LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Ebyomumirembe Ekisooka 29
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okuwaayo olw’okuzimba yeekaalu (1-9)

      • Essaala ya Dawudi (10-19)

      • Abantu basanyuka; obwakabaka bwa Sulemaani (20-25)

      • Dawudi afa (26-30)

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:1

Footnotes

  • *

    Oba, “olubiri.”

Marginal References

  • +1By 28:5
  • +1Sk 3:7
  • +2By 2:4

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:2

Footnotes

  • *

    Obudongo obwogerwako wano tebwabanga bwa ttaka, wabula gwabanga musenyu nga gutabuddwamu ennoni n’amazzi.

Marginal References

  • +1By 22:3, 16
  • +1By 22:4, 14

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:3

Marginal References

  • +Zb 26:8; 27:4; 122:1
  • +1By 21:24

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:4

Footnotes

  • *

    Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Yob 28:16

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:5

Marginal References

  • +Kuv 35:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1991, lup. 16

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:6

Marginal References

  • +Kuv 18:25
  • +1By 27:25, 29, 31

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:7

Footnotes

  • *

    Daliki kyali kinusu kya Buperusi ekya zzaabu. Laba Ebyong. B14.

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2017, 2114

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:8

Marginal References

  • +1By 26:22
  • +1By 6:1

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:9

Marginal References

  • +2Ko 9:7

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:10

Footnotes

  • *

    Oba, “okuva emirembe n’emirembe okutuusa emirembe n’emirembe.”

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:11

Marginal References

  • +Zb 145:3; 1Ti 1:17
  • +Kub 5:13
  • +1By 16:27; Zb 8:1
  • +Zb 24:1; Is 42:5
  • +Zb 103:19; Mat 6:10

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:12

Marginal References

  • +Ma 8:18; Nge 10:22; Baf 4:19
  • +2By 20:6
  • +Is 40:26
  • +Ma 3:24; Bef 1:19; Kub 15:3
  • +2By 1:11, 12
  • +2By 16:9; Zb 18:32; Is 40:29

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2018, lup. 18

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:15

Marginal References

  • +Lev 25:23; Beb 11:13
  • +Yob 14:1, 2; Yak 4:13, 14

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:17

Marginal References

  • +1By 28:9
  • +Nge 11:20; 15:8; Beb 1:9

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:18

Marginal References

  • +Zb 10:17; 86:11

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:19

Footnotes

  • *

    Oba, “omutima ogukwemaliddeko.”

  • *

    Oba, “olubiri.”

Marginal References

  • +Mak 12:30
  • +1Sk 6:12
  • +1By 22:14

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:21

Marginal References

  • +Lev 1:3
  • +Lev 23:12, 13; Kbl 15:5
  • +1Sk 8:63, 64

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:22

Marginal References

  • +Ma 12:7; 2By 7:10; Nek 8:12
  • +1Sk 1:38-40; 1By 23:1
  • +1Sk 2:35

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:23

Marginal References

  • +1By 28:5

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 32

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:24

Marginal References

  • +1By 22:17
  • +1By 28:1
  • +1By 3:1-9

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:25

Marginal References

  • +1Sk 3:12; 2By 1:1, 12; Mub 2:9

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:27

Marginal References

  • +2Sa 2:11
  • +2Sa 5:4, 5

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:28

Marginal References

  • +1Sk 1:1
  • +1Sk 2:10-12

1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:29

Marginal References

  • +2Sa 7:2; 12:1
  • +1By 21:9, 10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2009, lup. 32

