LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abayisirayiri bajeemera Lekobowaamu (1-19)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:1

Marginal References

  • +Yos 20:7; 24:1; Bal 9:1
  • +1Sk 12:1-4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2018, lup. 13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:2

Marginal References

  • +1Sk 11:28
  • +1Sk 11:40

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:4

Footnotes

  • *

    Oba, “ekinyigiriza.”

Marginal References

  • +1Sa 8:11-18; 1Sk 4:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2018, lup. 13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:5

Marginal References

  • +1Sk 12:5-7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:8

Marginal References

  • +1Sk 12:8-11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:12

Marginal References

  • +1Sk 12:12-15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:15

Marginal References

  • +Ma 2:30; 2Sa 17:14
  • +1Sk 11:29-31

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:16

Footnotes

  • *

    Obut., “mu weema zaabwe.”

Marginal References

  • +1Sk 11:32
  • +1Sk 12:16, 17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:17

Marginal References

  • +1Sk 11:35, 36

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:18

Marginal References

  • +2Sa 20:24; 1Sk 4:6
  • +1Sk 12:18, 19

General

2 Byom. 10:1Yos 20:7; 24:1; Bal 9:1
2 Byom. 10:11Sk 12:1-4
2 Byom. 10:21Sk 11:28
2 Byom. 10:21Sk 11:40
2 Byom. 10:41Sa 8:11-18; 1Sk 4:7
2 Byom. 10:51Sk 12:5-7
2 Byom. 10:81Sk 12:8-11
2 Byom. 10:121Sk 12:12-15
2 Byom. 10:15Ma 2:30; 2Sa 17:14
2 Byom. 10:151Sk 11:29-31
2 Byom. 10:161Sk 11:32
2 Byom. 10:161Sk 12:16, 17
2 Byom. 10:171Sk 11:35, 36
2 Byom. 10:182Sa 20:24; 1Sk 4:6
2 Byom. 10:181Sk 12:18, 19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 10:1-19

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

10 Awo Lekobowaamu n’agenda e Sekemu,+ kubanga eyo Abayisirayiri bonna gye baali bagenze okumufuula kabaka.+ 2 Yerobowaamu+ mutabani wa Nebati olwakiwulira (yali akyali mu Misiri kubanga yali adduse Kabaka Sulemaani),+ n’akomawo okuva e Misiri. 3 Awo ne bamutumya, era Yerobowaamu ne Isirayiri yonna ne bajja eri Lekobowaamu ne bamugamba nti: 4 “Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito,+ naye singa ggwe otuwewulira ku mirimu gya kitaawo emizibu ne ku kikoligo ekizito* kye yatuteekako, tujja kukuweerezanga.”

5 N’abagamba nti: “Mukomeewo gye ndi oluvannyuma lw’ennaku ssatu.” Abantu ne bagenda.+ 6 Awo Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku basajja abakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani ng’akyali mulamu, n’abagamba nti: “Mumpa magezi ki? Abantu bano mbaddemu ki?” 7 Ne bamuddamu nti: “Bw’onooba ow’ekisa eri abantu abo n’obasanyusa era n’obaddamu ng’obagamba ebigambo ebirungi, banaabanga baweereza bo bulijjo.”

8 Kyokka n’aleka amagezi abasajja abakadde ge baamuwa ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye, abaali abaweereza be mu kiseera ekyo,+ 9 n’ababuuza nti: “Mumpa magezi ki? Tuddemu tutya abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Wewula ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako’?” 10 Abavubuka abaakula naye ne bamuddamu nti: “Abantu abo abaakugambye nti, ‘Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kituwewulireko,’ bagambe nti, ‘Akagalo kange aka nnasswi kajja kuba kanene okusinga ekiwato kya kitange. 11 Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako. Kitange yabakubisanga mbooko eza bulijjo naye nze nja kubakubisa embooko eziriko obufumita.’”

12 Awo Yerobowaamu n’abantu bonna ne bakomawo eri Lekobowaamu ku lunaku olw’okusatu nga kabaka bwe yali abagambye nti: “Mukomeewo gye ndi ku lunaku olw’okusatu.”+ 13 Naye kabaka n’abaddamu n’obukambwe. Bw’atyo Kabaka Lekobowaamu n’aleka amagezi agaamuweebwa abasajja abakadde, 14 n’ayogera nabo ng’akolera ku magezi agaamuweebwa abavubuka, n’agamba nti: “Ekikoligo kyammwe nja kukifuula kizito era nja kukyongerako. Kitange yabakubisanga mbooko eza bulijjo naye nze nja kubakubisa embooko eziriko obufumita.” 15 Bw’atyo kabaka n’atawuliriza bantu, kubanga Katonda ow’amazima+ ye yakireetera okuba bwe kityo, Yakuwa alyoke atuukirize ekigambo kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayitira mu Akiya+ Omusiiro.

16 Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba nga kabaka tabawulirizza, ne bamugamba nti: “Tulina mugabo ki mu Dawudi? Tetulina busika mu mutabani wa Yese. Buli muntu agende eri bakatonda be, ggwe Isirayiri! Fa ku nnyumba yo ggwe Dawudi.”+ Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe.*+

17 Naye Lekobowaamu yeeyongera okufuga Abayisirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda.+

18 Awo Kabaka Lekobowaamu n’atuma eri Abayisirayiri Kadolaamu+ eyakuliranga abaakozesebwanga emirimu egy’obuddu, naye Abayisirayiri bonna ne bamukuba amayinja n’afa. Kyokka Kabaka Lekobowaamu yasobola okulinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi.+ 19 Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share