Yeremiya
3 Abantu babuuza nti: “Omusajja bw’agoba mukazi we, omukazi n’agenda n’afumbirwa omusajja omulala, omusajja yandiddidde omukazi oyo?”
Ensi eno teyonooneddwa nnyo?+
“Oyenze era olina baganzi bo bangi,+
Ddala kiba kituufu ggwe okudda gye ndi?” Yakuwa bw’agamba.
2 “Yimusa amaaso go otunule ku busozi obutaliiko bimera.
Waliwo ekifo kye bateebakangamu naawe?
Watuulanga ku nguudo ng’obalinda,
Ng’Omuwalabu bw’alindira mu ddungu.
Olw’obwamalaaya bwo n’ebikolwa byo ebibi
Ensi ogyonoona.+
3 Enkuba kyevudde eziyizibwa,+
Era ne mu kiseera kya ttoggo tetonnya.
4 Naye kaakano oŋŋamba nti,
‘Kitange, ggwe mukwano gwange ow’omu buvubuka bwange!+
5 Omuntu yandisigadde nga musunguwavu emirembe gyonna,
Oba yandisibye ekiruyi ekiseera kyonna?’
Bw’otyo bw’ogamba,
Naye okola buli kibi kyonna ky’osobola okukola.”+
6 Mu kiseera kya Kabaka Yosiya,+ Yakuwa yaŋŋamba nti: “‘Olabye Isirayiri atali mwesigwa ky’akoze? Agenze ku buli lusozi oluwanvu na buli wansi w’omuti ogulina ebikoola ebingi okukola obwamalaaya.+ 7 Ne bwe yamala okukola ebintu ebyo nnamugamba adde gye ndi,+ naye teyadda; ne Yuda yatunuuliranga muganda we ow’enkwe.+ 8 Bwe nnalaba ekyo ne ngoba Isirayiri ataali mwesigwa ne mmuwa ebbaluwa etugattulula,+ olw’okuba yayenda.+ Naye muganda we Yuda ow’enkwe teyatya; naye yagenda n’akola obwamalaaya.+ 9 Obwamalaaya bwe yabutwala ng’ekintu ekitono, era yayonoonanga ensi, era n’ayendanga ku mayinja n’emiti.+ 10 Wadde ebyo byaliwo, muganda we Yuda ow’enkwe teyadda gye ndi n’omutima gwe gwonna; yeefuula bwefuuzi ng’akomyewo,’ Yakuwa bw’agamba.”
11 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Isirayiri atali mwesigwa yeeraze nga mutuukirivu okusinga Yuda ow’enkwe.+ 12 Genda olangirire ebigambo bino eri obukiikakkono:+
“‘“Ggwe Isirayiri omujeemu, komawo,” Yakuwa bw’agamba.’+ ‘“Sijja kukutunuuliza busungu,+ kubanga ndi mwesigwa,” Yakuwa bw’agamba.’ ‘“Sijja kusigala nga ndi musunguwavu mirembe gyonna. 13 Kkiriza ensobi yo, kubanga ojeemedde Yakuwa Katonda wo. Weeyongera okugoberera* b’otomanyi* wansi wa buli muti ogulina ebikoola ebingi, naye tewagondera ddoboozi lyange,” Yakuwa bw’agamba.’”
14 “Mmwe abaana abajeemu, mukomeewo,” Yakuwa bw’agamba. “Kubanga nfuuse mukama wammwe* ddala; nja kubaggyayo, omu okuva mu kibuga, n’ababiri okuva mu kika, mbaleete ku Sayuuni.+ 15 Nja kubawa abasumba omutima gwange be gwagala,+ era bajja kubawa okumanya n’okutegeera. 16 Mujja kwala era mujja kweyongera obungi mu nsi mu kiseera ekyo,” Yakuwa bw’agamba.+ “Temuliddamu kugamba nti, ‘Ssanduuko y’endagaano ya Yakuwa!’ Temuligirowoozaako, era temuligijjukira wadde okugisaalirwa, era teriddamu kukolebwa. 17 Mu kiseera ekyo Yerusaalemi balikiyita entebe ya Yakuwa;+ era amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa e Yerusaalemi okutendereza erinnya lya Yakuwa,+ era baliba tebakyagugubira ku kya kugoberera mitima gyabwe emibi.”
18 “Mu kiseera ekyo ab’ennyumba ya Yuda balitambulira wamu n’ab’ennyumba ya Isirayiri,+ era baliva mu nsi ey’ebukiikakkono nga bali wamu ne bajja mu nsi gye nnawa bajjajjammwe ng’obusika.+ 19 Nnagamba muli nti, ‘Nga nnakuteeka mu baana bange ne nkuwa ensi ennungi, eky’obusika ekisingayo obulungi mu mawanga gonna!’*+ Ate era nnalowooza nti mujja kumpita nti, ‘Kitange!’ era nti temujja kulekera awo kungoberera. 20 ‘Ddala ng’omukazi bw’alyamu bba* olukwe n’amuleka, nammwe bwe mutyo bwe mundiddemu olukwe, mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri,’+ Yakuwa bw’agamba.”
21 Ku busozi obutaliiko bimera eddoboozi liwulirwa,
Abayisirayiri bakaaba era beegayirira,
Kubanga bakyamizza ekkubo lyabwe;
Beerabidde Yakuwa Katonda waabwe.+
22 “Mukomeewo mmwe abaana abajeemu.
Nja kuwonya omutima gwammwe omujeemu.”+
“Tuutuno! Tuzze gy’oli,
Kubanga ggwe Katonda waffe, Ai Yakuwa.+
23 Twali twerimba bwe twawogganiranga ku busozi ne ku nsozi.+
Ddala Yakuwa ye mulokozi wa Isirayiri.+
24 Okuva mu buvubuka bwaffe, katonda aswaza abadde atwala ebintu byonna bajjajjaffe bye baateganira,+
Ebisibo byabwe n’amagana gaabwe,
Batabani baabwe ne bawala baabwe.