifaananyi byabwe+ ne mu bantu. 10 Oluvannyuma baateeka ebyambalo bye eby’olutalo* mu nnyumba ya Asutoleesi, era omulambo gwe ne bagukomerera ku bbugwe wa Besu-sani.+ 11 Abantu b’e Yabesi-gireyaadi+ bwe baawulira ekyo Abafirisuuti kye baali bakoze Sawulo, 12 abalwanyi bonna ne basituka ne batambula ekiro kyonna ne bagenda ne baggya omulambo gwa Sawulo n’emirambo gya batabani be ku kisenge kya Besu-sani, ne baddayo e Yabesi ne bagyokera eyo. 13 Awo ne batwala amagumba gaabwe+ ne bagaziika wansi w’omuti omweseri mu Yabesi,+ era ne basiiba okumala ennaku musanvu.