LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ekibi kya Yuda kyasimba amakanda (1-4)

      • Emikisa egiva mu kwesiga Yakuwa (5-8)

      • Omutima omulimba (9-11)

      • Yakuwa, essuubi lya Isirayiri (12, 13)

      • Essaala ya Yeremiya (14-18)

      • Okutwala Ssabbiiti ng’olunaku olutukuvu (19-27)

Yeremiya 17:2

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Bal 3:7; 2By 24:18; 33:1, 3
  • +Is 1:29; Ezk 6:13

Yeremiya 17:3

Marginal References

  • +2Sk 24:11, 13; Yer 15:13
  • +Lev 26:30; Ezk 6:3

Yeremiya 17:4

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kubanga okufaananako omuliro, mukoleezeddwa mu busungu bwange.”

Marginal References

  • +Kuk 5:2
  • +Ma 28:48; Yer 16:13
  • +Is 5:25; Yer 15:14

Yeremiya 17:5

Footnotes

  • *

    Oba, “omuntu ow’amaanyi.”

Marginal References

  • +Is 30:1, 2
  • +2Sk 16:7

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 44

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 10

Yeremiya 17:7

Footnotes

  • *

    Oba, “omuntu ow’amaanyi.”

Marginal References

  • +Zb 34:8; 146:5; Is 26:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 10

Yeremiya 17:8

Marginal References

  • +Zb 1:3; 92:12, 13

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    9/2019, lup. 8

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2011, lup. 28

    3/15/2011, lup. 14

Yeremiya 17:9

Footnotes

  • *

    Oba, “mulimba.”

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “teguwonyezeka.”

Marginal References

  • +Lub 6:5; 8:21; Nge 28:26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2004, lup. 10-11

    11/1/2001, lup. 20

    8/1/2001, lup. 20

    3/1/2000, lup. 30

    12/1/1991, lup. 9-10

Yeremiya 17:10

Footnotes

  • *

    Oba, “enneewulira ez’omunda ennyo.” Obut., “ensigo.”

Marginal References

  • +1Sa 16:7; 1By 28:9; Nge 17:3; 21:2
  • +Bar 2:6; Bag 6:7; Kub 2:23; 22:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2013, lup. 9

Yeremiya 17:11

Footnotes

  • *

    Oba, “naye nga tabifunye mu bwenkanya.”

Marginal References

  • +Nge 28:20; Is 1:23; Yak 5:4

Yeremiya 17:12

Marginal References

  • +2By 2:5; Is 6:1

Yeremiya 17:13

Footnotes

  • *

    Obut., “abanneewaggulako,” nga kirabika wano boogera ku Yakuwa.

Marginal References

  • +Zb 73:27; Is 1:28
  • +Yer 2:13; Kub 22:1

Yeremiya 17:14

Marginal References

  • +Yer 15:20

Yeremiya 17:15

Marginal References

  • +Is 5:19; 2Pe 3:4

Yeremiya 17:18

Footnotes

  • *

    Oba, “obazikirize emirundi ebiri.”

Marginal References

  • +Yer 15:15; 20:11
  • +Yer 18:23

Yeremiya 17:19

Marginal References

  • +Yer 7:2

Yeremiya 17:21

Marginal References

  • +Nek 13:19

Yeremiya 17:22

Marginal References

  • +Kuv 20:9, 10; Lev 23:3
  • +Kuv 31:13

Yeremiya 17:23

Footnotes

  • *

    Obut., “baakakanyaza ensingo yaabwe.”

Marginal References

  • +Is 48:4; Ezk 20:13

Yeremiya 17:24

Marginal References

  • +Ma 5:12-14

Yeremiya 17:25

Marginal References

  • +Zb 132:11
  • +Yer 22:4

Yeremiya 17:26

Footnotes

  • *

    Oba, “ne mu bukiikaddyo.”