General

1 Byom. 29:11By 28:5
1 Byom. 29:11Sk 3:7
1 Byom. 29:12By 2:4
1 Byom. 29:21By 22:3, 16
1 Byom. 29:21By 22:4, 14
1 Byom. 29:3Zb 26:8; 27:4; 122:1
1 Byom. 29:31By 21:24
1 Byom. 29:4Yob 28:16
1 Byom. 29:5Kuv 35:5
1 Byom. 29:6Kuv 18:25
1 Byom. 29:61By 27:25, 29, 31
1 Byom. 29:81By 26:22
1 Byom. 29:81By 6:1
1 Byom. 29:92Ko 9:7
1 Byom. 29:11Zb 24:1; Is 42:5
1 Byom. 29:11Zb 103:19; Mat 6:10
1 Byom. 29:11Zb 145:3; 1Ti 1:17
1 Byom. 29:11Kub 5:13
1 Byom. 29:111By 16:27; Zb 8:1
1 Byom. 29:12Ma 8:18; Nge 10:22; Baf 4:19
1 Byom. 29:122By 20:6
1 Byom. 29:12Is 40:26
1 Byom. 29:12Ma 3:24; Bef 1:19; Kub 15:3
1 Byom. 29:122By 1:11, 12
1 Byom. 29:122By 16:9; Zb 18:32; Is 40:29
1 Byom. 29:15Lev 25:23; Beb 11:13
1 Byom. 29:15Yob 14:1, 2; Yak 4:13, 14
1 Byom. 29:171By 28:9
1 Byom. 29:17Nge 11:20; 15:8; Beb 1:9
1 Byom. 29:18Zb 10:17; 86:11
1 Byom. 29:19Mak 12:30
1 Byom. 29:191Sk 6:12
1 Byom. 29:191By 22:14
1 Byom. 29:21Lev 1:3
1 Byom. 29:21Lev 23:12, 13; Kbl 15:5
1 Byom. 29:211Sk 8:63, 64
1 Byom. 29:22Ma 12:7; 2By 7:10; Nek 8:12
1 Byom. 29:221Sk 1:38-40; 1By 23:1
1 Byom. 29:221Sk 2:35
1 Byom. 29:231By 28:5
1 Byom. 29:241By 22:17
1 Byom. 29:241By 28:1
1 Byom. 29:241By 3:1-9
1 Byom. 29:251Sk 3:12; 2By 1:1, 12; Mub 2:9
1 Byom. 29:272Sa 2:11
1 Byom. 29:272Sa 5:4, 5
1 Byom. 29:281Sk 1:1
1 Byom. 29:281Sk 2:10-12
1 Byom. 29:292Sa 7:2; 12:1
1 Byom. 29:291By 21:9, 10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Ebyomumirembe Ekisooka 29:1-30

1 Ebyomumirembe Ekisooka

29 Awo Kabaka Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti: “Sulemaani mutabani wange Katonda gw’alonze+ muto era talina bumanyirivu,+ ate ng’omulimu munene; kubanga yeekaalu* si ya muntu wabula ya Yakuwa Katonda.+ 2 Era nfubye nga bwe nsobola okutegekera ennyumba ya Katonda wange, nga mpaayo zzaabu ow’okukolamu ebintu ebya zzaabu, ffeeza ow’okukolamu ebintu ebya ffeeza, ekikomo eky’okukolamu ebintu eby’ekikomo, ekyuma eky’okukolamu ebintu eby’ekyuma,+ embaawo+ ez’okukolamu ebintu eby’embaawo, amayinja ga sokamu, amayinja ag’okusibisibwa obudongo,* amayinja ag’okutonaatona, amayinja ag’omuwendo aga buli ngeri, n’amayinja ga sayisi mangi nnyo. 3 Era olw’okuba njagala nnyo ennyumba ya Katonda wange,+ nnina eby’obugagga ebyange ku bwange+ ebya zzaabu ne ffeeza bye mpaayo eri ennyumba ya Katonda wange, okugatta ku ebyo byonna bye ntegekedde ennyumba entukuvu; 4 mpaayo ttalanta* 3,000 eza zzaabu ow’e Ofiri,+ ne ttalanta 7,000 eza ffeeza alongooseddwa, eby’okubikka ku bisenge by’ennyumba; 5 zzaabu ow’okukolamu ebintu ebya zzaabu, ne ffeeza ow’okukolamu ebintu ebya ffeeza, n’ow’emirimu gyonna eginaakolebwa abakugu mu mirimu gy’eby’emikono. Ani ayagala okubaako ky’awa Yakuwa leero?”+

6 Awo abakulu b’ennyumba za bakitaabwe n’abakulu b’ebika bya Isirayiri n’abakulira enkumi n’abakulira ebikumi+ n’abaalabiriranga emirimu gya kabaka+ ne bavaayo kyeyagalire. 7 Baawaayo eby’omulimu gw’ennyumba ya Katonda ow’amazima: ttalanta za zzaabu 5,000 ne daliki* 10,000 ne ttalanta za ffeeza 10,000 ne ttalanta z’ekikomo 18,000 ne ttalanta z’ekyuma 100,000. 8 Buli eyalina amayinja ag’omuwendo yagawaayo mu ggwanika ly’ennyumba ya Yakuwa eryali likulirwa Yekyeri+ Omugerusoni.+ 9 Awo abantu ne basanyuka olw’okuwaayo kyeyagalire ebiweebwayo bino, kubanga baawaayo eri Yakuwa ebiweebwayo ebya kyeyagalire n’omutima gwabwe gwonna;+ era ne Kabaka Dawudi naye yasanyuka nnyo.

