LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Dawudi, kabaka wa Yuda (1-7)

      • Isu-bosesi, kabaka wa Isirayiri (8-11)

      • Olutalo wakati w’ennyumba ya Dawudi n’eya Sawulo (12-32)

2 Samwiri 2:1

Marginal References

  • +Kbl 27:21; 1Sa 28:6
  • +Lub 23:2; Kbl 13:22; Yos 14:14; 20:7; 2Sa 5:1; 1Sk 2:11

2 Samwiri 2:2

Marginal References

  • +1Sa 25:43
  • +1Sa 25:42; 30:5

2 Samwiri 2:3

Marginal References

  • +1Sa 22:1, 2; 27:2; 1By 12:1

2 Samwiri 2:4

Marginal References

  • +Lub 49:10; 1Sa 15:24, 28; 16:13; 2Sa 5:4, 5; 1By 11:3

2 Samwiri 2:5

Marginal References

  • +1Sa 31:11-13

2 Samwiri 2:6

Marginal References

  • +2Sa 9:7; 10:2

2 Samwiri 2:8

Marginal References

  • +1Sa 14:50; 17:55; 26:5; 2Sa 4:1; 1Sk 2:5
  • +2Sa 4:5-8, 12
  • +Lub 32:1, 2; Yos 13:29, 30

2 Samwiri 2:9

Marginal References

  • +Yos 13:8, 11
  • +Yos 19:17, 18
  • +Yos 16:5-8

2 Samwiri 2:10

Marginal References

  • +2Sa 2:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    3/2017, lup. 32

2 Samwiri 2:11

Footnotes

  • *

    Obut., “Ennaku Dawudi ze yamala.”

Marginal References

  • +1By 3:4

2 Samwiri 2:12

Marginal References

  • +2Sa 2:8
  • +Yos 10:12; 18:21, 25; 21:8, 17; 2Sa 20:8; 2By 1:3

2 Samwiri 2:13

Marginal References

  • +2Sa 8:16; 20:23; 1Sk 1:5, 7
  • +1By 2:15, 16

2 Samwiri 2:14

Footnotes

  • *

    Oba, “bavuganye.”

2 Samwiri 2:18

Marginal References

  • +1By 2:15, 16
  • +2Sa 10:7; 24:2; 1Sk 11:15; 1By 11:6
  • +1Sa 26:6; 2Sa 20:6; 1By 11:20
  • +2Sa 3:27; 23:24; 1By 27:1, 7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2005, lup. 8-9

2 Samwiri 2:23

Marginal References

  • +2Sa 3:27

2 Samwiri 2:29

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “mu Bisuloni kyonna.”

Marginal References

  • +Ma 1:7; Yos 12:2, 3
  • +Yos 21:8, 38; 2Sa 2:8

2 Samwiri 2:32

Marginal References

  • +2Sa 2:18; 1By 2:15, 16
  • +Lub 35:19; Lus 4:11; 1Sa 16:1
  • +2Sa 2:1, 3; 1By 11:1

General

2 Sam. 2:1Kbl 27:21; 1Sa 28:6
2 Sam. 2:1Lub 23:2; Kbl 13:22; Yos 14:14; 20:7; 2Sa 5:1; 1Sk 2:11
2 Sam. 2:21Sa 25:43
2 Sam. 2:21Sa 25:42; 30:5
2 Sam. 2:31Sa 22:1, 2; 27:2; 1By 12:1
2 Sam. 2:4Lub 49:10; 1Sa 15:24, 28; 16:13; 2Sa 5:4, 5; 1By 11:3
2 Sam. 2:51Sa 31:11-13
2 Sam. 2:62Sa 9:7; 10:2
2 Sam. 2:81Sa 14:50; 17:55; 26:5; 2Sa 4:1; 1Sk 2:5
2 Sam. 2:82Sa 4:5-8, 12
2 Sam. 2:8Lub 32:1, 2; Yos 13:29, 30
2 Sam. 2:9Yos 13:8, 11
2 Sam. 2:9Yos 19:17, 18
2 Sam. 2:9Yos 16:5-8
2 Sam. 2:102Sa 2:4
2 Sam. 2:111By 3:4
2 Sam. 2:122Sa 2:8
2 Sam. 2:12Yos 10:12; 18:21, 25; 21:8, 17; 2Sa 20:8; 2By 1:3
2 Sam. 2:132Sa 8:16; 20:23; 1Sk 1:5, 7
2 Sam. 2:131By 2:15, 16
2 Sam. 2:181By 2:15, 16
2 Sam. 2:182Sa 10:7; 24:2; 1Sk 11:15; 1By 11:6
2 Sam. 2:181Sa 26:6; 2Sa 20:6; 1By 11:20
2 Sam. 2:182Sa 3:27; 23:24; 1By 27:1, 7
2 Sam. 2:232Sa 3:27
2 Sam. 2:29Ma 1:7; Yos 12:2, 3
2 Sam. 2:29Yos 21:8, 38; 2Sa 2:8
2 Sam. 2:322Sa 2:18; 1By 2:15, 16
2 Sam. 2:32Lub 35:19; Lus 4:11; 1Sa 16:1
2 Sam. 2:322Sa 2:1, 3; 1By 11:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 2:1-32

