LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Samwiri 15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Sawulo ajeema n’atatta Agagi (1-9)

      • Samwiri anenya Sawulo (10-23)

        • “Okuba omuwulize kisinga ssaddaaka” (22)

      • Sawulo aggibwako obwakabaka (24-29)

      • Samwiri atta Agagi (30-35)

1 Samwiri 15:1

Marginal References

  • +1Sa 9:16; 10:1
  • +1Sa 12:14

1 Samwiri 15:2

Marginal References

  • +Kuv 17:8; Kbl 24:20; Ma 25:17, 18

1 Samwiri 15:3

Footnotes

  • *

    Oba, “Tobataliza.”

Marginal References

  • +Kuv 17:14; Ma 25:19; 1By 4:43
  • +Lev 27:29; 1Sa 15:18
  • +Ma 9:1, 3
  • +Ma 13:17; Yos 6:18

1 Samwiri 15:4

Marginal References

  • +1Sa 11:8; 13:15

1 Samwiri 15:5

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

1 Samwiri 15:6

Marginal References

  • +Kbl 10:29, 32; 24:21; Bal 1:16
  • +Lub 18:25; 19:12, 13; Yos 6:17
  • +Kuv 18:9, 12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2005, lup. 30-31

1 Samwiri 15:7

Marginal References

  • +Ma 25:19; 1Sa 14:47, 48
  • +Lub 25:17, 18
  • +1Sa 27:8

1 Samwiri 15:8

Marginal References

  • +1Sa 15:33
  • +Lev 27:29; 1Sa 15:3

1 Samwiri 15:9

Footnotes

  • *

    Oba, “baasaasira.”

Marginal References

  • +Yos 7:12

1 Samwiri 15:11

Footnotes

  • *

    Oba, “Ndi munakuwavu.”

Marginal References

  • +1Sa 13:13; 15:3
  • +1Sa 16:1

1 Samwiri 15:12

Marginal References

  • +Yos 15:20, 55
  • +2Sa 18:18

1 Samwiri 15:14

Marginal References

  • +1Sa 15:3

1 Samwiri 15:15

Footnotes

  • *

    Oba, “baasaasidde.”

1 Samwiri 15:16

Marginal References

  • +1Sa 15:10, 11

1 Samwiri 15:17

Marginal References

  • +1Sa 9:21; 10:22
  • +1Sa 9:16; 10:1

1 Samwiri 15:18

Marginal References

  • +1Sa 15:3
  • +Ma 25:19

1 Samwiri 15:19

Marginal References

  • +Ma 13:17; 1Sa 15:9

1 Samwiri 15:20

Marginal References

  • +Lev 27:29; Ma 7:16; 1Sa 15:3, 9

1 Samwiri 15:21

Marginal References

  • +1Sa 15:15

1 Samwiri 15:22

Marginal References

  • +Is 1:11
  • +Nge 21:3; Kos 6:6; Mak 12:33
  • +Lev 3:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2007, lup. 19-21

1 Samwiri 15:23

Footnotes

  • *

    Obut., “ebifaananyi bya baterafi,” kwe kugamba, bakatonda b’awaka; ebifaananyi ebisinzibwa.

Marginal References

  • +1Sa 12:15
  • +Lev 20:6; Ma 18:10, 12; 1By 10:13
  • +1Sa 15:3
  • +1Sa 13:14; 16:1; Bik 13:22

1 Samwiri 15:25

Marginal References

  • +1Sa 15:30

1 Samwiri 15:26

Marginal References

  • +1Sa 13:14; 16:1

1 Samwiri 15:28

Footnotes

  • *

    Obut., “akuyuzizzaako.”

Marginal References

  • +1Sa 13:14; 16:12, 13; Bik 13:22

1 Samwiri 15:29

Footnotes

  • *

    Oba, “okwejjusa.”

  • *

    Oba, “okwejjusa.”

Marginal References

  • +1By 29:11
  • +Tit 1:2; Beb 6:18
  • +Kbl 23:19

1 Samwiri 15:30

Marginal References

  • +1Sa 15:25

1 Samwiri 15:32

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “nga mugumu.”

