1 Samwiri
1 Waaliwo omusajja ayitibwa Erukaana,+ eyabeeranga mu Lamasayimu-zofimu*+ mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi.+ Yali mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriku, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufu, Omwefulayimu. 2 Yalina abakazi babiri, ng’omu ayitibwa Kaana, ate ng’omulala ayitibwa Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana. 3 Omusajja oyo yavanga mu kibuga ky’ewaabwe buli mwaka n’agenda e Siiro+ okusinza* n’okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa ow’eggye. Eyo batabani ba Eli ababiri, Kofuni ne Fenekaasi,+ gye baaweererezanga Yakuwa nga bakabona.+
4 Lumu Erukaana bwe yawaayo ssaddaaka, yawa mukazi we Penina n’abaana be bonna ab’obulenzi n’ab’obuwala emigabo,+ 5 naye Kaana n’amuwa omugabo ogw’enjawulo olw’okuba gwe yali asinga okwagala; kyokka Yakuwa yali tamuwadde baana.* 6 Naye muggya we Penina yamuyeeyanga ng’ayagala okumunyiiza olw’okuba Yakuwa yali tamuwadde baana. 7 Bw’atyo Penina bwe yakolanga buli mwaka. Buli Kaana lwe yagendanga mu nnyumba ya Yakuwa,+ muggya we yamuyeeyanga nnyo n’akaaba era n’alemwa n’okulya. 8 Naye omwami we Erukaana yamugamba nti: “Kaana, lwaki okaaba, era lwaki tolya? Lwaki oli munakuwavu nnyo?* Nze sikusingira abaana ab’obulenzi ekkumi?”
9 Bwe baamala okulya n’okunywa nga bali e Siiro, Kaana n’ayimuka. Mu kiseera ekyo, Eli kabona yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu*+ ya Yakuwa. 10 Kaana yali munakuwavu nnyo, era yatandika okusaba Yakuwa+ n’okukaaba ennyo, 11 era ne yeeyama ng’agamba nti: “Ai Yakuwa ow’eggye, bw’onootunuulira ennaku y’omuweereza wo n’onzijukira, era n’oteerabira muweereza wo, era n’omuwa omwana ow’obulenzi,+ nja kumuwa Yakuwa obulamu bwe bwonna, era akamweso tekaliyita ku mutwe gwe.”+
12 Kaana yasaba okumala ekiseera kiwanvu, era ekiseera kyonna kye yamala ng’asaba mu maaso ga Yakuwa, Eli yali atunuulidde emimwa gye. 13 Kaana yali ayogerera mu mutima gwe; emimwa gye gyokka gye gyali gyenyeenya, naye ng’eddoboozi lye teriwulikika, bw’atyo Eli n’alowooza nti yali atamidde. 14 Awo Eli n’amugamba nti: “Olituusa wa okuba omutamiivu? Lekera awo okunywa omwenge.” 15 Kaana n’amuddamu nti: “Mukama wange! Ndi mukazi alina ennaku ey’amaanyi; sinywedde mwenge wadde ekitamiiza kyonna, wabula mbuulira Yakuwa ebindi ku mutima.+ 16 Omuweereza wo tomutwala ng’omukazi atalina mugaso, kubanga obulumi obw’amaanyi n’ennaku bye nnina bye bindeetedde okusaba okutuusa kaakano.” 17 Eli n’amugamba nti: “Genda mirembe, era Katonda wa Isirayiri k’akuwe ekyo ky’omusabye.”+ 18 Kaana n’amuddamu nti: “Omuweereza wo k’asiimibwe mu maaso go.” Awo omukazi ne yeddirayo, n’alya, era n’alekera awo okuba omunakuwavu.
19 Awo ne bagolokoka ku makya nnyo ne bavunnama mu maaso ga Yakuwa, oluvannyuma ne baddayo ewaabwe e Laama.+ Erukaana ne yeegatta ne mukazi we Kaana, era Yakuwa n’amujjukira.+ 20 Nga wayiseewo omwaka nga gumu,* Kaana yafuna olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma+ Samwiri,* kubanga yagamba nti, “nnamusaba Yakuwa.”
21 Oluvannyuma lw’ekiseera, Erukaana yagenda n’ab’omu nnyumba ye bonna okuwaayo eri Yakuwa ssaddaaka+ eya buli mwaka n’ekiweebwayo kye eky’obweyamo. 22 Naye Kaana teyagenda,+ kubanga yali agambye bba nti: “Amangu ddala ng’omwana avudde ku mabeere, ndimutwala n’alabika mu maaso ga Yakuwa era n’asigalira ddala eyo.”+ 23 Awo Erukaana bba n’amugamba nti: “Kola ky’olaba nga kye kisinga obulungi.* Sigala awaka okutuusa lw’olimuggya ku mabeere. Yakuwa k’atuukirize ky’ogambye.” Awo omukazi n’asigala awaka n’ayonsa omwana we okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
24 Olwali okumuggya ku mabeere, n’amutwala e Siiro awamu n’ente ennume ey’emyaka esatu, ne efa* emu ey’obuwunga, n’ensumbi y’omwenge ennene,+ n’agenda ku nnyumba ya Yakuwa mu Siiro+ ng’ali wamu n’omwana oyo. 25 Awo ne batta ente ennume, omwana ne bamutwala eri Eli. 26 Kaana n’amugamba nti: “Mukama wange! Nga bw’oli omulamu, nze mukazi eyali ayimiridde naawe mu kifo kino nga nsaba Yakuwa.+ 27 Ono ye mwana ow’obulenzi gwe nnasaba, era Yakuwa yaddamu okusaba kwange.+ 28 Nange kaakano mmuwadde* Yakuwa. Ennaku zonna ez’obulamu bwe, aweereddwa Yakuwa.”
Awo n’avunnama* mu maaso ga Yakuwa.