1 Abassessalonika
3 N’olwekyo, bwe twali nga tetukyasobola kukigumiikiriza twasalawo okusigala ffekka mu Asene;+ 2 era twatuma Timoseewo+ muganda waffe era omuweereza wa Katonda* alangirira amawulire amalungi agakwata ku Kristo, abanyweze* era ababudeebude, okukkiriza kwammwe kusobole okweyongera okunywera, 3 waleme kubaawo n’omu ayuuzibwayuuzibwa olw’okubonaabona kuno. Kubanga mukimanyi nti ebintu bino birina okututuukako.+ 4 Mu butuufu, bwe twali nammwe twababuulirirawo nti tulina okubonaabona, era ekyo kyennyini kye kibaddewo, nga bwe mukimanyi.+ 5 Eyo ye nsonga lwaki bwe nnali sikyasobola kukigumiikiriza, nnamutuma nsobole okumanya ebikwata ku bwesigwa bwammwe,+ si kulwa nga mu ngeri emu oba endala Omukemi+ yabakema, okufuba kwaffe ne kuba kwa bwereere.
6 Naye Timoseewo yaakakomawo gye tuli ng’ava eyo+ era atubuulidde amawulire amalungi agakwata ku bwesigwa bwammwe n’okwagala kwammwe, era nti bulijjo mutujjukira era nti mwagala nnyo okutulaba nga naffe bwe twagala okubalaba. 7 Ab’oluganda, wadde nga twolekagana n’ebizibu* era nga tubonaabona, tubudaabudiddwa olw’obwesigwa bwe mulaga.+ 8 Kubanga tuddamu amaanyi* bwe munywerera ku Mukama waffe. 9 Katonda tunaamuwa ki okumwebaza olw’essanyu lye tulina mu maaso ge ku lwammwe? 10 Ekiro n’emisana tumwegayirira nnyo tusobole okuddamu okubalaba n’okujjuuliriza ekyo ekibula ku kukkiriza kwammwe.+
11 Kaakano Katonda waffe era Kitaffe ne Mukama waffe Yesu ka batuteerewo ekkubo tusobole okujja gye muli. 12 Ate era, Mukama waffe abasobozese okwongera ku kwagala buli omu kw’alina eri munne+ era n’eri abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, era okwagala okwo kubeere kungi nnyo, 13 alyoke anyweze emitima gyammwe, abafuule abataliiko kya kunenyezebwa era abatukuvu mu maaso ga Katonda waffe+ era Kitaffe mu kiseera ky’okubeerawo kwa Mukama waffe Yesu+ ng’ali n’abatukuvu be bonna.