LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubikkulirwa 6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omwana gw’endiga abembula obubonero omukaaga obusooka (1-17)

        • Omuwanguzi ali ku mbalaasi enjeru (1, 2)

        • Eyeebagadde embalaasi emmyufu aggyawo emirembe (3, 4)

        • Eyeebagadde embalaasi enzirugavu aleeta enjala (5, 6)

        • Eyeebagadde embalaasi ensiiwuufu ayitibwa Kufa (7, 8)

        • Abattibwa abali wansi w’ekyoto (9-11)

        • Musisi ow’amaanyi (12-17)

Okubikkulirwa 6:1

Marginal References

  • +Kub 5:6
  • +Kub 5:5
  • +Kub 4:7

Okubikkulirwa 6:2

Marginal References

  • +Kub 19:11
  • +Kub 14:14
  • +Zb 45:4; 110:1, 2; Kub 12:7; 17:14

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    11/2019, lup. 6

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2017 lup. 4, 6, 8

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2014, lup. 5, 7

    2/1/2014, lup. 6

    9/15/2010, lup. 29

    4/15/2009, lup. 30

    2/1/2005, lup. 10-11

    6/1/2001, lup. 28-32

Okubikkulirwa 6:3

Marginal References

  • +Kub 4:7

Okubikkulirwa 6:4

Marginal References

  • +Mat 24:7; Luk 21:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2017 lup. 4, 6

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2014, lup. 6

    9/1/2005, lup. 29-30

    Emirembe n’Obutebenkevu, lup. 10, 11-12

Okubikkulirwa 6:5

Marginal References

  • +Kub 5:5
  • +Kub 4:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2017 lup. 4, 7

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2014, lup. 7

Okubikkulirwa 6:6

Footnotes

  • *

    Kyali kinusu ky’Abaruumi ekya ffeeza ekyali kyenkana omusaala omuntu gwe yakoleranga olunaku olulamba. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Mat 20:2
  • +Mak 13:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2017 lup. 4, 7

Okubikkulirwa 6:7

Marginal References

  • +Kub 4:7

Okubikkulirwa 6:8

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Luk 21:11
  • +Yer 15:2, 3; Ezk 14:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2017 lup. 4-8

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2014, lup. 7

    5/1/2005, lup. 22

    Emirembe n’Obutebenkevu, lup. 14-15

Okubikkulirwa 6:9

Footnotes

  • *

    Mu Luyonaani, psy·kheʹ.

Marginal References

  • +Lev 4:7; Kub 8:3
  • +Lev 17:11
  • +Mat 24:9, 14; Yok 18:37; Kub 17:6; 20:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2007, lup. 31

Okubikkulirwa 6:10

Marginal References

  • +1Yo 5:20
  • +Ma 32:43; Luk 18:7; Kub 19:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2007, lup. 31-32

Okubikkulirwa 6:11

Marginal References

  • +Kub 3:5
  • +Mat 24:9; Bik 9:1; 2Ko 1:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2007, lup. 31-32

Okubikkulirwa 6:12

Footnotes

  • *

    Biyinza okuba nga byali byoya bya mbuzi.

Marginal References

  • +Yow. 2:31; Mat 24:29

Okubikkulirwa 6:14

Marginal References

  • +Is 34:4
  • +Kub 16:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2017, lup. 11

Okubikkulirwa 6:15

Marginal References

  • +Is 2:10, 19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2015, lup. 16

Okubikkulirwa 6:16

Marginal References

  • +Kos 10:8; Luk 23:30
  • +Kub 4:2, 3
  • +Kub 5:6

Okubikkulirwa 6:17

Marginal References

  • +Zef 1:14, 18; Bar 2:5
  • +Yow. 2:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2014, lup. 31

    1/1/1989, lup. 4-5

General

Kub. 6:1Kub 5:6
Kub. 6:1Kub 5:5
Kub. 6:1Kub 4:7
Kub. 6:2Kub 19:11
Kub. 6:2Kub 14:14
Kub. 6:2Zb 45:4; 110:1, 2; Kub 12:7; 17:14
Kub. 6:3Kub 4:7
Kub. 6:4Mat 24:7; Luk 21:10
Kub. 6:5Kub 5:5
Kub. 6:5Kub 4:7
Kub. 6:6Mat 20:2
Kub. 6:6Mak 13:8
Kub. 6:7Kub 4:7
Kub. 6:8Luk 21:11
Kub. 6:8Yer 15:2, 3; Ezk 14:21
Kub. 6:9Lev 4:7; Kub 8:3
Kub. 6:9Lev 17:11
Kub. 6:9Mat 24:9, 14; Yok 18:37; Kub 17:6; 20:4
Kub. 6:101Yo 5:20
Kub. 6:10Ma 32:43; Luk 18:7; Kub 19:1, 2
Kub. 6:11Kub 3:5
Kub. 6:11Mat 24:9; Bik 9:1; 2Ko 1:8
Kub. 6:12Yow. 2:31; Mat 24:29
Kub. 6:14Is 34:4
Kub. 6:14Kub 16:20
Kub. 6:15Is 2:10, 19
Kub. 6:16Kos 10:8; Luk 23:30
Kub. 6:16Kub 4:2, 3
Kub. 6:16Kub 5:6
Kub. 6:17Zef 1:14, 18; Bar 2:5
Kub. 6:17Yow. 2:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubikkulirwa 6:1-17

