LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Kusaayi alemesa amagezi ga Akisoferi (1-14)

      • Dawudi alabulwa; adduka Abusaalomu (15-29)

        • Baluzirayi n’abalala baleeta eby’okulya n’ebintu ebirala (27-29)

2 Samwiri 17:2

Footnotes

  • *

    Oba, “ng’emikono gye ginafuye.”

Marginal References

  • +2Sa 16:14
  • +Zb 37:12; 41:9; 55:12, 13

2 Samwiri 17:5

Marginal References

  • +2Sa 15:32; 16:16

2 Samwiri 17:7

Marginal References

  • +2Sa 15:34

2 Samwiri 17:8

Marginal References

  • +1Sa 16:18; 2Sa 15:18; 23:8, 18; 1By 11:26
  • +Nge 17:12
  • +1Sa 17:50; 18:7; 19:8; 2Sa 10:18

2 Samwiri 17:9

Footnotes

  • *

    Oba, “binnya; nkonko.”

Marginal References

  • +1Sa 22:1; 23:19

2 Samwiri 17:10

Marginal References

  • +Lub 49:9; 2Sa 1:23; Is 31:4
  • +1Sa 18:5

2 Samwiri 17:11

Marginal References

  • +Bal 20:1
  • +1Sk 4:20

2 Samwiri 17:14

Footnotes

  • *

    Oba, “alagidde.”

Marginal References

  • +Nge 21:1
  • +2Sa 15:31, 34; 16:23; Nge 19:21; 21:30
  • +Ma 2:30; 2By 25:20

2 Samwiri 17:15

Marginal References

  • +2Sa 8:17; 15:35

2 Samwiri 17:16

Footnotes

  • *

    Obut., “bamiribwa.”

Marginal References

  • +Zb 35:24, 25

2 Samwiri 17:17

Marginal References

  • +1Sk 1:42
  • +2Sa 15:27, 36; 18:19
  • +Yos 15:7, 12; 18:16, 20; 1Sk 1:9

Indexes

  • Research Guide

    ‘Ensi Ennungi’, lup. 20-21

2 Samwiri 17:18

Marginal References

  • +2Sa 16:5; 19:16

2 Samwiri 17:20

Marginal References

  • +Kuv 1:19; Yos 2:3-5; 1Sa 19:12, 14; 21:2

2 Samwiri 17:21

Marginal References

  • +2Sa 17:1, 2

2 Samwiri 17:23

Marginal References

  • +Yos 15:20, 51; 2Sa 15:12
  • +2Sk 20:1
  • +1Sa 31:4; 1Sk 16:18; Zb 5:10; 55:23; Mat 27:3, 5; Bik 1:18

2 Samwiri 17:24

Marginal References

  • +Lub 32:1, 2; Yos 13:24, 26

2 Samwiri 17:25

Marginal References

  • +2Sa 19:13; 20:4, 10
  • +2Sa 8:16
  • +1By 2:16, 17

2 Samwiri 17:26

Marginal References

  • +Kbl 32:1; Ma 3:15

2 Samwiri 17:27

Marginal References

  • +Ma 3:11; Yos 13:24, 25; 2Sa 12:26, 29
  • +2Sa 9:3-5
  • +2Sa 19:31, 32; 1Sk 2:7

