LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Ekyamateeka 5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Endagaano ya Yakuwa ku Kolebu (1-5)

      • Ebiragiro Ekkumi biddamu okumenyebwa (6-22)

      • Abantu batya nga bali wansi ku Lusozi Sinaayi (23-33)

Ekyamateeka 5:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 19:5; Beb 9:19, 20

Ekyamateeka 5:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 19:9, 18; Bik 7:38

Ekyamateeka 5:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 20:19; Bag 3:19
  • +Kuv 19:16

Ekyamateeka 5:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 13:3; 20:2

Ekyamateeka 5:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 20:3-6; 2Sk 17:35

Ekyamateeka 5:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 26:1; Ma 4:15, 16, 23; 27:15; Bik 17:29

Ekyamateeka 5:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 23:24; 1Ko 10:14
  • +Kuv 34:14; Ma 4:24; Is 42:8; Mat 4:10
  • +Kuv 34:6, 7

Ekyamateeka 5:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 22:28; Lev 19:12
  • +Kuv 20:7; Lev 24:16

Ekyamateeka 5:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 16:23; 20:8-10; 31:13

Ekyamateeka 5:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 34:21

Ekyamateeka 5:14

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “miryango.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 16:29
  • +Nek 13:15
  • +Kuv 23:12
  • +Ma 10:17; Bef 6:9

Ekyamateeka 5:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 6:6; Ma 4:34

Ekyamateeka 5:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 21:15; Lev 19:3; Ma 27:16; Nge 1:8; Mak 7:10
  • +Kuv 20:12; Bef 6:2, 3

Ekyamateeka 5:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 9:6; Kuv 20:13; Kbl 35:20, 21; Mat 5:21; Bar 13:9

Ekyamateeka 5:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 20:14; 1Ko 6:18; Beb 13:4

Ekyamateeka 5:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 20:15; Lev 19:11; Nge 30:8, 9; 1Ko 6:10; Bef 4:28

Ekyamateeka 5:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 20:16; 23:1; Lev 19:16; Ma 19:16-19; Nge 6:16, 19; 19:5

Ekyamateeka 5:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 5:28
  • +Kuv 20:17; Luk 12:15; Bar 7:7

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    2/2019, lup. 21-22

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2012, lup. 7

Ekyamateeka 5:22

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “Ebigambo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 19:9, 18
  • +Kuv 24:12; 31:18; Ma 4:12, 13

Ekyamateeka 5:23

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 20:18; Beb 12:18, 19

Ekyamateeka 5:24

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 24:17
  • +Ma 4:33, 36

Ekyamateeka 5:27

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 20:19; Beb 12:18, 19

Ekyamateeka 5:28

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 18:16, 17

Ekyamateeka 5:29

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 10:12; Yob 28:28; Nge 1:7; Mat 10:28; 1Pe 2:17
  • +Nge 4:4; 7:2; Mub 12:13; Is 48:18; 1Yo 5:3
  • +Zb 19:8, 11; Yak 1:25

Ekyamateeka 5:32

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 6:3, 25; 8:1
  • +Ma 12:32; Yos 1:7, 8

Ekyamateeka 5:33

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 10:12
  • +Ma 4:40; 12:28; Bar 10:5

Ebirala

Ma. 5:2Kuv 19:5; Beb 9:19, 20
Ma. 5:4Kuv 19:9, 18; Bik 7:38
Ma. 5:5Kuv 20:19; Bag 3:19
Ma. 5:5Kuv 19:16
Ma. 5:6Kuv 13:3; 20:2
Ma. 5:7Kuv 20:3-6; 2Sk 17:35
Ma. 5:8Lev 26:1; Ma 4:15, 16, 23; 27:15; Bik 17:29
Ma. 5:9Kuv 23:24; 1Ko 10:14
Ma. 5:9Kuv 34:14; Ma 4:24; Is 42:8; Mat 4:10
Ma. 5:9Kuv 34:6, 7
Ma. 5:11Kuv 22:28; Lev 19:12
Ma. 5:11Kuv 20:7; Lev 24:16
Ma. 5:12Kuv 16:23; 20:8-10; 31:13
Ma. 5:13Kuv 34:21
Ma. 5:14Kuv 16:29
Ma. 5:14Nek 13:15
Ma. 5:14Kuv 23:12
Ma. 5:14Ma 10:17; Bef 6:9
Ma. 5:15Kuv 6:6; Ma 4:34
Ma. 5:16Kuv 21:15; Lev 19:3; Ma 27:16; Nge 1:8; Mak 7:10
Ma. 5:16Kuv 20:12; Bef 6:2, 3
Ma. 5:17Lub 9:6; Kuv 20:13; Kbl 35:20, 21; Mat 5:21; Bar 13:9
Ma. 5:18Kuv 20:14; 1Ko 6:18; Beb 13:4
Ma. 5:19Kuv 20:15; Lev 19:11; Nge 30:8, 9; 1Ko 6:10; Bef 4:28
Ma. 5:20Kuv 20:16; 23:1; Lev 19:16; Ma 19:16-19; Nge 6:16, 19; 19:5
Ma. 5:21Mat 5:28
Ma. 5:21Kuv 20:17; Luk 12:15; Bar 7:7
Ma. 5:22Kuv 19:9, 18
Ma. 5:22Kuv 24:12; 31:18; Ma 4:12, 13
Ma. 5:23Kuv 20:18; Beb 12:18, 19
Ma. 5:24Kuv 24:17
Ma. 5:24Ma 4:33, 36
Ma. 5:27Kuv 20:19; Beb 12:18, 19
Ma. 5:28Ma 18:16, 17
Ma. 5:29Ma 10:12; Yob 28:28; Nge 1:7; Mat 10:28; 1Pe 2:17
Ma. 5:29Nge 4:4; 7:2; Mub 12:13; Is 48:18; 1Yo 5:3
Ma. 5:29Zb 19:8, 11; Yak 1:25
Ma. 5:32Ma 6:3, 25; 8:1
Ma. 5:32Ma 12:32; Yos 1:7, 8
Ma. 5:33Ma 10:12
Ma. 5:33Ma 4:40; 12:28; Bar 10:5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 5:1-33