10 Awo Dawudi n’atendereza Yakuwa mu maaso g’ekibiina kyonna, n’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wa kitaffe Isirayiri, otenderezebwe emirembe n’emirembe.* 11 Ai Yakuwa, oli mukulu,+ oli wa maanyi,+ oli mulungi, osukkulumye, era oli wa kitiibwa;+ kubanga ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi bibyo.+ Obwakabaka bubwo, Ai Yakuwa.+ Ggwe agulumiziddwa era akulira bonna. 12 Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,+ era ggwe ofuga byonna;+ mu mukono gwo mwe muli obuyinza+ n’amaanyi,+ era omukono gwo gusobola okuwa abantu obukulu+ era n’okuwa bonna amaanyi.+ 13 Kaakano, Ai Katonda waffe, tukwebaza era tutendereza erinnya lyo eddungi.

14 “Naye nze n’abantu bange ffe baani okuwaayo ebiweebwayo ebya kyeyagalire nga bino? Kubanga ebintu byonna biva gy’oli, era tukuwadde ebiva mu mukono gwo. 15 Kubanga tuli bagwira era basenze mu maaso go nga bajjajjaffe bonna bwe baali.+ Ennaku zaffe ku nsi ziringa kisiikirize+—tetubeerawo lubeerera. 16 Ai Yakuwa Katonda waffe, ebintu bino byonna ebingi bye tutegese okukuzimbira ennyumba ey’erinnya lyo ettukuvu bivudde mu mukono gwo era byonna bibyo. 17 Era nkimanyi bulungi, Ai Katonda wange, nti okebera omutima+ era nti osanyukira obugolokofu.+ Mu bwesimbu bw’omutima gwange mpaddeyo ebintu bino byonna kyeyagalire, era nsanyuse nnyo okulaba abantu bo abali wano nga bawaayo ebiweebwayo gy’oli kyeyagalire. 18 Ai Yakuwa Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, bajjajjaffe, yamba abantu bano okusigala nga balina omwoyo ng’ogwo era bayambe bakuweerezenga n’omutima gwabwe gwonna.+ 19 Ne Sulemaani mutabani wange muwe omutima ogutuukiridde*+ asobole okukwatanga ebiragiro byo,+ ne by’otujjukiza, n’amateeka go, era akole ebintu ebyo byonna era azimbe yeekaalu* gye ntegekedde ebintu.”+

20 Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti: “Mutendereze Yakuwa Katonda wammwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe era ne bavunnamira Yakuwa ne kabaka. 21 Ne bawaayo ssaddaaka eri Yakuwa era ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa+ eri Yakuwa ku lunaku olwaddirira, ente ento ennume 1,000 n’endiga ennume 1,000 n’endiga ento ennume 1,000 n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako.+ Baawaayo ssaddaaka mu bungi ku lwa Isirayiri yonna.+ 22 Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Yakuwa ku lunaku olwo nga basanyufu nnyo;+ ne balangirira Sulemaani mutabani wa Dawudi nga kabaka omulundi ogw’okubiri, era ne bamufukako amafuta mu maaso ga Yakuwa okuba omukulembeze+ era ne Zadooki ne bamufukako amafuta okuba kabona.+ 23 Sulemaani n’atuula ku ntebe ya Yakuwa ey’obwakabaka+ ng’adda mu kifo kya Dawudi kitaawe, obufuzi bwe ne buba bulungi era Abayisirayiri bonna ne bamugondera. 24 Abaami bonna+ n’abalwanyi ab’amaanyi+ n’abaana ba Kabaka Dawudi bonna+ ne bagondera Kabaka Sulemaani. 25 Era Yakuwa n’afuula Sulemaani ow’ekitiibwa ennyo mu maaso ga Isirayiri yonna era n’amuwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitabanga ku kabaka yenna mu Isirayiri.+

26 Dawudi mutabani wa Yese yafuga Isirayiri yonna; 27 era yafuga Isirayiri okumala emyaka 40. Yafugira mu Kebbulooni emyaka 7,+ ate n’afugira e Yerusaalemi emyaka 33.+ 28 Oluvannyuma n’afa ng’akaddiyidde ddala bulungi,+ ng’amatidde ennaku z’obulamu bwe n’obugagga n’ekitiibwa; Sulemaani mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+ 29 Ebyafaayo bya Kabaka Dawudi, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu biwandiiko bya Samwiri omulabi n’ebya nnabbi Nasani+ n’ebya Gaadi+ eyategeezanga okwolesebwa okwavanga eri Katonda. 30 Ebiwandiiko ebyo byogera ne ku bufuzi bwe bwonna, n’amaanyi ge, n’ebyaliwo mu kiseera kye ne mu Isirayiri ne mu bwakabaka bwonna obwali bubeetoolodde.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share