1 Samwiri 15:33

Marginal References

  • +Kuv 17:14; Ma 25:19; 1Sa 15:3

1 Samwiri 15:35

Marginal References

  • +1Sa 16:1
  • +1Sa 15:11

General

1 Sam. 15:11Sa 9:16; 10:1
1 Sam. 15:11Sa 12:14
1 Sam. 15:2Kuv 17:8; Kbl 24:20; Ma 25:17, 18
1 Sam. 15:3Kuv 17:14; Ma 25:19; 1By 4:43
1 Sam. 15:3Lev 27:29; 1Sa 15:18
1 Sam. 15:3Ma 9:1, 3
1 Sam. 15:3Ma 13:17; Yos 6:18
1 Sam. 15:41Sa 11:8; 13:15
1 Sam. 15:6Kbl 10:29, 32; 24:21; Bal 1:16
1 Sam. 15:6Lub 18:25; 19:12, 13; Yos 6:17
1 Sam. 15:6Kuv 18:9, 12
1 Sam. 15:7Ma 25:19; 1Sa 14:47, 48
1 Sam. 15:7Lub 25:17, 18
1 Sam. 15:71Sa 27:8
1 Sam. 15:81Sa 15:33
1 Sam. 15:8Lev 27:29; 1Sa 15:3
1 Sam. 15:9Yos 7:12
1 Sam. 15:111Sa 13:13; 15:3
1 Sam. 15:111Sa 16:1
1 Sam. 15:12Yos 15:20, 55
1 Sam. 15:122Sa 18:18
1 Sam. 15:141Sa 15:3
1 Sam. 15:161Sa 15:10, 11
1 Sam. 15:171Sa 9:21; 10:22
1 Sam. 15:171Sa 9:16; 10:1
1 Sam. 15:181Sa 15:3
1 Sam. 15:18Ma 25:19
1 Sam. 15:19Ma 13:17; 1Sa 15:9
1 Sam. 15:20Lev 27:29; Ma 7:16; 1Sa 15:3, 9
1 Sam. 15:211Sa 15:15
1 Sam. 15:22Is 1:11
1 Sam. 15:22Nge 21:3; Kos 6:6; Mak 12:33
1 Sam. 15:22Lev 3:16
1 Sam. 15:231Sa 12:15
1 Sam. 15:23Lev 20:6; Ma 18:10, 12; 1By 10:13
1 Sam. 15:231Sa 15:3
1 Sam. 15:231Sa 13:14; 16:1; Bik 13:22
1 Sam. 15:251Sa 15:30
1 Sam. 15:261Sa 13:14; 16:1
1 Sam. 15:281Sa 13:14; 16:12, 13; Bik 13:22
1 Sam. 15:291By 29:11
1 Sam. 15:29Tit 1:2; Beb 6:18
1 Sam. 15:29Kbl 23:19
1 Sam. 15:301Sa 15:25
1 Sam. 15:33Kuv 17:14; Ma 25:19; 1Sa 15:3
1 Sam. 15:351Sa 16:1
1 Sam. 15:351Sa 15:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Samwiri 15:1-35

1 Samwiri

15 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Yakuwa yantuma okukufukako amafuta obeere kabaka w’abantu be Abayisirayiri;+ kale kaakano wuliriza Yakuwa ky’agamba.+ 2 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: ‘Nja kuwoolera eggwanga ku Bamaleki olw’ekyo kye baakola Abayisirayiri, bwe baabalwanyisa nga bava e Misiri.+ 3 Kaakano genda otte Abamaleki+ obazikirize+ awamu ne byonna bye balina. Tobasaasira;* ojja kutta+ abasajja n’abakazi, abaana abato n’abawere, ente n’endiga, eŋŋamira n’endogoyi.’”+ 4 Awo Sawulo n’ayita abantu n’ababalira e Terayimu. Abasirikale abatambuza ebigere baali 200,000 ate abasajja ba Yuda baali 10,000.+

5 Awo Sawulo n’agenda n’atuuka ku kibuga kya Amaleki n’ateegera okumpi n’ekiwonvu.* 6 Sawulo n’agamba Abakeeni+ nti: “Muve mu Bamaleki mugende, nneme okubazikiririza awamu nabo,+ kubanga mwalaga abantu ba Isirayiri bonna okwagala okutajjulukuka+ nga bava e Misiri.” Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki. 7 Oluvannyuma Sawulo n’atta Abamaleki+ okuva e Kavira+ okutuukira ddala e Ssuuli,+ ekiriraanye Misiri. 8 Yakwata Agagi+ kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiriza n’ekitala.+ 9 Naye Sawulo n’abantu baataliza* Agagi n’ebisingayo obulungi mu bisibo ne mu magana, ensolo engevvu, endiga ennume, n’ebintu byonna ebyali ebirungi.+ Tebaayagala kubizikiriza. Naye ebintu byonna ebitaalina mugaso n’ebiteetaagibwa baabizikiriza.

