LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 31
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obuyambi obwa nnamaddala buva eri Katonda (1-9)

        • Embalaasi za Misiri mibiri bubiri (3)

Isaaya 31:1

Footnotes

  • *

    Oba, “abeebagala embalaasi.”

Marginal References

  • +Is 30:2
  • +Ma 17:15, 16

Isaaya 31:2

Marginal References

  • +Ezk 29:6, 7

Isaaya 31:3

Marginal References

  • +Zb 33:17; Nge 21:31

Isaaya 31:5

Marginal References

  • +Ma 32:11, 12; Zb 91:4

Isaaya 31:6

Marginal References

  • +Is 55:7; Yow. 2:12

Isaaya 31:8

Marginal References

  • +2Sk 19:35; 2By 32:21; Is 37:36

Isaaya 31:9

Footnotes

  • *

    Oba, “muliro oguli.”

General

Is. 31:1Is 30:2
Is. 31:1Ma 17:15, 16
Is. 31:2Ezk 29:6, 7
Is. 31:3Zb 33:17; Nge 21:31
Is. 31:5Ma 32:11, 12; Zb 91:4
Is. 31:6Is 55:7; Yow. 2:12
Is. 31:82Sk 19:35; 2By 32:21; Is 37:36
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 31:1-9

Isaaya

31 Zibasanze abo abagenda e Misiri okufunayo obuyambi,+

Abo abeesiga embalaasi,+

Abeesiga amagaali g’olutalo olw’okuba mangi,

Era abeesiga embalaasi z’olutalo* olw’okuba za maanyi.

Naye tebeesiga Mutukuvu wa Isirayiri,

Era tebanoonya Yakuwa.

 2 Kyokka naye mugezi era alireeta akabi,

Era talikyusa mu bigambo bye.

Alibonereza ennyumba y’abakozi b’ebibi

Awamu n’abo abayamba abakozi b’ebibi.+

 3 Abamisiri nabo bantu buntu, si Katonda;

Embalaasi zaabwe mibiri bubiri so si myoyo.+

Yakuwa bw’aligolola omukono gwe,

Buli aliba ayamba alyesittala,

Na buli aliba ayambibwa aligwa;

Bonna balisaanawo lumu.

 4 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’aŋŋambye:

“Ng’empologoma bw’efugula, ng’empologoma envubuka ey’amaanyi bw’efugula ng’erina omuyiggo,

Ng’ekibinja ky’abasumba kiyitiddwa okugirumba,

N’etatya maloboozi gaabwe

Wadde okwekanga olw’oluyoogaano lwabwe,

Ne Yakuwa ow’eggye bw’atyo bw’aliba ng’akka okulwanirira

Olusozi Sayuuni n’entikko yaalwo.

 5 Ng’ekinyonyi bwe kikka embiro okulwanirira abaana baakyo, ne Yakuwa ow’eggye bw’atyo bw’alirwanirira Yerusaalemi.+

Alikirwanirira era alikiwonya.

Alikitaasa era alikinunula.”

6 “Mudde eri Oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abantu ba Isirayiri.+ 7 Ku lunaku olwo buli muntu alireka bakatonda be aba ffeeza abatalina mugaso ne bakatonda be aba zzaabu abatalina mugaso, be mwakola n’emikono gyammwe ne mwonoona.

 8 Omwasuli alittibwa na kitala, naye si eky’abantu;

Ekitala ekitali kya bantu kirimusaanyaawo.+

Alidduka olw’ekitala,

Era abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’obuddu.

 9 Olwazi lwe lulivaawo olw’okutya,

N’abaami be balitya nnyo olw’ekikondo,” Yakuwa bw’agamba,

Nnannyini kitangaala ekiri* mu Sayuuni, n’ekyokero ekiri mu Yerusaalemi.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share