2 Samwiri

2 Oluvannyuma lw’ekiseera, Dawudi yeebuuza ku Yakuwa,+ ng’agamba nti: “Ŋŋende mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Yakuwa n’amuddamu nti: “Genda.” Dawudi era n’amubuuza nti: “Ŋŋende wa?” N’amuddamu nti: “Genda e Kebbulooni.”+ 2 Bw’atyo Dawudi n’agenda e Kebbulooni ne bakazi be ababiri, Akinowamu+ ow’e Yezuleeri ne Abbigayiri+ nnamwandu wa Nabbali, Omukalumeeri. 3 Dawudi yatwala n’abasajja abaali naye,+ buli omu ng’ali n’ab’omu maka ge, ne batandika okubeera mu bibuga ebyetoolodde Kebbulooni. 4 Awo abasajja ba Yuda ne bagenda e Kebbulooni ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka w’ennyumba ya Yuda.+

Ne bagamba Dawudi nti: “Abantu b’e Yabesi-gireyaadi be baaziika Sawulo.” 5 Dawudi kwe kutuma ababaka eri abantu b’e Yabesi-gireyaadi babagambe nti: “Yakuwa abawe omukisa olw’okulaga mukama wammwe Sawulo okwagala okutajjulukuka, ne mumuziika.+ 6 Yakuwa k’abalage okwagala okutajjulukuka era n’obwesigwa, era nange nja kubalaga ekisa olw’okuba mwakola ekintu kino.+ 7 Kale emikono gyammwe ka gibe gya maanyi era mubeere basajja bazira kubanga mukama wammwe Sawulo afudde, era ab’ennyumba ya Yuda nze gwe bafuseeko amafuta okuba kabaka waabwe.”

8 Naye Abuneeri+ mutabani wa Neeri, eyali omukulu w’eggye lya Sawulo, yali asomosezza Isu-bosesi+ mutabani wa Sawulo omugga ng’amututte e Makanayimu,+ 9 ng’amufudde kabaka okufuga Gireyaadi,+ Abasuli, Yezuleeri,+ Efulayimu,+ Benyamini, ne Isirayiri yonna. 10 Isu-bosesi mutabani wa Sawulo yalina emyaka 40 we yafuukira kabaka wa Isirayiri, era yafugira emyaka ebiri. Naye bo ab’ennyumba ya Yuda baali bawagira Dawudi.+ 11 Ebbanga Dawudi lye yamala* ng’afuga nga kabaka w’ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni lyali emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.+