Okubikkulirwa

6 Ne ndaba Omwana gw’Endiga+ ng’abembula akamu ku bubonero omusanvu,+ era ne mpulira ekimu ku biramu ebina+ nga kyogera mu ddoboozi eriringa okubwatuka kw’eggulu nga kigamba nti: “Jjangu!” 2 Ne ndaba era laba! embalaasi enjeru;+ eyali agituddeko yalina omutego gw’akasaale; n’aweebwa engule,+ n’agenda ng’awangula asobole okumaliriza okuwangula kwe.+

3 Bwe yabembula akabonero ak’okubiri, ne mpulira ekiramu eky’okubiri+ nga kigamba nti: “Jjangu!” 4 Ne wavaayo embalaasi endala emmyufu; era oyo eyali agituddeko n’aweebwa obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi abantu battiŋŋane; era yaweebwa n’ekitala ekinene.+

5 Bwe yabembula akabonero ak’okusatu+ ne mpulira ekiramu eky’okusatu+ nga kigamba nti: “Jjangu!” Ne ndaba era laba! embalaasi enzirugavu; era oyo eyali agituddeko yalina minzaani mu mukono gwe. 6 Ne mpulira eddoboozi nga liringa eryogerera wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti: “Kilo emu ey’eŋŋaano ya ddinaali* emu,+ ne kilo ssatu eza ssayiri za ddinaali emu; amafuta g’ezzeyituuni n’omwenge tobyonoona.”+

7 Bwe yabembula akabonero ak’okuna ne mpulira eddoboozi ly’ekiramu eky’okuna+ nga ligamba nti: “Jjangu!” 8 Ne ndaba era laba! embalaasi ensiiwuufu; oyo eyali agituddeko yali ayitibwa Kufa. Era amagombe* gaali gamuvaako emabega. Ne biweebwa obuyinza ku kitundu eky’okuna eky’ensi, okutta n’ekitala ekiwanvu, n’enjala,+ n’endwadde ez’amaanyi, era n’ensolo ez’omu nsiko.+

9 Bwe yabembula akabonero ak’okutaano, ne ndaba wansi w’ekyoto+ omusaayi*+ gw’abo abattibwa olw’ekigambo kya Katonda n’olw’obujulirwa bwe baawa.+ 10 Ne boogera n’eddoboozi eddene nti: “Mukama Afuga Byonna omutukuvu era ow’amazima,+ olisalira ddi omusango era n’owoolera eggwanga abo abali ku nsi abaatutta?”+ 11 Buli omu n’aweebwa ekyambalo ekyeru;+ ne bagambibwa okulindirira okumala akaseera katono, okutuusa omuwendo omujjuvu lwe guliwera ogw’abaddu bannaabwe era baganda baabwe abaali banaatera okuttibwa nga nabo bwe battibwa.+

12 Akabonero ak’omukaaga bwe kaabembulwa, ne ndaba era laba! waaliwo musisi ow’amaanyi; era enjuba yafuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekiddugavu ekyakolebwa mu byoya by’ensolo,* omwezi gwonna ne guba ng’omusaayi,+ 13 era emmunyeenye ez’oku ggulu ne zigwa ku nsi ng’ebibala by’omutiini ebitannayengera bwe bikunkumuka nga kibuyaga ow’amaanyi agunyeenyezza. 14 Eggulu ne livaawo ng’omuzingo oguzingibwako,+ era buli lusozi na buli kizinga ne biggibwa mu bifo byabyo.+ 15 Bakabaka b’ensi, abakungu, abaduumizi b’amagye, abagagga, ab’amaanyi, abaddu bonna, n’abatali baddu bonna, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi ez’oku nsozi.+ 16 Ne bagamba ensozi n’enjazi nti: “Mutugweko+ era mutukweke Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka+ aleme kutulaba, era obusungu bw’Omwana gw’Endiga+ buleme kututuukako, 17 kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse,+ ani ayinza okuwonawo?”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share