10 Awo Yakuwa n’agamba Samwiri nti: 11 “Nnejjusa* olw’okufuula Sawulo kabaka, kubanga alekedde awo okungoberera, era takoze bye nnagamba.”+ Samwiri n’anakuwala nnyo, era n’akaabirira Yakuwa ekiro kyonna.+ 12 Samwiri bwe yagolokoka ku makya ennyo okugenda okusisinkana Sawulo, ne bamutegeeza nti: “Sawulo yagenze Kalumeeri,+ era yeezimbidde eyo ekijjukizo.+ Awo Samwiri n’akyusa n’agenda e Girugaali.” 13 Oluvannyuma Samwiri bwe yagenda eri Sawulo, Sawulo n’amugamba nti: “Yakuwa akuwe omukisa. Nkoze Yakuwa bye yagamba.” 14 Kyokka Samwiri n’amugamba nti: “Lwaki ate mpulira endiga ezikaaba, n’ente eziŋooŋa?”+ 15 Sawulo n’amuddamu nti: “Zaggiddwa ku Bamaleki, kubanga abantu baatalizza* ebisingayo obulungi mu magana ne mu bisibo, babiweeyo nga ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wo; naye ebyasigaddewo twabizikirizza.” 16 Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Koma awo! Ka nkubuulire Yakuwa kye yaŋŋambye ekiro.”+ Awo n’amuddamu nti: “Yogera!”

17 Samwiri n’agamba nti: “Wali teweenyooma+ we wafuukira omukulu w’ebika bya Isirayiri, era ne Yakuwa we yakufukirako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri?+ 18 Oluvannyuma Yakuwa yakutuma okukola omulimu n’akugamba nti, ‘Genda ozikirize Abamaleki+ aboonoonyi. Balwanyise okutuusa lw’onoobamalirawo ddala.’+ 19 Kati olwo lwaki tewagondedde ddoboozi lya Yakuwa, wabula n’ogwa ku munyago+ n’amaddu, n’okola ekintu ekibi mu maaso ga Yakuwa?”

20 Kyokka, Sawulo n’agamba Samwiri nti: “Naye nnagondedde eddoboozi lya Yakuwa, kubanga nnagenze ne nkola Yakuwa bye yantuma okukola ne ndeeta Agagi kabaka w’Abamaleki, era ne nzikiriza Abamaleki.+ 21 Naye abantu baggye ku munyago endiga n’ente ebyabadde bisinga obulungi mu ebyo ebyabadde eby’okuzikirizibwa, babiweeyo nga ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wo e Girugaali.”+

22 Awo Samwiri n’agamba nti: “Yakuwa asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka+ nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Yakuwa? Okuba omuwulize kisinga ssaddaaka,+ n’okussaayo omwoyo kisinga amasavu+ g’endiga ennume; 23 kubanga obujeemu+ bwenkanankana n’ekibi eky’obulaguzi,+ n’okwetulinkiriza kwenkanankana n’okukozesa eddogo era n’okusinza ebifaananyi.* Nga bw’ojeemedde ekigambo kya Yakuwa,+ naye akuggyeeko obwakabaka.”+

24 Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti: “Nnyonoonye, kubanga njeemedde ekiragiro kya Yakuwa n’ebigambo byo; olw’okuba nnatidde abantu ne mpuliriza bye baagambye. 25 Kaakano nkwegayiridde nsonyiwa ekibi kyange, era oddeyo nange nvunname mu maaso ga Yakuwa.”+ 26 Naye Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Siddayo naawe, kubanga weesambye ekigambo kya Yakuwa; Yakuwa naye akwesambye, era tojja kweyongera kuba kabaka wa Isirayiri.”+ 27 Samwiri bwe yali akyuka okugenda, Sawulo n’akwata ekirenge ky’ekizibaawo kye ekitaliiko mikono, ne kiyulika. 28 Awo Samwiri n’amugamba nti: “Yakuwa akuggyeeko* obwakabaka bwa Isirayiri olwa leero, era ajja kubuwa omuntu omulala akusinga.+ 29 Ate era Katonda wa Isirayiri ow’Ekitiibwa+ tajja kulimba+ oba okukyusa ekirowoozo kye,* kubanga si muntu okukyusa ekirowoozo kye.”*+

30 Awo Sawulo n’agamba nti: “Nnyonoonye. Naye nkwegayiridde ngulumiza mu maaso g’abakadde b’abantu bange ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange nvunname mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.”+ 31 Awo Samwiri n’addayo ne Sawulo, Sawulo n’avunnama mu maaso ga Yakuwa. 32 Samwiri n’agamba nti: “Mundeetere wano Agagi kabaka wa Amaleki.” Awo Agagi n’agenda w’ali ng’asikattira,* kubanga emabegako yali alowooza nti: ‘Mazima ddala sikyafudde.’ 33 Kyokka, Samwiri n’agamba nti: “Ng’ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw’atyo ne nnyoko bw’anaaba nga talina mwana.” Awo Samwiri n’atemaatema Agagi mu maaso ga Yakuwa e Girugaali.+

34 Awo Samwiri n’agenda e Laama, ate Sawulo n’agenda ewuwe e Gibeya ekya Sawulo. 35 Samwiri yanakuwalira nnyo Sawulo, era Samwiri teyaddamu kulaba Sawulo okutuusa ku lunaku lwe yafa.+ Yakuwa yejjusa olw’okuba yafuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share