Isaaya
58 “Yogerera waggulu; tolekera awo!
Yimusa eddoboozi lyo libeere ng’eŋŋombe.
Buulira abantu bange obujeemu bwabwe,+
Buulira ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 Bannoonya buli lunaku,
Balaga nti baagala okumanya amakubo gange,
Nga balinga eggwanga eryakolanga eby’obutuukirivu
Era eritaava ku bwenkanya bwa Katonda waabwe.+
Bansaba ensala y’emisango ey’obutuukirivu,
Kibasanyusa okusemberera Katonda.+
3 Bagamba nti, ‘Lwaki bwe tusiiba tokiraba?+
Era lwaki bwe twebonyaabonya tokiraba?’+
4 Okusiiba kwammwe kuggweera mu kuyomba na kulwana,
Era mukuba ekikonde eky’ettima.
Temuyinza kusiiba mu ngeri gye musiibamu leero ne mulowooza nti eddoboozi lyammwe liwulirwa mu ggulu.
5 Okusiiba kwe njagala kulina kuba bwe kuti?
Kulina kuba lunaku omuntu lwe yeebonyaabonya,
Lw’akoteka omutwe gwe n’aba ng’ekisaalu,
Lwe yeeyalira ebibukutu n’evvu?
Kuno kwe muyita okusiiba era luno lwe muyita olunaku olusanyusa Yakuwa?
6 Nedda. Kuno kwe kusiiba kwe njagala:
Okuggyawo empingu ez’okunyigiriza,
Okusumulula emiguwa gy’ekikoligo,+
Okuta oyo anyigirizibwa abe wa ddembe,+
N’okumenyamu buli kikoligo;
7 Okuwa abalumwa enjala ku mmere yammwe,+
Okuleeta abaavu n’abo abatalina we babeera mu nnyumba zammwe,
Okuwa eky’okwambala oyo gwe mulaba ng’ali bwereere,+
N’obutalekerera ba ŋŋanda zammwe.
8 Olwo ekitangaala kyammwe kijja kwaka ng’emmambya,+
Era mujja kuwona mangu.
Obutuukirivu bwammwe bujja kubakulemberamu,
Era ekitiibwa kya Yakuwa kijja kubavaako emabega nga kibakuuma.+
9 Olwo mujja kuyita, era Yakuwa ajja kuyitaba;
Mujja kuwanjaga era naye ajja kuddamu nti, ‘Nzuuno!’
Bwe munaggya ekikoligo mu mmwe,
Ne mulekera awo okusonga olunwe mu balala n’okwogera ebigambo ebirumya abalala,+
10 Bwe munaawa abalumwa enjala ebyo bye mwagala+
Era ne mukkusa abo ababonaabona,
Olwo ekitangaala kyammwe kijja kwaka ne mu kizikiza,
N’ekizikiza kyammwe kijja kuba ng’ekitangaala eky’omu ttuntu.+
11 Yakuwa ajja kubakulemberanga ekiseera kyonna
Era ajja kubakkusa ne mu nsi enkalu;+
Ajja kugumya amagumba gammwe,
Era mujja kubeera ng’ennimiro efukirirwa obulungi,+
Mujja kubeera ng’ensulo ezitakalira.
12 Ku lwammwe baliddamu okuzimba ebifo eby’edda ebyazika,+
Era mulizzaawo emisingi egyaliwo mu mirembe egy’edda.+
Muliyitibwa abaddaabirizi b’ebisenge ebyamenyebwa,*+
Era muliyitibwa abo abazzaawo enguudo okuli amayumba.
13 Bwe munaakwatanga Ssabbiiti ne mulekera awo okukola bye mwagala ku lunaku lwange olutukuvu,+
Era ne muyita Ssabbiiti ekintu ekisanyusa, olunaku lwa Yakuwa olutukuvu, olunaku olulina okussibwamu ekitiibwa,+
Ne mulussaamu ekitiibwa nga temwenoonyeza bye mwagala, era nga temwogera bitaliimu,
14 Olwo Yakuwa y’anaabeeranga ensibuko y’essanyu lyammwe,
Era nja kubawa okufuga ebifo by’ensi ebya waggulu.+
Nja kubaliisa ebibala by’omu busika bwa Yakobo jjajjammwe,+
Kubanga akamwa ka Yakuwa ke kakyogedde.”