Ekyamateeka

5 Awo Musa n’ayita Isirayiri yonna n’abagamba nti: “Wulira ggwe Isirayiri ebiragiro n’amateeka bye mbabuulira leero; mubiyige era mufube okubikwata. 2 Yakuwa Katonda waffe yakola naffe endagaano mu Kolebu.+ 3 Endagaano eyo Yakuwa teyagikola na bajjajjaffe, wabula yagikola naffe ffenna abaliwo leero. 4 Yakuwa yayogera nammwe maaso ku maaso ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro.+ 5 Mu kiseera ekyo nnayimirira wakati wa Yakuwa+ nammwe okubabuulira ekigambo kya Yakuwa, kubanga mwali mutidde olw’omuliro era temwayambuka ku lusozi.+ Yagamba nti,

6 “‘Nze Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu.+ 7 Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze.+

8 “‘Teweekoleranga kifaananyi ekyole+ oba ekintu kyonna ekyefaanaanyiriza ekintu ekiri waggulu ku ggulu oba ekiri wansi ku nsi oba ekiri mu mazzi agali ku nsi. 9 Tobivunnamiranga era tobiweerezanga+ kubanga nze Yakuwa Katonda wo ndi Katonda ayagala abantu okunneemalirako,+ abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe abankyawa,+ 10 naye alaga okwagala okutajjulukuka okutuukira ddala ku mulembe ogw’olukumi ogw’abo abanjagala era abakwata ebiragiro byange.

11 “‘Tokozesanga linnya lya Yakuwa Katonda wo mu ngeri etasaana,+ kubanga Yakuwa talirema kubonereza oyo yenna akozesa erinnya lye mu ngeri etasaana.+

12 “‘Okwatanga olunaku lwa Ssabbiiti era olutwalanga nga lutukuvu, nga Yakuwa Katonda wo bwe yakulagira.+ 13 Emirimu gyo gyonna ojja kugikoleranga mu nnaku mukaaga.+ 14 Naye olunaku olw’omusanvu ssabbiiti eri Yakuwa Katonda wo.+ Tokolanga mulimu gwonna,+ ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuddu wo omusajja, wadde omuddu wo omukazi, wadde ente yo, wadde endogoyi yo, wadde ensolo yo yonna, wadde omugwira ali mu bibuga* byo;+ omuddu wo omusajja n’omuddu wo omukazi nabo basobole okuwummula nga ggwe.+ 15 Jjukira nti wali muddu mu nsi ya Misiri Yakuwa Katonda wo n’akuggyayo n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa.+ Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa Katonda wo yakulagira okukwatanga olunaku lwa Ssabbiiti.

16 “‘Kitaawo ne nnyoko+ obassangamu ekitiibwa nga Yakuwa Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale era obeere bulungi mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’agenda okukuwa.+

17 “‘Tottanga.+

18 “‘Toyendanga.+

19 “‘Tobbanga.+

20 “‘Towanga bujulizi bwa bulimba ku munno.+

21 “‘Teweegombanga mukazi wa munno.+ Teweegombanga nnyumba ya munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we omusajja, newakubadde omuddu we omukazi, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna eky’omuntu omulala.’+

22 “Ebiragiro* bino Yakuwa yabyogera mu ddoboozi ery’omwanguka eri ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro n’ekire ekikutte,+ era teyayongerako kintu kyonna; oluvannyuma yabiwandiika ku bipande by’amayinja bibiri n’abimpa.+

23 “Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ng’olusozi lwakako omuliro,+ abakulu b’ebika byammwe bonna n’abakadde ne bajja gye ndi. 24 Era mwaŋŋamba nti, ‘Laba, Yakuwa Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obuyinza bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva wakati mu muliro.+ Olwa leero tulabye nti Katonda asobola okwogera n’omuntu, omuntu n’asigala nga mulamu.+ 25 Kale kaakano lwaki tufa? Omuliro guno ogw’amaanyi guyinza okutusaanyaawo. Bwe tuneeyongera okuwulira eddoboozi lya Yakuwa Katonda waffe, tujja kufa. 26 Kubanga ani mu bantu bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogerera wakati mu muliro nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala nga mulamu? 27 Ggwe oba osembera owulire byonna Yakuwa Katonda waffe by’anaagamba; ggwe ojja okutubuulira byonna Yakuwa Katonda waffe by’anaakugamba era naffe tujja kubiwulira era tubikolereko.’+

28 “Yakuwa yawulira ebigambo bye mwaŋŋamba, era Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye bagambye birungi.+ 29 Singa banaabanga n’omutima oguntya+ era ogukwata ebiragiro byange byonna,+ bo n’abaana baabwe bajja kubeera bulungi emirembe n’emirembe.+ 30 Genda obagambe nti: “Muddeeyo mu weema zammwe.” 31 Naye ggwe sigala wano nange nkubuulire ebiragiro byonna n’amateeka by’olina okubayigiriza era bye balina okukwata nga bali mu nsi gye mbawa.’ 32 Mufeeyo nnyo okukola byonna Yakuwa Katonda wammwe by’abalagidde.+ Temukyukanga kudda ku ddyo oba ku kkono.+ 33 Mutambulirenga mu makubo gonna Yakuwa Katonda wammwe g’abalagidde+ mulyoke mube abalamu era mubeere bulungi era muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mugenda okutwala.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza