1 Bassekabaka
21 Oluvannyuma lw’ebyo, waliwo ekyaliwo ekikwata ku nnimiro y’emizabbibu eya Nabbosi Omuyezuleeri eyali mu Yezuleeri+ okumpi n’olubiri lwa Akabu, kabaka wa Samaliya. 2 Akabu n’agamba Nabbosi nti: “Mpa ennimiro yo ey’emizabbibu efuuke ennimiro yange ey’enva, kubanga eri kumpi n’ennyumba yange. Mu kifo kyayo nja kukuwaamu ennimiro endala ey’emizabbibu egisingako obulungi, oba bw’oba oyagala, nja kugikuwaamu ssente.” 3 Naye Nabbosi n’agamba Akabu nti: “Kikafuuwe nze okukuwa obusika bwa bajjajjange, kubanga ekyo Yakuwa yakigaana.”+ 4 Awo Akabu n’ayingira mu nnyumba ye ng’anyiize era nga munakuwavu olw’ekyo Nabbosi Omuyezuleeri kye yamuddamu ng’agamba nti: “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” N’agalamira ku kitanda kye ng’atunudde ku kisenge, era n’agaana okulya emmere.
5 Awo mukazi we Yezebeeri+ n’ajja gy’ali n’amugamba nti: “Kiki ekikunakuwazza* n’ogaana n’okulya?” 6 N’amuddamu nti: “Olw’okuba ŋŋambye Nabbosi Omuyezuleeri nti, ‘Nguza ennimiro yo ey’emizabbibu. Oba bw’oba oyagala, ka nkuweemu ennimiro endala ey’emizabbibu.’ Naye aŋŋambye nti, ‘sijja kukuwa nnimiro yange ey’emizabbibu.’” 7 Mukazi we Yezebeeri n’amugamba nti: “Si ggwe kabaka wa Isirayiri? Situka obeeko ky’olya, omutima gwo gusanyuke. Nze nja kukuwa ennimiro y’emizabbibu eya Nabbosi Omuyezuleeri.”+ 8 Yezebeeri n’awandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu n’agassaako akabonero ka Akabu,+ n’agaweereza abakadde+ n’abakungu abaali mu kibuga Nabbosi mwe yabeeranga. 9 Mu mabaluwa ago yawandiika nti: “Mulangirire ekiseera eky’okusiiba, era Nabbosi mumutuuze mu maaso g’abantu bonna. 10 Mufune abasajja babiri abatalina mugaso, batuule mu maaso ge, bamulumirize+ nti, ‘Okolimidde Katonda ne kabaka!’+ Oluvannyuma mujja kumufulumya, mumukube amayinja afe.”+
11 Awo abantu b’omu kibuga, abakadde n’abakungu baamu, ne bakola nga Yezebeeri bwe yali awandiise mu mabaluwa ge yabaweereza. 12 Ne balangirira ekiseera eky’okusiiba, ne batuuza Nabbosi mu maaso g’abantu bonna. 13 Abasajja babiri abataalina mugaso ne bajja ne batuula mu maaso ga Nabbosi, ne bamulumiriza mu maaso g’abantu nga bagamba nti: “Nabbosi akolimidde Katonda ne kabaka!”+ Abantu ne bamufulumya ebweru w’ekibuga ne bamukuba amayinja, n’afa.+ 14 Ne bategeeza Yezebeeri nti: “Nabbosi akubiddwa amayinja n’afa.”+
15 Yezebeeri olwawulira nti Nabbosi akubiddwa amayinja n’afa, n’agamba Akabu nti: “Yimuka ogende weetwalire ennimiro y’emizabbibu eya Nabbosi Omuyezuleeri,+ gye yagaana okukuguza, kubanga Nabbosi takyali mulamu, afudde.” 16 Akabu olwakiwulira nti Nabbosi afudde, n’asituka agende yeetwalire ennimiro y’emizabbibu eya Nabbosi Omuyezuleeri.
17 Naye Yakuwa n’agamba Eriya+ Omutisubi nti: 18 “Yimuka ogende e Samaliya, osisinkane Akabu kabaka wa Isirayiri.+ Ali mu nnimiro y’emizabbibu eya Nabbosi Omuyezuleeri, gy’agenze agyetwalire. 19 Ojja kumugamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Otemudde omuntu+ n’otwala n’ebibye?”’+ Oluvannyuma ojja kumugamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba nti: “Mu kifo embwa we zaakomberedde omusaayi gwa Nabbosi, we zijja okukomberera omusaayi gwo.”’”+
20 Awo Akabu n’agamba Eriya nti: “Onsanze ggwe omulabe wange?”+ Eriya n’amuddamu nti: “Nkusanze. Katonda agambye nti: ‘Olw’okuba omaliridde* okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ 21 ŋŋenda kukuleetako akabi, era nja kukuzikiriza era nsaanyizeewo ddala buli musajja* wa Akabu,+ nga mw’otwalidde n’abo abateesobola era abatalina maanyi mu Isirayiri.+ 22 Ennyumba yo nja kugifuula ng’ennyumba ya Yerobowaamu+ mutabani wa Nebati, era ng’ennyumba ya Baasa+ mutabani wa Akiya, olw’okuba ondeetedde okusunguwala era n’oleetera ne Isirayiri okwonoona.’ 23 Ate era Yakuwa ayogedde bw’ati ne ku Yezebeeri: ‘Embwa zijja kuliira Yezebeeri mu kibanja ky’e Yezuleeri.+ 24 Omuntu yenna owa Akabu anaafiira mu kibuga, embwa zijja kumulya, n’oyo anaafiira ku ttale, ebinyonyi eby’omu bbanga bijja kumulya.+ 25 Tewabangawo muntu alinga Akabu,+ eyamalirira* okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa olw’okupikirizibwa mukazi we Yezebeeri.+ 26 Yakola eby’omuzizo ennyo ng’asinza ebifaananyi ebyenyinyaza* ng’Abaamoli bonna bwe baakola, Yakuwa be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.’”+
27 Akabu olwawulira ebigambo ebyo, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu; nasiiba, n’agalamira ng’ayambadde ebibukutu, era n’atambula nga munyiikaavu. 28 Awo Yakuwa n’agamba Eriya Omutisubi nti: 29 “Olabye Akabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange?+ Kale nga bwe yeetoowazizza mu maaso gange, akabi sijja kukaleeta mu kiseera kye. Nja kukaleeta ku nnyumba ye mu kiseera kya mutabani we.”+