2 Samwiri 17:29

Marginal References

  • +Nge 11:25
  • +1Sa 25:18; 2Sa 16:2

General

2 Sam. 17:22Sa 16:14
2 Sam. 17:2Zb 37:12; 41:9; 55:12, 13
2 Sam. 17:52Sa 15:32; 16:16
2 Sam. 17:72Sa 15:34
2 Sam. 17:81Sa 16:18; 2Sa 15:18; 23:8, 18; 1By 11:26
2 Sam. 17:8Nge 17:12
2 Sam. 17:81Sa 17:50; 18:7; 19:8; 2Sa 10:18
2 Sam. 17:91Sa 22:1; 23:19
2 Sam. 17:10Lub 49:9; 2Sa 1:23; Is 31:4
2 Sam. 17:101Sa 18:5
2 Sam. 17:11Bal 20:1
2 Sam. 17:111Sk 4:20
2 Sam. 17:14Nge 21:1
2 Sam. 17:142Sa 15:31, 34; 16:23; Nge 19:21; 21:30
2 Sam. 17:14Ma 2:30; 2By 25:20
2 Sam. 17:152Sa 8:17; 15:35
2 Sam. 17:16Zb 35:24, 25
2 Sam. 17:171Sk 1:42
2 Sam. 17:172Sa 15:27, 36; 18:19
2 Sam. 17:17Yos 15:7, 12; 18:16, 20; 1Sk 1:9
2 Sam. 17:182Sa 16:5; 19:16
2 Sam. 17:20Kuv 1:19; Yos 2:3-5; 1Sa 19:12, 14; 21:2
2 Sam. 17:212Sa 17:1, 2
2 Sam. 17:23Yos 15:20, 51; 2Sa 15:12
2 Sam. 17:232Sk 20:1
2 Sam. 17:231Sa 31:4; 1Sk 16:18; Zb 5:10; 55:23; Mat 27:3, 5; Bik 1:18
2 Sam. 17:24Lub 32:1, 2; Yos 13:24, 26
2 Sam. 17:252Sa 19:13; 20:4, 10
2 Sam. 17:252Sa 8:16
2 Sam. 17:251By 2:16, 17
2 Sam. 17:26Kbl 32:1; Ma 3:15
2 Sam. 17:27Ma 3:11; Yos 13:24, 25; 2Sa 12:26, 29
2 Sam. 17:272Sa 9:3-5
2 Sam. 17:272Sa 19:31, 32; 1Sk 2:7
2 Sam. 17:29Nge 11:25
2 Sam. 17:291Sa 25:18; 2Sa 16:2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 17:1-29

2 Samwiri

17 Awo Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti: “Ka nnonde abasajja 12,000, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino. 2 Nja kumutuukako ng’akooye era ng’aweddemu amaanyi,*+ mmukube entiisa; abantu bonna abali naye bajja kudduka, era nja kutta kabaka yekka.+ 3 Awo nja kukomyawo abantu bonna gy’oli. Okudda kw’abantu bonna kwesigamye ku ekyo ekinaatuuka ku muntu gw’onoonya. Awo abantu bonna bajja kuba mu mirembe.” 4 Ekiteeso ekyo kyali kirungi eri Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri bonna.

5 Naye Abusaalomu n’agamba nti: “Muyite ne Kusaayi+ Omwaluki, tuwulire naye ky’agamba.” 6 Awo Kusaayi n’agenda eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti: “Akisoferi agambye bw’ati ne bw’ati. Tukole nga bw’agambye? Bwe kitaba bwe kityo, ggwe tubuulire kye tuba tukola.” 7 Awo Kusaayi n’agamba Abusaalomu nti: “Amagezi Akisoferi g’akuwadde ku mulundi guno si malungi!”+

8 Kusaayi era n’agamba nti: “Omanyi bulungi nti kitaawo n’abasajja be ba maanyi,+ era nti bakambwe nnyo ng’eddubu eribuliddwako abaana baalyo ku ttale.+ Ate era kitaawo mulwanyi muzira,+ era tajja kusula na bantu. 9 Mu kiseera kino yeekwese mu emu ku mpuku* oba mu kifo ekirala;+ era bw’anaaba nga y’asoose okubalumba, abanaakiwulira bajja kugamba nti, ‘Abantu abagoberera Abusaalomu bawanguddwa!’ 10 N’omusajja omuzira alina omutima ng’ogw’empologoma,+ omutima gwe gujja kusaanuuka olw’okutya, kubanga Abayisirayiri bonna bamanyi nti kitaawo musajja wa maanyi,+ era nti n’abo abali naye basajja bazira. 11 Naye nze amagezi ge mpa ge gano: Kuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba,+ nga bangi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja,+ obakulembere mugende mulwane. 12 Tujja kumulumba yonna gy’anaaba, tumugweko ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka; ye n’abasajja abali naye tewajja kubaawo n’omu awonawo. 13 Bw’anaabaako ekibuga ky’addukiramu, Abayisirayiri bonna bajja kuleeta emiguwa mu kibuga ekyo, era tujja kukiwalula tukitwale mu kiwonvu, waleme kusigalawo wadde akayinja.”

