Ebikolwa
23 Pawulo ne yeekaliriza ab’Olukiiko Olukulu n’agamba nti: “Ab’oluganda, mbadde n’omuntu ow’omunda omulungi+ mu maaso ga Katonda okutuusa leero.” 2 Awo Ananiya kabona asinga obukulu n’alagira abo abaamuli okumpi bamukube ku mumwa. 3 Pawulo n’amugamba nti: “Katonda agenda kukubonereza ggwe ekisenge ekyasiigibwa langi enjeru. Otuula okunsalira omusango ng’osinziira ku Mateeka ate n’omenya Amateeka ng’olagira bankube?” 4 Abo abaali bayimiridde okumpi naye ne bamugamba nti: “Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda?” 5 Pawulo n’agamba nti: “Ab’oluganda, mbadde simanyi nti ye kabona asinga obukulu. Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Toyogeranga bubi ku mufuzi w’abantu bo.’”+
6 Olw’okuba Pawulo yali amanyi nti abamu ku baali mu Lukiiko Olukulu Basaddukaayo ate ng’abalala Bafalisaayo, n’ayogerera waggulu nti: “Ab’oluganda, ndi Mufalisaayo,+ omwana w’Abafalisaayo. Mpozesebwa olw’essuubi ery’okuzuukira kw’abafu.” 7 Bwe yayogera ekyo ne wajjawo enkaayana wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, olukiiko ne lweyawulamu. 8 Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti teri kuzuukira, teri bamalayika, wadde ebitonde eby’omwoyo, naye Abafalisaayo babikkiriza byonna.+ 9 Awo ne wabaawo oluyogaano olw’amaanyi, era abamu ku bawandiisi ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo ne bayimuka ne bawakana nnyo nga bagamba nti: “Tewali kikyamu kyonna kye tuzudde ku musajja ono, naye bwe kiba nti ekitonde eky’omwoyo, oba malayika yayogera naye+—.” 10 Enkaayana bwe zeeyongera, omuduumizi w’amagye n’atya nti Pawulo bayinza okumuyuzaayuza, n’alagira abasirikale bagende bamuggye wakati waabwe bamutwale mu nkambi y’abasirikale.
11 Naye mu kiro ekyo, Mukama waffe n’ayimirira we yali n’amugamba nti: “Beera mugumu!+ Nga bw’obadde ompaako obujulirwa mu Yerusaalemi, bw’otyo bw’oteekwa okumpaako obujulirwa mu Rooma.”+
12 Obudde bwe bwakya, Abayudaaya ne bakola olukwe, ne beerayirira nga bagamba nti bakolimirwe singa balya oba banywa nga tebannatta Pawulo. 13 Abasajja abaakola olukwe ne beerayirira baali basukka mu 40. 14 Abasajja abo baagenda eri bakabona abakulu n’abakadde ne babagamba nti: “Twerayiridde nti tukolimirwe singa tulya ekintu kyonna nga tetunnaba kutta Pawulo. 15 N’olwekyo, mmwe awamu n’Olukiiko Olukulu mugambe omuduumizi w’amagye amubaleetere nga mwefudde ng’abaagala okweyongera okwetegereza omusango gwe. Naye nga tannatuuka wano, ffe tujja kuba twetegese okumutta.”
16 Naye mutabani wa mwannyina wa Pawulo n’ategeera olukwe lwabwe, n’agenda n’ayingira mu nkambi y’abasirikale n’ategeeza Pawulo. 17 Pawulo n’ayita omu ku bakulu b’abasirikale n’amugamba nti: “Twala omuvubuka ono eri omuduumizi w’amagye kubanga alina ky’ayagala okumugamba.” 18 Omusajja oyo n’amutwala eri omuduumizi w’amagye n’amugamba nti: “Omusibe Pawulo ampise n’ansaba ndeete omuvubuka ono gy’oli kubanga alina ky’ayagala okukugamba.” 19 Omuduumizi w’amagye n’amukwata ku mukono n’amuzza ku bbali n’amubuuza nti: “Kiki ky’oyagala okuŋŋamba?” 20 N’amugamba nti: “Abayudaaya bateesezza okukusaba otwale Pawulo mu Lukiiko Olukulu enkya nga beefudde ng’abaagala okweyongera okwetegereza omusango gwe.+ 21 Naye tokkiriza kye bakugamba, kubanga waliwo abasajja abasukka mu 40 abamuteeze, era baalayidde nti bakolimirwe singa balya oba banywa nga tebannaba kumutta;+ kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe obasuubize.” 22 Omuduumizi w’amagye n’asiibula omuvubuka oluvannyuma lw’okumulagira nti: “Tobaako gw’obuulira nti oŋŋambye ebintu bino.”
23 Awo n’ayita abakulu b’abasirikale babiri n’abagamba nti: “Mufune abasirikale 200, n’ab’embalaasi 70, n’ab’amafumu 200 abanaagenda e Kayisaliya ku ssaawa ssatu ez’ekiro. 24 Ate era mufune embalaasi Pawulo kw’anaagendera, atuuke mirembe eri gavana Ferikisi.” 25 Awo n’awandiika ebbaluwa ng’egamba nti:
26 “Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa ggwe ow’Ekitiibwa Gavana Ferikisi! 27 Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, era baali banaatera okumutta. Naye bwe nnamanya nti Muruumi+ ne ŋŋenda mangu n’abasirikale ne mmuwonya.+ 28 Olw’okuba nnali njagala okumanya kye bamuvunaana, nnamutwala mu Lukiiko lwabwe Olukulu.+ 29 Nnakizuula nti yali avunaanibwa ebikwata ku Mateeka gaabwe,+ naye nga talina kye yakola kimugwanyiza kufa wadde okusibibwa. 30 Naye olw’okuba ntegeezeddwa nti bakoze olukwe okumutta,+ mmusindise gy’oli era ndagidde abamuvunaana bajje bamuvunaanire mu maaso go.”
31 Awo abasirikale abo ne bakola nga bwe baalagirwa ne batwala Pawulo+ ekiro mu Antipatuli. 32 Olunaku olwaddako, ne baleka ab’embalaasi okugenda naye, bo ne baddayo mu nkambi y’abasirikale. 33 Ab’embalaasi ne bayingira mu Kayisaliya ne bawa gavana ebbaluwa era ne bamukwasa Pawulo. 34 N’agisoma, n’amubuuza essaza mwe yali ava, era n’akitegeera nti yali ava mu Kirikiya.+ 35 N’amugamba nti: “Omusango gwo nja kuguwulira ng’abakuvunaana bazze.”+ N’alagira akuumirwe mu lubiri lwa Kerode.