Marginal References

  • +Yer 32:44
  • +Yer 33:13
  • +Lev 1:3
  • +Ezr 3:3
  • +Lev 2:1, 2
  • +Zb 107:22; 116:17; Yer 33:10, 11

Yeremiya 17:27

Marginal References

  • +2Sk 25:9, 10; Yer 39:8
  • +2Sk 22:16, 17; Kuk 4:11

General

Yer. 17:2Bal 3:7; 2By 24:18; 33:1, 3
Yer. 17:2Is 1:29; Ezk 6:13
Yer. 17:32Sk 24:11, 13; Yer 15:13
Yer. 17:3Lev 26:30; Ezk 6:3
Yer. 17:4Kuk 5:2
Yer. 17:4Ma 28:48; Yer 16:13
Yer. 17:4Is 5:25; Yer 15:14
Yer. 17:5Is 30:1, 2
Yer. 17:52Sk 16:7
Yer. 17:7Zb 34:8; 146:5; Is 26:3
Yer. 17:8Zb 1:3; 92:12, 13
Yer. 17:9Lub 6:5; 8:21; Nge 28:26
Yer. 17:101Sa 16:7; 1By 28:9; Nge 17:3; 21:2
Yer. 17:10Bar 2:6; Bag 6:7; Kub 2:23; 22:12
Yer. 17:11Nge 28:20; Is 1:23; Yak 5:4
Yer. 17:122By 2:5; Is 6:1
Yer. 17:13Zb 73:27; Is 1:28
Yer. 17:13Yer 2:13; Kub 22:1
Yer. 17:14Yer 15:20
Yer. 17:15Is 5:19; 2Pe 3:4
Yer. 17:18Yer 15:15; 20:11
Yer. 17:18Yer 18:23
Yer. 17:19Yer 7:2
Yer. 17:21Nek 13:19
Yer. 17:22Kuv 20:9, 10; Lev 23:3
Yer. 17:22Kuv 31:13
Yer. 17:23Is 48:4; Ezk 20:13
Yer. 17:24Ma 5:12-14
Yer. 17:25Zb 132:11
Yer. 17:25Yer 22:4
Yer. 17:26Yer 32:44
Yer. 17:26Yer 33:13
Yer. 17:26Lev 1:3
Yer. 17:26Ezr 3:3
Yer. 17:26Lev 2:1, 2
Yer. 17:26Zb 107:22; 116:17; Yer 33:10, 11
Yer. 17:272Sk 25:9, 10; Yer 39:8
Yer. 17:272Sk 22:16, 17; Kuk 4:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 17:1-27

Yeremiya

17 “Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma.

Kyoleddwa ku mutima gwabwe n’ekkalaamu ey’ejjinja ly’alimansi

Era kyoleddwa ne ku mayembe g’ebyoto byabwe,

 2 N’abaana baabwe bajjukira ebyoto byabwe n’empagi zaabwe ezisinzibwa*+

Ebyali okumpi n’omuti ogw’ebikoola ebingi, ku busozi obuwanvu,+

 3 Ne ku nsozi eziri ku ttale.

Eby’obugagga byo n’ebintu byo byonna eby’omuwendo nja kubiwaayo binyagibwe.+

Ebifo byo ebigulumivu nja kubiwaayo binyagibwe olw’ebibi bye wakola mu bitundu byonna eby’ensi yo.+

 4 Eby’obusika bye nnakuwa, ojja kubiwaayo awatali kuwalirizibwa.+

Era nja kukuleetera okuba omuweereza w’abalabe bo mu nsi gy’otomanyi,+

Kubanga muleetedde obusungu bwange okukoleera ng’omuliro.*+

Bujja kubuubuuka emirembe n’emirembe.”

 5 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Akolimiddwa omuntu* assa obwesige mu bantu obuntu,+

Eyeesiga amaanyi g’abantu,+

Era ow’omutima oguvudde ku Yakuwa.

 6 Ajja kuba ng’omuti oguli gwokka mu ddungu.

Ebirungi bwe birijja talibiraba,

Naye ajja kubeera mu bifo ebikalu mu ddungu,

Mu nsi ey’olunnyo etayinza kubeeramu bantu.

 7 Wa mukisa omuntu* eyeesiga Yakuwa,

Assa obwesige bwe mu Yakuwa.+

 8 Ajja kuba ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’amazzi,

Emirandira gyagwo ne giranda nga gidda awali omugga.

Tajja kutya omusana bwe gunaayaka ennyo,

Naye ebikoola bye bijja kweyongera obungi.+

Ne mu kiseera eky’ekyeya tajja kweraliikirira,

Era tajja kulekera awo kubala bibala.

 9 Omutima mukuusa* okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo.*+

Ani ayinza okugumanya?

10 Nze Yakuwa nkebera omutima,+

Nkebera ebirowoozo eby’omunda ennyo,*

Ndyoke nsasule buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,

Ng’ebikolwa bye bwe biri.+

11 Omuntu afuna eby’obugagga mu makubo amakyamu,*+

Aba ng’enkwale ekuŋŋaanya amagi g’etaabiika.

Birimuggwaako oluvannyuma lw’ekiseera,

Era ku nkomerero kiryeyoleka nti musirusiru.”

12 Entebe ey’ekitiibwa, eyagulumizibwa okuva ku lubereberye,

Kye kifo kyaffe ekitukuvu.+

13 Ai Yakuwa, essuubi lya Isirayiri,

Abo bonna abakuvaako bajja kuswala.

Amannya g’abo abakwewaggulako* gajja kuwandiikibwa mu nfuufu,+

Olw’okuba bavudde ku Yakuwa, ensibuko y’amazzi amalamu.+

14 Ai Yakuwa, mponya, nja kuwona.

Ndokola, nja kulokolebwa,+

Kubanga ggwe gwe ntendereza.

15 Laba! Waliwo abaŋŋamba nti:

“Ekigambo kya Yakuwa kiri ludda wa?+

Ka kijje!”

16 Naye nze ng’omusumba saalekayo kukugoberera,

Era seesunga lunaku olw’okulaba ennaku.

Omanyi bulungi emimwa gyange bye gyogera;

Ebigambo byange biri mu maaso go!

17 Tondeetera ntiisa.

Ggwe kiddukiro kyange mu biseera ebizibu.

18 Abanjigganya ka baswale,+

Naye nze tondeka kuswala.

Ka bakubwe entiisa,

Naye nze tondeka kukubwa ntiisa.

Baleetere olunaku olw’okulabirako ennaku,+

Obabetente era obazikiririze ddala.*

19 Bw’ati Yakuwa bwe yaŋŋamba: “Genda oyimirire mu mulyango gw’abaana b’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira era mwe bafulumira, ne mu miryango gyonna egya Yerusaalemi.+ 20 Ojja kubagamba nti, ‘Muwulire ekigambo kya Yakuwa, mmwe bakabaka ba Yuda, n’abantu bonna ab’omu Yuda, n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino. 21 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mwekuume, era temusitula mugugu gwonna ku lunaku lwa Ssabbiiti wadde okuguyisa mu miryango gya Yerusaalemi.+ 22 Temufulumyanga mugugu gwonna mu mayumba gammwe ku lunaku lwa Ssabbiiti, era temukolanga mulimu gwonna.+ Olunaku lwa Ssabbiiti mulutwalenga nga lutukuvu, nga bwe nnalagira bajjajjammwe.+ 23 Naye tebaawuliriza wadde okuntegera amatu, era baawaganyala ne bagaana* okuŋŋondera n’okukkiriza okuwabulwa.”’+

24 “‘“Kyokka, bwe munaŋŋondera,” Yakuwa bw’agamba, “ne mutayisa mugugu gwonna mu miryango gy’ekibuga kino ku lunaku lwa Ssabbiiti, era olunaku lwa Ssabbiiti ne mulutwala nga lutukuvu ne mutakolerako mulimu gwonna,+ 25 olwo bakabaka n’abaami abatuula ku ntebe ya Dawudi+ nabo bajja kuyingirira mu miryango gy’ekibuga kino, nga bali mu ggaali ne ku mbalaasi, bakabaka n’abaami baabwe, abantu ba Yuda n’ababeera mu Yerusaalemi;+ era ekibuga kino kijja kubeeramu abantu emirembe n’emirembe. 26 Era abantu bajja kuva mu bibuga bya Yuda, ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu nsi ya Benyamini,+ ne mu lusenyi,+ ne mu kitundu eky’ensozi, ne mu Negebu,* baleete mu nnyumba ya Yakuwa ebiweebwayo ebyokebwa,+ ne ssaddaaka,+ n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,+ n’obubaani obweru, ne ssaddaaka ez’okwebaza.+

27 “‘“Naye bwe mutaŋŋondere, olunaku lwa Ssabbiiti ne mutalutwala nga lutukuvu, era ne musitula emigugu ne mugiyisa mu miryango gya Yerusaalemi ku lunaku lwa Ssabbiiti, nja kukuma omuliro ku miryango gyakyo, era gujja kwokya eminaala gya Yerusaalemi,+ era tegujja kuzikizibwa.”’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share