14 Awo Abusaalomu n’abasajja ba Isirayiri bonna ne bagamba nti: “Amagezi ga Kusaayi Omwaluki gasinze aga Akisoferi!”+ Yakuwa yali amaliridde* okulemesa amagezi ga Akisoferi wadde nga gaali malungi,+ Yakuwa asobole okuleetera Abusaalomu emitawaana.+

15 Oluvannyuma Kusaayi yagamba Zadooki ne Abiyasaali+ bakabona nti: “Amagezi Akisoferi g’awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri gabadde bwe gati ne bwe gati, ate nze amagezi ge mbawadde gabadde bwe gati ne bwe gati. 16 Kale nno muweereze mangu Dawudi obubaka mumulabule nti: ‘Ekiro kino tosula ku misomoko egy’omu ddungu, naye somoka omugga, si kulwa nga kabaka n’abantu bonna abali naye basaanyizibwawo.’”*+

17 Yonasaani+ ne Akimaazi+ baali babeera bweru wa kibuga okumpi ne Eni-rogeri,+ nga tebaagala kulabibwa muntu yenna. Awo omuwala omuweereza n’agenda n’ababuulira byonna, ne bagenda ne bategeeza Kabaka Dawudi. 18 Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba n’abuulira Abusaalomu. Awo bombi ne bagenda mangu ne batuuka ku nnyumba y’omusajja omu mu Bakulimu,+ eyalina oluzzi mu luggya lwe, ne bakka omwo. 19 Oluvannyuma mukazi w’omusajja oyo n’addira olugoye n’abikka ku luzzi, n’aluyiwako lwonna emmere ey’empeke ensekule; era tewali n’omu eyakimanya. 20 Awo abaweereza ba Abusaalomu ne bajja ew’omukazi oyo ne bamubuuza nti: “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” Omukazi n’abaddamu nti: “Bayise wano ne bagenda ku mugga.”+ Abasajja ne babanoonya naye ne batabalaba, bwe batyo ne baddayo e Yerusaalemi.

21 Abasajja bwe baagenda, ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza Kabaka Dawudi. Baamugamba nti: “Muyimuke musomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi agambye bw’ati ne bw’ati.”+ 22 Amangu ago Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bayimuka ne basomoka Omugga Yoludaani. Obudde we bwakeerera, bonna baali bamaze okusomoka Omugga Yoludaani.

23 Akisoferi bwe yalaba ng’amagezi ge tebagagoberedde, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda mu nnyumba ye mu kibuga ky’ewaabwe.+ Bwe yamala okubaako ebiragiro by’awa ab’omu nnyumba ye,+ ne yeetuga.+ Bw’atyo n’afa, era ne bamuziika mu kifo gye baaziika bajjajjaabe.

24 Awo Dawudi n’agenda e Makanayimu,+ era Abusaalomu n’asomoka Yoludaani ng’ali n’abasajja ba Isirayiri bonna. 25 Abusaalomu yafuula Amasa+ omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu;+ Amasa yali mutabani w’omusajja Omuyisirayiri eyali ayitibwa Isira, eyeegatta ne Abbigayiri+ muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya, nnyina wa Yowaabu. 26 Abayisirayiri ne Abusaalomu baasiisira mu kitundu ky’e Gireyaadi.+

27 Dawudi olwatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow’e Labba+ eky’Abaamoni, ne Makiri+ mutabani wa Ammiyeri ow’e Lo-debali, ne Baluzirayi+ Omugireyaadi ow’e Logerimu, 28 ne baleeta ebitanda, bbenseni, ebibya eby’ebbumba, eŋŋaano, ssayiri, obuwunga, emmere ey’empeke ensiike, ebijanjaalo, empindi, empokya ensiike, 29 omubisi gw’enjuki, omuzigo, endiga, n’amata g’ente aga bbongo. Ebyo byonna baabireetera Dawudi n’abantu abaali naye babirye,+ kubanga baagamba nti: “Abantu balumwa enjala n’ennyonta, era bakooyedde mu ddungu.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share