12 Nga wayiseewo ekiseera, Abuneeri mutabani wa Neeri n’abaweereza ba Isu-bosesi mutabani wa Sawulo baava e Makanayimu+ ne bagenda e Gibiyoni.+ 13 Yowaabu+ mutabani wa Zeruyiya+ n’abaweereza ba Dawudi nabo ne bagenda ne babasisinkana ku kidiba kya Gibiyoni; ekibinja ekimu kyatuula ku ludda olumu olw’ekidiba, ate ekibinja ekirala ne kituula ku ludda olulala. 14 Abuneeri n’agamba Yowaabu nti: “Abavubuka ka bayimuke balwanire* mu maaso gaffe.” Yowaabu n’agamba nti: “Kale, ka bayimuke.” 15 Awo ne bayimuka ne balonda Ababenyamini 12 okuva mu kibinja kya Isu-bosesi mutabani wa Sawulo, n’abasajja 12 okuva mu baweereza ba Dawudi, okulwana. 16 Buli omu n’akwata omutwe gwa munne ow’oku ludda olulala, era buli omu n’afumita munne ekitala mu mbiriizi, ne bagwira kumu. Ekifo ekyo ekiri mu Gibiyoni kyekyava kiyitibwa Kerukasu-kazzulimu.

17 Okulwana okwo kwavaamu olutalo olw’amaanyi ennyo ku lunaku olwo, era Abuneeri n’abasajja ba Isirayiri ne bawangulwa abaweereza ba Dawudi. 18 Ne batabani ba Zeruyiya+ abasatu, Yowaabu,+ Abisaayi,+ ne Asakeri,+ baaliyo; Asakeri yali awenyuka ng’enjaza bw’ewenyuka ku ttale. 19 Awo Asakeri n’agoba Abuneeri, era teyakyama ku mukono ogwa ddyo wadde ogwa kkono ng’agoba Abuneeri. 20 Abuneeri bwe yakyuka n’atunula emabega, n’amubuuza nti, “Ggwe wuuyo, Asakeri?” n’amuddamu nti, “Nze nzuuno.” 21 Abuneeri n’amugamba nti: “Kyama ku ddyo oba ku kkono okwate omu ku bavubuka, otwale kyonna ky’onooba omuggyeeko.” Kyokka Asakeri teyalekera awo kumugoba. 22 Abuneeri n’addamu n’amugamba nti: “Lekera awo okungoba. Nja kukutta. Nnaatunula ntya ku muganda wo Yowaabu?” 23 Naye Asakeri n’agaana okulekera awo okumugoba; bw’atyo Abuneeri n’amufumita omuwunda gw’effumu mu lubuto,+ effumu ne liggukira mu mugongo, n’agwa n’afiirawo. Buli muntu eyatuukanga mu kifo Asakeri we yafiira ng’ayimirira awo.

24 Awo Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri. Enjuba bwe yali egwa, ne batuuka ku Kasozi Amma, akali mu maaso ga Giya, ku kkubo erigenda mu ddungu ly’e Gibiyoni. 25 Abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira awaali Abuneeri, ne babeera ekibinja kimu, ne bayimirira waggulu ku lusozi olumu. 26 Awo Abuneeri n’akoowoola Yowaabu n’amugamba nti: “Munaatuusa wa okulwanagana n’ebitala? Tomanyi nga kino kijja kuvaamu bizibu byereere? Onoogamba ddi abantu okulekera awo okuwondera baganda baabwe?” 27 Yowaabu n’agamba nti: “Nga Katonda ow’amazima bw’ali omulamu, singa toyogedde, abantu bandiwondedde baganda baabwe okutuusa ku makya.” 28 Awo Yowaabu n’afuuwa eŋŋombe, abasajja be ne balekera awo okuwondera Abayisirayiri, era okulwana ne kukoma.

29 Abuneeri n’abasajja be ne batambula nga bayita mu Alaba+ ekiro kyonna, ne basomoka Yoludaani, ne bayita mu kiwonvu kyonna* ne batuuka e Makanayimu.+ 30 Yowaabu bwe yalekera awo okuwondera Abuneeri, n’akuŋŋaanya abantu bonna. Ku baweereza ba Dawudi kwali kubulako abasajja 19, nga tobaliddeeko Asakeri. 31 Naye Ababenyamini n’abasajja ba Abuneeri baawangulwa abaweereza ba Dawudi, era abasajja baabwe 360 be baafa. 32 Baatwala Asakeri+ ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe eyali mu Besirekemu,+ oluvannyuma Yowaabu n’abasajja be ne batambula ekiro kyonna, ne batuuka e Kebbulooni+ ng’obudde bukya.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share