LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Agali ne Isimayiri (1-16)

Olubereberye 16:1

Marginal References

  • +Lub 15:2, 3
  • +Bag 4:25

Olubereberye 16:2

Marginal References

  • +Lub 30:1, 3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 12-13

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2004, lup. 14-15

Olubereberye 16:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 13-14

Olubereberye 16:5

Footnotes

  • *

    Obut., “Nze eyateeka mu kifuba kyo.”

Olubereberye 16:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 13-14

Olubereberye 16:7

Marginal References

  • +Lub 25:17, 18; Kuv 15:22

Olubereberye 16:10

Marginal References

  • +Lub 17:20; 25:13-16; 1By 1:29-31

Olubereberye 16:11

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Katonda awulira.”

Olubereberye 16:12

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Aliba ku mbiranye ne baganda be bonna.”

Olubereberye 16:13

Marginal References

  • +Nge 15:3

Olubereberye 16:14

Footnotes

  • *

    Litegeeza “Oluzzi lw’Oyo Omulamu Andaba.”

Olubereberye 16:15

Marginal References

  • +Lub 21:9; Bag 4:22, 24

General

Lub. 16:1Lub 15:2, 3
Lub. 16:1Bag 4:25
Lub. 16:2Lub 30:1, 3
Lub. 16:7Lub 25:17, 18; Kuv 15:22
Lub. 16:10Lub 17:20; 25:13-16; 1By 1:29-31
Lub. 16:13Nge 15:3
Lub. 16:15Lub 21:9; Bag 4:22, 24
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 16:1-16

Olubereberye

16 Salaayi mukazi wa Ibulaamu yali tamuzaalidde mwana;+ naye yalina omuweereza we Omumisiri ayitibwa Agali.+ 2 Awo Salaayi n’agamba Ibulaamu nti: “Yakuwa anziyizza okuzaala abaana. Nkusaba weegatte n’omuzaana wange, oboolyawo nnaafuna abaana okuyitira mu ye.”+ Ibulaamu n’awuliriza Salaayi kye yamugamba. 3 Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali omuweereza we Omumisiri, n’amumuwa okuba mukazi we. 4 Bw’atyo Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’afuna olubuto. Bwe yakimanya nti afunye olubuto n’atandika okunyooma mukama we.

5 Awo Salaayi n’agamba Ibulaamu nti: “Ggwe avunaanyizibwa ebibi ebinkolebwa. Nze nnakukwasa* omuweereza wange, naye bwe yakitegeera nti ali lubuto n’atandika okunnyooma. Yakuwa asalewo ani mutuufu ku nze naawe.” 6 Awo Ibulaamu n’agamba Salaayi nti: “Laba! Omuweereza wo omulinako obuyinza. Mukole ky’olaba nga kye kirungi.” Awo Salaayi n’atandika okumujolonga, n’ekyavaamu n’amuddukako.

7 Oluvannyuma, malayika wa Yakuwa n’amusanga ku luzzi mu ddungu, oluzzi oluli ku kkubo erigenda e Ssuuli.+ 8 N’amugamba nti: “Agali omuweereza wa Salaayi, ova wa era olaga wa?” N’amuddamu nti: “Nziruka mukama wange Salaayi.” 9 Malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Ddayo eri mukama wo weetoowaze mu maaso ge.” 10 Malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Nja kwaza nnyo ezzadde lyo, babeere bangi nga tebasobola kubalika.”+ 11 Malayika wa Yakuwa era n’amugamba nti: “Kaakano oli lubuto era ojja kuzaala omwana ow’obulenzi omutuume Isimayiri;* kubanga Yakuwa awulidde okubonaabona kwo. 12 Ajja kuba ng’endogoyi ey’omu nsiko. Anaalwanyisanga buli muntu era buli muntu anaamulwanyisanga. Anaabeeranga ku ludda olulala mu maaso ga baganda be bonna.”*

13 Awo n’akoowoola erinnya lya Yakuwa eyali ayogera naye, nagamba nti: “Ggwe Katonda alaba,”+ kubanga yagamba nti: “Ddala ntunudde ku oyo andaba?” 14 Eyo ye nsonga lwaki oluzzi olwo luyitibwa Beeri-lakayiroyi.* (Luli wakati wa Kadesi ne Beredi.) 15 Oluvannyuma Agali yazaalira Ibulaamu omwana ow’obulenzi, era omwana Agali gwe yazaala Ibulaamu yamutuuma Isimayiri.+ 16 Ibulaamu yali aweza emyaka 86 Agali we yazaalira Isimayiri.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share